Ezekyeri

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48

0:00
0:00

Essuula 41

N'antwala ku yeekaalu n'agera emifuubeeto, obugazi bwagyo emikono mukaaga eruuyi n'emikono mukaaga eruuyi, bwe bwali obugazi bw'eweema.
2 N'awayingirirwa obugazi bwawo emikono kkumi; n'awayingirirwa embiriizi zaawo zaali emikono etaano eruuyi n'emikono etaano eruuyi: n'agera obuwanvu bwawo emikono amakumi ana n'obugazi emikono amakumi abiri.
3 Awo n'agenda munda n'agera buli mufuubeeto oguli awayingirirwa, emikono ebiri: n'awayingirirwa emikono mukaaga: n'awayingirirwa obugazi bwawo emikono musanvu.
4 N'agera obuwanvu bwawo emikono amakumi abiri, n'obugazi bwawo emikono amakumi abiri, mu maaso ga yeekaalu: n'aŋŋamba nti Kino kye kifo ekitukuvu ennyo.
5 Awo n'agera ekisenge eky'ennyumba emikono mukaaga; na buli nju ey'omu mbiriizi obugazi bwayo emikono ena, okwetooloola ennyumba enjuyi zonna.
6 N'amayu ag'omu mbiriizi gaali asatu, enju ng'eri waggulu ku nju ginnaayo, era amakumi asatu nnyiriri nnyiriri; era gaayingira mu kisenge eky'ennyumba eyali ey'amayu ag'omu mbiriizi enjuyi zonna, gakwate omwo, so galeme okukwata mu bisenge eby'ennyumba.
7 N'amayu ag'omu mbiriizi gaagenda nga geeyongera okugaziwa nga gagenda nga geeyongera waggulu okwetooloola ennyumba; kubanga okwetooloola ennyumba kwagenda nga kweyongera waggulu okwebungulula ennyumba: obugazi bw'ennyumba kyebwava bweyongera waggulu; bwe batyo baalinnyanga okuva mu nju eya wansi okutuuka mu nju eya waggulu nga bayita mu nju eya wakati.
8 Era ne ndaba ng'ennyumba yali ku kigulumu enjuyi zonna: emisingi egy'amayu ag'omu mbiriizi gyali olumuli olulamba olw'emikono emiwanvu mukaaga.
9 Obugazi bw'ekisenge ekyali eky'amayu ag'omu mbiriizi ebweru bwali emikono etaano: n'ebbanga eryafikkawo lyali kifo eky'amayu ag'omu mbiriizi ag'omu nnyumba.
10 Era wakati w'amayu waaliwo obugazi obw'emikono amakumi abiri okwetooloola ennyumba enjuyi zonna:
11 N'enzigi ez'oku mayu ag'omu mbiriizi zaayolekera ekifo ekyafikkawo, oluggi olumu nga lwolekera obukiika obwa kkono n'oluggi olulala nga lwolekera obukiika obwa ddyo: n'ekifo ekyafikkawo obugazi bwakyo bwali emikono etaano enjuyi zonna.
12 N'ennyumba eyali mu maaso g'ekifo ekyayawulibwa ku luuyi olw'ebugwanjuba obugazi bwayo bwali emikono nsanvu; n'ekisenge ky'ennyumba obugazi bwakyo bwali emikono etaano enjuyi zonna, n'obuwanvu bwakyo emikono kyenda.
13 Awo bw'atyo n'agera ennyumba, obuwanvu bwayo emikono kikumi; n'ekifo ekyayawulibwa n'ennyumba n'ebisenge byayo, obuwanvu bwakyo emikono kikumi.
14 Era obwenyi bw'ennyumba obugazi bwabwo n'obw'ekifo ekyayawulibwa okwolekera obuvanjuba, emikono kikumi.
15 N'agera ennyumba obuwanvu bwayo okuva ku kifo ekyayawulibwa ekyali emmanju waayo n'ebbalaza zaayo eruuyi n'eruuyi, emikono kikumi; ne yeekaalu ey'omunda n'ebisasi eby'omu luggya;
16 emiryango n'amadirisa agaazibibwa n'ebbalaza enjuyi zonna, bbalaza ssatu buli bbalaza ng'eri ku bbalaza ginnaayo, okwolekera omulyango, ezaabikkibwako emiti enjuyi zonna n'okuva ku ttaka okutuuka ku madirisa; era amadirisa gaabikkibwako;
17 n'okutuuka ku bbanga eryali waggulu w'oluggi, okutuuka ku nnyumba ey'omunda n'ebweru ne ku kisenge kyonna enjuyi zonna munda n'ebweru, okugerebwa kwabyo.
18 Era yakolebwa ne bakerubi n'enkindu; n'olukindu lwateekebwa wakati wa bakerubi kinnababirye, na buli kerubi yalina obwenyi bubiri;
19 obwenyi bw'omuntu ne bwolekera olukindu eruuyi, n'obwenyi bw'empologoma ento ne bwolekera olukindu eruuyi: bwe bityo bwe byakolebwa okubuna ennyumba yonna enjuyi zonna.
20 Bakerubi n'enkindu byakolebwa okuva ku ttaka okutuuka waggulu w'oluggi ekisenge kya yeekaalu bwe kyali bwe kityo.
21 Yeekaalu emifuubeeto gyayo gyaliko empe nnya n'obwenyi bw'awatukuvu enfaanana yaabwo yali ng'enfaanana eya yeekaalu.
22 Ekyoto kyali kya miti obugulumivu bwakyo emikono esatu n'obuwanvu bwakyo emikono ebiri n'ensonda zaakyo n'obuwanvu bwakyo n'ebisenge byakyo byali bya miti: n'aŋŋamba nti Eno ye mmeeza eri mu maaso ga Mukama.
23 Era yeekaalu n'awatukuvu byalina enzigi bbiri.
24 N'enzigi zaali za mbaawo bbiri, embaawo bbiri ezeefunya embaawo bbiri za luggi lumu, n'embaawo bbiri za luggi olw'oku biri.
25 Era kwakolebwako, ku nzigi za yeekaalu, bakerubi n'enkindu ng'ebyakolebwa ku bisenge; era ku bwenyi bw'ekisasi ebweru kwaliko embaawo ez'emiti ez'omubiri omunene.
26 Era waaliwo amadirisa agaazibibwa n'enkindu eruuyi n'eruuyi ku njuyi z'ekisasi: amayu ag'omu mbiriizi ag'omu nnyumba bwe gaali bwe gatyo n'embaawo ez'o mubiri omunene.