Ezekyeri

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48

0:00
0:00

Essuula 5

Naawe, omwana w'omuntu, ddira ekitala eky'obwogi, okyeddirire ng'akamwano ak'omumwi, okiyise ku mutwe gwo ne ku kirevu kyo: kale otwale eminzaani okupima, oyawule mu nviiri.
2 Ekitundu eky'okusatu okyokeranga mu muliro wakati mu kibuga, ennaku ez'okuzingiza nga zituukiridde; n'ekitundu eky'okusatu okiddiranga, n'otema n'ekitala okukyetooloola; n'ekitundu eky'okusatu okisaasaanyizanga eri empewo, nange ndisowola ekitala ekiribagoberera.
3 Era otwalangako omuwendo gwazo si nnyingi n'ozisiba mu kirenge kyo.
4 Era ne ku ezo otwalangako, ozisuule mu muliro wakati, ozookere mu muliro; mu zo omuliro mwe guliva ogulibuna ennyumba yonna eya Isiraeri.
5 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kino ye Yerusaalemi: nkitadde wakati mu mawanga, n'ensi zikyetoolodde.
6 Era kyajeemera emisango gyange nga kikola obubi okusinga amawanga, era kijeemedde amateeka gange okusinga ensi ezikyetoolodde: kubanga bagaanyi emisango gyange, n'amateeka gange tebagatambuliddemu.
7 Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Kubanga muli ba mawaggali okukira amawanga agabeetoolodde, so temutambulidde mu mateeka gange, so temukutte misango gyange, so temukoze ng'ebiragiro bwe biri eby'amawanga agabeetoolodde;
8 Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Laba, nze, nze mwene, ndi mulabe wo; era ndituukiriza emisango wakati mu ggwe amawanga nga galaba.
9 Era ndikolera mu ggwe ekyo kye ssikolanga, era kye ssigenda kukola nate ekiri bwe kityo, olw'emizizo gyo gyonna.
10 Bakitaabwe kyebaliva baliira abaana wakati mu ggwe, n'abaana balirya bakitaabwe: era ndituukiririza emisango mu ggwe, n'ekitundu kyo kyonna ekifisseewo ndikisaasaanyiza eri empewo zonna.
11 Kale, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, kubanga wayonoona awatukuvu wange n'ebibyo byonna eby'ebivve n'ebibyo byonna eby'emizizo, nange kyendiva nkukendeeza; so n'amaaso gange tegalisonyiwa so nange sirikwatibwa kisa.
12 Ekitundu kyo eky'okusatu kirifa kawumpuli, era balimalibwawo n'enjala wakati mu ggwe; n'ekitundu eky'okusatu kirigwa n'ekitala okukwetooloola; n'ekitundu eky'okusatu ndikisaasaanyiza eri empewo zonna, n'ensowola ekitala ekiribagoberera.
13 Obusungu bwange bwe bulituukirira bwe butyo, era ndikkusa ekiruyi kyange ku bo, kale ndisanyusibwa: kale balimanya nga nze Mukama njogedde olw'obunyiikivu bwange, bwe ndimala okutuukiririza ku bo ekiruyi kyange.
14 Era nate ndikufuula amatongo n'ekivume mu mawanga gonna agakwetoolodde, abo bonna abayitawo nga balaba.
15 Awo kiriba kivume n'ekikiino ekiyigirwako era ekisamaalirirwa eri amawanga agakwetoolodde, bwe ndituukiririza emisango mu ggwe nga ndiko obusungu n'ekiruyi, era nga nnenya n'ekiruyi: nze Mukama nkyogedde
16 bwe ndibaweerezaako obusaale obubi obw'enjala obw'okuzikiriza bwe ndiweereza okubazikiriza: era ndyongera ku mmwe enjala, era ndimenya omuggo gwammwe ogw'omugaati;
17 era ndibaweerezaako enjala n'ensolo embi, era zirikufiiriza; era kawumpuli n'omusaayi biriyita mu ggwe; era ndikuleetako ekitala: nze Mukama nkyogedde.