Ezekyeri

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48

0:00
0:00

Essuula 26

Awo olwatuuka mu mwaka ogw'ekkumi n'esatu ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
2 Omwana w'omuntu, kubanga Ttuulo ayogedde ku Yerusaalemi nti Nyeenya! oyo amenyese eyabanga omulyango ogw'amawanga; akyukidde gye ndi: kaakano ye ng'amaze okuzisibwa nze ndigaggawala:
3 Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndi mulabe wo, ggwe Ttuulo, era ndikutabaaza amawanga mangi, ng'ennyanja bw'etabaaza amayengo gaayo.
4 Kale balizikiriza babbugwe ba Ttuulo, ne bamenyera ddala ebigo bye: era ndimukolokotako enfuufu ye, ne mmufuula olwazi olwereere.
5 Anaabanga kifo kya kutegerangako migonjo wakati mu nnyanja: kubanga nze nkyogedde, bw'ayogera Mukama Katonda: era kinaabanga munyago gwa mawanga.
6 Ne bawala be abali mu ttale balittibwa n'ekitala: kale balimanya nga nze Mukama.
7 Kubanga Mukama Katonda bw'ayogera bw'ati nti Laba, ndireeta ku Ttuulo Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni; kabaka wa bakabaka, okuva obukiika obwa kkono, ng'alina embalaasi n'amagaali n'abeebagadde embalassi nekibiina n'abantu bangi.
8 Alitta n'ekitala bawala bo abali mu ttale era alikuzimbako ebigo, n'akutuumako ekifunvu, n'akuyimusizaako engabo.
9 Era alisimba ebintu bye ebitomera ku babbugwe bo, era alimenyera ddala ebigo byo n'embazzi ze.
10 Embalaasi ze kubanga ziyinze obungi, enfuufu yaazo erikubikkako: babbugwe bo balikankana olw'oluyoogaano lw'abo abeebagala embalaasi ne bannamuziga n'amagaali, bw'aliyingira mu miryango gyo, ng'abantu bwe bayingira mu kibuga ekiwaguddwamu ekituli.
11 Alirinnyirira enguudo zo zonna n'ebinuulo by'embalaasi ze: alitta abantu bo n'ekitala, n'empagi ez'amaanyi go zirikka wansi.
12 Era balinyaga obugagga bwo, n'eby'obuguzi bwo balibifuula omuyiggo: era balimenyera ddala babbugwe bo, ne bazikiriza ennyumba zo ez'okwesiima: era baligalamiza amayinja go n'emiti gyo n'enfuufu yo wakati mu mazzi.
13 Era ndikomya eddoboozi ery'ennyimba zo: n'okuvuga kw'ennanga zo tekuliwulirwa nate.
14 Era ndikufuula olwazi olwereere: era onoobanga kifo kya kutegerangako migonjo: tolizimbibwa nate: kubanga nze Mukama nkyogedde, bw'ayogera Mukama Katonda.
15 Bw'ati Mukama Katonda bw'agamba Ttuulo nti Ebizinga tebirikankana olw'okubwatuka olw'okugwa kwo, abaliko ebiwundu bwe balisinda, ng'abattira ekiwendo wakati mu ggwe?
16 Awo abalangira bonna ab'ennyanja baliva ku ntebe zaabwe, ne bambula ebyambalo byabwe, ne beggyako engoye zaabwe ez'eddalizi: balyambala okukankana; balituula ku ttaka nga bakankana buli kaseera ne bakusamaaliririra.
17 Era balitanula okukukungubagira ne bakugamba nti Ng'ozikiridde, ggwe eyatuulwangamu abalunnyanja, ekibuga ekyayatiikirira, ekyalina amaanyi ku nnyanja, kyo n'abo abakituulamu, abaagwisaako entiisa yaabwe ku abo bonna abaagitambulirangamu!
18 Kaakano ebizinga birikankana ku lunaku olw'okugwa kwo: weewaawo, ebizinga ebiri mu nnyanja birikeŋŋentererwa olw'okugenda kwo.
19 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Bwe ndikufuula ekibuga ekyalekebwawo, ng'ebibuga ebitatuulwamu; bwe ndikulinnyisaako ennyanja, amazzi amangi ne gakubikkako;
20 kale ndikukkakkanya wamu n'abo abakka mu bunnya, eri abantu ab'omu biro eby'edda, era ndikutuuza mu njuyi z'ensi eza wansi, mu bifo ebyalekebwawo obw'edda, wamu n'abo abakka mu bunnya, olemenga okutuulwamu; era nditeeka ekitiibwa mu nsi ey'abalamu:
21 ndikufuula entiisa, so tolibaawo nate: newakubadde nga bakunoonya, naye tebaakulabenga nate ennaku zonna, bw'ayogera Mukama Katonda.