Ezekyeri
Essuula 4
Era, omwana w'omuntu, weddirire ettoffaali oliteeke mu maaso go, oliwandiikeko ekibuga, Yerusaalemi:
2 okizingize, okizimbireko ebigo, okituumireko ekifunvu; era teekawo ensiisira okukirumba, okisimbeko ebitomera enjuyi zonna.
3 Era weddirire ekikalango eky'ekyuma okiteekewo okuba bbugwe ow'ekyuma wakati wo n'ekibuga: okisseeko amaaso go, kale kirizingizibwa, naawe olikizingiza. Ako kaliba kabonero eri ennyumba ya Isiraeri.
4 Era nate galamiririra ku lubiriizi lwo olwa kkono, oluteekeko obutali butuukirivu bw'ennyumba ya Isiraeri: ng'omuwendo gw'ennaku bwe guliba z'oligalamiririra ku lwo, bw'olyetikka obutali butuukirivu bwabwe.
5 Kubanga ntaddewo emyaka egy'obutali butuukirivu bwabwe okuba gy'oli omuwendo gw'ennaku, ennaku ebikumi bisatu mu kyenda: bw'otyo bw'olyetikka obutali butuukirivu obw'ennyumba ya Isiraeri.
6 Era nate bw'oliba ng'omaze ezo, oligalamiririra ku lubiriizi lwo olwa ddyo, olyetikka obutali butuukirivu obw'ennyumba ya Yuda: ennaku amakumi ana, buli lunaku mwaka, bwe nnabuteekerawo gy'oli.
7 Era osse amaaso go eri okuzingizibwa kwa Yerusaalemi, omukono gwo nga gubikkuddwako; era olikiragulirako.
8 Era, laba, nkuteekako enjegere, so tokyukanga okugalamirira ku lubiriizi olulala, okutuusa lw'olimala ennaku ez'okuzingiza kwo.
9 Era weetwalire eŋŋaano ne sayiri n'ebijanjaalo ne kawo n'omuwemba n'obulo, obiteeke mu kintu ekimu, weegoyere omugaati nabyo; ng'omuwendo gw'ennaku z'oligalamiririra ku lubiriizi lwo, ennaku ebikumi bisatu mu kyenda, bw'onooliirangako bw'otyo.
10 N'emmere yo gy'onoolyanga eneepimibwanga, sekeri amakumi abiri buli lunaku: onoogiriiranga mu ntuuko zaayo.
11 Era onoonywanga amazzi agagerebwa, ekitundu ekya yini eky'omukaaga: onoonyweranga mu ntuuko zaago.
12 Era onoogiryanga nga migaati gya sayiri, era onoogyokeranga mu mazzi agava mu bantu, bo nga balaba.
13 Awo Mukama n'ayogera nti Era bwe batyo n'abaana ba Isiraeri banaalyanga emmere yaabwe nga si nnongoofu mu mawanga gye ndibagobera.
14 Awo ne njogera nti Woowe, Mukama Katonda! Laba, emmeeme yange teyonoonebwanga: kubanga okuva ku buto bwange na buli kati siryanga ku ekyo ekifa kyokka newakubadde ekitaaguddwa ensolo; so n'ennyama ey'omuzizo teyingiranga mu kamwa kange.
15 Awo n'alyoka aŋŋamba nti Laba, nkuwadde obusa bw'ente mu kifo ky'amazi ag'abantu, era onoolongooserezanga okwo omugaati gwo.
16 Era nate n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, laba, ndimenya omuggo ogw'omugaati mu Yerusaalemi: kale banaalyanga omugaati nga bagupima era nga beeraliikirira; era banaanywanga amazzi nga bagagera era nga basamaalirira:
17 babulwe omugaati n'amazzi, era basamaaliriragane, ne bayongoberera mu butali butuukirivu bwabwe.