Ezekyeri

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48

0:00
0:00

Essuula 16

Nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
2 Omwana w'omuntu, manyisa Yerusaalemi emizizo gyakyo,
3 oyogere nti Bw'ati Mukama Katonda bw'agamba Yerusaalemi nti Okuzaalibwa kwo n'ekika kyo bya mu nsi ey'omu Kanani; Omwamoli ye yali Kitaawo, ne nnyoko yali Mukiiti.
4 Era eby'okuzaalibwa kwo ku lunaku kwe wazaalirwa tewasalibwa kalira, so tewanaazibwa na mazzi okukutukuza; tewateekebwamu munnyo n'akatono, so tewabikkibwako n'akatono.
5 Tewali liiso eryakusaasira okukukola ku ebyo byonna, okukukwatirwa ekisa; naye n'osuulibwa mu ttale ebweru, kubanga wakyayibwa ggwe ku lunaku kwe wazaalirwa.
6 Awo bwe nnakuyitako ne nkulabanga weekulukuunya mu musaayi gwo, ne nkugamba nti Newakubadde ng'oli mu musaayi gwo, ba mulamu: weewaawo, ne nkugamba nti Newakubadde ng'oli mu musaayi gwo, ba mulamu.
7 Ne nkwaza ng'ekimuli eky'omu nnimiro, ne weeyongera n'ofuuka mukulu, n'otuuka ku buyonjo obulungi ennyo; amabeere go ne gamera, enviiri zo ne zikula; era naye ng'oli bwereere nga tobikkiddwako.
8 Awo bwe nnakuyitako ne nkutunuulira, laba, ekiseera kyo nga kye kiseera eky'okwagalirwamu; ne nkwaliirako ekirenge kyange ne mbikka ku bwereere bwo: weewaawo, ne nkulayirira, ne ndagaana naawe endagaano, bw'ayogera Mukama Katonda, n'ofuuka wange.
9 Awo ne nkunaaza n'amazzi; weewaawo, ne nkunaalizaako ddala omusaayi gwo, ne nkusiigako amafuta.
10 N'okwambaza ne nkwambaza omulimu ogw'eddalizi, ne nkunaanika engato ez'amaliba g'eŋŋonge ne nkusiba olwebagyo olwa bafuta ennungi, ne nkubikkako aliiri.
11 Era ne nkunaanika eby'obuyonjo, ne nteeka ebikomo ku mikono gyo n'omukuufu mu bulago bwo.
12 Ne nteeka empeta ku nnyindo yo, n'eby'omu matu mu matu go n'engule ennungi ku mutwe gwo.
13 Bwe wayonjebwa bw'otyo n'ezaabu n'effeeza; n'ebyambalo byo byali bya bafuta nnungi ne aliiri n'omulimu ogw'eddalizi; walyanga obutta obulungi n'omubisi gw'enjuki n'amafuta: n'oba mulungi nnyo nnyini, n'olaba omukisa okutuusa mu bukulu obw'obwakabaka.
14 Ettutumu lyo ne lyatiikirira mu mawanga olw'obulungi bwo; kubanga bwali butuukiridde olw'obukulu bwange bwe nnali nkutaddeko bw'ayogera Mukama Katonda.
15 Naye ggwe ne weesiga obulungi bwo, ne weefuula omwenzi olw'ettutumu lyo, n'ofuka obukaba bwo ku buli muntu eyayitangawo; bwabanga bubwe.
16 Era watoola ku byambalo byo, ne weekolera ebifo ebigulumivu ebyayonjebwa n'amabala agatali gamu, n'oyendera ku byo: ebifaanana bwe bityo tebirijja so tebiriba bwe bityo.
17 N'okuddira n'oddira eby'obuyonjo bwo ebirungi ebya zaabu yange n'ebya ffeeza yange bye nnali nkuwadde, ne weekolera ebifaananyi by'abantu, n'oyenda ku byo:
18 n'oddira ebyambalo byo eby'eddalizi, n'obibikkako n'oteeka amafuta gange n'obubaane bwange mu maaso gaabyo.
19 Era n'emmere yange gye nnakuwa, obutta obulungi n'amafuta n'omubisi gw'enjuki, bye nnakuliisanga, n'okuteeka n'obiteeka mu maaso gaabyo okuba evvumbe eddungi, ne biba bwe bityo, bw'ayogera Mukama Katonda.
20 Era nate waddira abaana bo ab'obulenzi n'ab'obuwala, be wanzaalira, abo n'obawaayo okuba ssaddaaka eri byo okuliibwa. Obwenzi bwo kyali kigambo kitono,
21 n'okutta n'otta abaana bange, n'obawaayo ng'obayisa mu muliro eri byo?
22 Era mu mizizo gyo gyonna ne mu bwenzi bwo tojjukiranga nnaku za buto bwo, bwe wali obwereere nga tobikkiddwako, era nga weekulukuunya mu musaayi gwo.
23 Awo olutuuse obubi bwo bwonna nga bumaze okubaawo, (zikusanze, zikusanze! bw'ayogera Mukama Katonda,)
24 weezimbidde ekifo ekikulumbala ne weekolera ekifo ekigulumivu mu buli luguudo.
25 Ozimbye ekifo kyo ekigulumivu buli luguudo we lusibuka, era ofudde obulungi bwo okuba eky'omuzizo, era obikkulidde ku bigere buli muyise n'oyongera ku bwenzi bwo.
26 Era oyenze ku Bamisiri, baliraanwa bo, ab'omubiri omunene; n'oyongera ku bwenzi bwo okunsunguwaza.
27 Kale, laba, nkugololeddeko omukono gwange, era nkendeezezza emmere yo eya bulijjo, ne nkuwaayo eri okwagala kw'abo abakukyawa, abawala b'Abafirisuuti abakwatiddwa ensonyi ekkubo lyo ery'obukaba.
28 Era n'oyenda ku Basuuli, kubanga tewayinza kukkuta; weewaawo, oyenze ku bo, era naye tewanyiwa.
29 Era nate wayongera ku bwenzi bwo mu nsi ya Kanani okutuusa e Bukaludaaya; era naye n'obwo tebwakunyiya.
30 Omutima gwo nga munafu! bw'ayogera Mukama Katonda, kubanga okola bino byonna, omulimu ogw'omukazi ow'amawaggali omwenzi;
31 kubanga ozimba ebifo byo ebikulumbala buli luguudo we lusibuka, n'okola ekifo kyo ekigulumivu mu buli luguudo; so tobanga nga mukazi mwenzi kubanga onyooma empeera.
32 Omukazi alina bba ayenda so! akkiriza abagenyi mu kifo kya bbaawe so!
33 Abakazi bonna abenzi babawa ebirabo: naye ggwe owa ebirabo byo baganzi bo bonna, n'obagulirira bajje gy'oli okuva mu njuyi zonna olw'obwenzi bwo.
34 Era osobezza ensobya bbiri abakazi abalala mu bwenzi bwo, kubanga tewali akugoberera ggwe okwenda: era kubanga ogulirira so toweebwa mpeera kyova osobya ensobya ebbiri.
35 Kale, ai omwenzi, wulira ekigambo kya Mukama:
36 bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga empitambi yo yafukirwa ddala, n'obwereere bwo ne bubikkulwako olw'obwenzi bwo bwe wayenda ku baganzi bo; era olw'ebifaananyi byonna eby'emizizo gyo n'olw'omusaayi gw'abaana bo gwe wabawa;
37 kale, laba, ndikuŋŋaanya baganzi bo bonna be wasanyuka nabo, n'abo bonna be wayagala, wamu n'abo bonna be wakyawa; okukuŋŋaanya ndibakuŋŋaanya okulwana naawe enjuyi zonna, era ndibabikkulira obwereere bwo, bonna balabe obwereere bwo.
38 Era ndikusalira omusango ng'abakazi abatta obufumbo ne bayiwa omusaayi bwe basalirwa omusango; era ndikuleetako omusaayi ogw'ekiruyi n'obuggya.
39 Era ndikuwaayo mu mukono gwabwe, kale balisuula ekifo kyo ekikulumbala ne bamenyaamenya ebifo byo ebigulumivu; era balikwambula ebyambalo byo, ne banyaga eby'obuyonjo bwo ebirungi: kale balikuleka ng'oli bwereere ng'obikkuddwako.
40 Era balikulinnyisaako ekibiina, ne bakukuba amayinja, ne bakufumitira ddala n'ebitala byabwe.
41 Era balyokya ennyumba zo omuliro ne batuukiriza emisango ku ggwe abakazi bangi nga balaba; era ndikulekesaayo obwenzi, so toliwaayo mpeera nate lwa kubiri.
42 Bwe ntyo bwe ndikkusa ekiruyi kyange ku ggwe, n'obuggya bwange bulikuvaako, ne ntereera ne ssibaako busungu nate.
43 Kubanga tojjukiranga nnaku za buto bwo, naye n'onnyiiza mu bino byonna; kale, laba, nange ndireeta ekkubo lyo ku mutwe gwo, bw'ayogera Mukama Katonda: so tolyongera bukaba obwo ku mizizo gyo gyonna.
44 Laba, buli muntu agera engero anaakugereranga olugero luno ng'ayogera nti Nga nnyina ne muwala we bw'atyo.
45 Oli muwala wa nnyoko atamwa bba n'abaana be; era oli wa luganda ne baganda bo abatamwa ba bbaabwe: nnyammwe yali Mukiiti, ne kitammwe yali Mwamoli.
46 Ne mukulu wo ye Samaliya abeera ku mukono gwo ogwa kkono, ye ne bawala be: ne mwana wannyo atuula ku mukono gwo ogwa ddyo ye Sodomu ne bawala be.
47 Era naye totambuliranga mu makubo gaabwe, so tokolanga ng'emizizo gyabwe bwe giri; naye ekyo ng'okiyita kigambo kitono nnyo, n'osinga bo okuba omukyamu mu makubo go gonna.
48 Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, muganda wo Sodomu takolanga, ye newakubadde bawala be, nga ggwe bw'okoze, ggwe ne bawala bo.
49 Laba, buno bwe bwali obutali butuukirivu bwa muganda wo Sodomu; amalala n'okukkutanga emmere n'okwesiima nga yeegolola byali mu ye ne mu bawala be; so teyanyweza mukono gwa mwavu n'eyeetaaga.
50 Era baalina ekitigi, ne bakola eby'emizizo mu maaso gange: kyennava mbaggyawo nga bwe nnasiima.
51 So ne Samaliya takolanga kitundu kya ku bibi byo; naye ggwe wayongera ku mizizo gyo okukira bo, n'oweesa obutuukirivu baganda bo olw'emizizo gyo gyonna gye wakola.
52 Era naawe beerako ensonyi zo ggwe, kubanga osaze omusango baganda bo okusinga; olw'ebibi byo bye wakola eby'emizizo okukira bo kyebavudde bakusinga obutuukirivu: weewaawo, era swala obeereko ensonyi zo kubanga oweesezza baganda bo obutuukirivu.
53 Era ndikomyawo obusibe bwabwe, obusibe bwa Sodomu ne bawala be, n'obusibe bwa Samaliya ne bawala be, n'obusibe bw'abasibe bo abali wakati mu bo:
54 olyoke obeereko ensonyi zo ggwe, era okwatibwe ensonyi olw'ebyo byonna bye wakola, kubanga obasanyusa.
55 Era baganda bo, Sodomu ne bawala be, balidda mu bukulu bwabwe obw'edda, ne Samaliya ne bawala be balidda mu bukulu bwabwe obw'edda, naawe ne bawala bo mulidda mu bukulu bwammwe obw'edda.
56 Kubanga muganda wo Sodomu akamwa ko tekamwatulanga ku lunaku olw'amalala go;
57 obubi bwo nga tebunnabikkulwa, nga mu biro abawala ab'e Busuuli lwe baavuma n'abo bonna abamwetoolodde, abawala aba Bafirisuuti abakugirira ekyejo enjuyi zonna.
58 Wabaako obukaba bwo n'emizizo gyo, bw'ayogera Mukama.
59 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ndikukolera ddala nga bw'okoze, ggwe eyanyooma ekirayiro n'omenya endagaano.
60 Era naye nze ndijjukira endagaano gye nnalagaana naawe mu nnaku ez'obuto bwo, era ndinyweza eri ggwe endagaano eteriggwaawo.
61 Kale n'olyoka ojjukira amakubo go, n'okwatibwa ensonyi, bw'oliweebwa baganda bo, baganda bo abakulu ne baganda bo abato: era ndikubawa okuba abawala, naye si lwa ndagaano yo.
62 Era ndinyweza endagaano yange naawe; kale olimanya nga nze Mukama:
63 olyoke ojjukire n'oswala n'olema okwasama nate akamwa ko olw'ensonyi zo; bwe ndimala okukusonyiwa byonna bye wakola, bw'ayogera Mukama Katonda.