Ezekyeri
Essuula 47
Awo n'anzizaayo ku luggi olw'ennyumba; kale, laba, amazzi gaasibuka nga gava wansi w'omulyango ogw'ennyumba ebuvanjuba, kubanga obwenyi bw'ennyumba bwayolekera obuvanjuba: amazzi ne gaserengeta nga gava wansi ku luuyi olw'ennyumba olwa ddyo ku luuyi olw'ekyoto olw'obukiika obwa ddyo.
2 Awo n'anfulumiza mu kkubo ery'omulyango obukiika obwa kkono, n'antwala n'anneetoolooza mu kkubo ery'ebweru okutuuka ku mulyango ogw'ebweru mu kkubo ery'omulyango ogutunuulira ebuvanjuba; era, laba, amazzi nga gakulukutira ku luuyi olwa ddyo.
3 Omusajja bwe yavaamu ng'agenda ebuvanjuba ng'akutte omugwa mu mukono gwe, n'agera emikono lukumi, n'ampisa mu mazzi, amazzi agakoma mu bukongovvule.
4 Nate n'agera lukumi, n'ampisa mu mazzi, amazzi agakoma mu maviivi. Nate n'agera lukumi, n'ampisa mu mazzi, amazzi agakoma mu kiwato.
5 Oluvannyuma n'agera lukumi; ne guba mugga gwe ssaayinza kusomoka: kubanga amazzi gaali gatumbidde, amazzi ag'okuwugirira, omugga ogutayinzika kusomokeka.
6 N'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, olabye? Awo n'antwala n'anzizaayo ku lubalama lw'omugga.
7 Awo bwe nnali nga nzizeeyo, laba, ku lubalama lw'omugga nga kuliko emiti mingi nnyo eruuyi n'eruuyi.
8 Awo n'aŋŋamba nti Amazzi gano gasibuka okugenda mu njuyi ez'ebuvanjuba, era galiserengeta mu Alaba: era galigenda eri ennyanja; mu nnyanja amazzi gye galidda agaasibusibwa; era amazzi galiwonyezebwa:
9 Awo olulituuka buli kintu ekiramu kye gajjula mu buli kifo emigga gye girituuka kiriba kiramu; era walibaawo olufulube lw'ebyennyanja lungi nnyo: kubanga amazzi gano gatuuse eyo, n'amazzi ag'omu nnyanja galiwonyezebwa, na buli kintu kiriba kiramu buli omugga gye gunaatuukanga.
10 Awo olulituuka abavubi baliyimirira ku mabbali gaagwo: okuva e Engedi okutuuka e Negulayimu waliba ekifo eky'okusuuliramu emigonjo; eby'ennyanja byabwe biriba ng'engeri zaabyo bwe biriba, okwenkana ebyennyanja ebiri mu nnyanja ennene, bingi nnyo nnyini.
11 Naye ebifo eby'ettosi n'emigga gyagwo tebiriwonyezebwa; biriweebwayo eri omunnyo.
12 Era ku mugga ku lubalama lwagwo eruuyi n'eruuyi kulimera buli muti ogubaako emmere ogutaliwotoka malagala gaagwo, so n'ebibala byagwo tebiriggwaawo: gulibala ebibala biggya buli mwezi kubanga amazzi gaagwo gava mu watukuvu: n'ebibala byagwo biriba mmere, n'amalagala gaagwo galiba ga ddagala kuwonya.
13 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Eno ye eriba ensalo gye muligabanirako ensi okuba obusika ng'ebika ekkumi n'ebibiri ebya Isiraeri bwe biri: Yusufu aliba n'emigabo.
14 Nammwe muligisika buli muntu nga munne: gye nnayimusiza omukono gwange okugiwa bajjajjammwe: era ensi eno eribagwira okuba obusika.
15 Era eno ye eriba ensalo y'ensi: ku luuyi olw'obukiika obwa kkono okuva ku mabbali g'ekkubo ery'e Kesulooni okutuuka awayingirirwa e Zedadi;
16 Kamasi, Berosa, Sibulayimu ekiri wakati w'ensalo y'e Ddamasiko n'ensalo y'e Kamasi; Kazerukattikoni ekiri ku nsalo y'e Kawulaani.
17 N'ensalo eva ku nnyanja eriba Kazalenooni awali ensalo y'e Ddamasiko, ne ku luuyi olw'obukiika obwa kkono obukiika obwa kkono ye eri ensalo y'e Kamasi. Olwo lwe luuyi olw'obukiika obwa kkono.
18 N'oluuyi olw'ebuvanjuba wakati w’e Kawulaani ne Ddamasiko ne Gireyaadi n'ensi ya Isiraeri luliba Yoludaani; muligera okuva ku nsalo ey'obukiika obwa kkono okutuuka ku nnyanja ey'ebuvanjuba. Olwo lwe luuyi olw'ebuvanjuba.
19 N'oluuyi olw'obukiika obwa ddyo eri obukiika obwa ddyo luliva ku Tamali okutuuka ku mazzi ag'e Meribosukadesi okutuuka ku kagga ak'e Misiri okutuuka ku nnyanja ennene. Olwo lwe luuyi olw'obukiika obwa ddyo mu busimba bwabwo.
20 N'oluuyi olw'ebugwanjuba luliba nnyanja nnene okuva ku nsalo ey'obukiika obwa ddyo okutuuka awayolekera awayingirirwa mu Kamasi. Olwo lwe luuyi olw'ebugwanjuba.
21 Bwe mutyo bwe muligabana ensi eno mwekka na mwekka, ng'ebika bya Isiraeri bwe biri.
22 Awo olulituuka muligigabana n'obululu okuba obusika gye muli n'eri bannaggwanga abaabeera mu mmwe abalizaala abaana mu mmwe; kale baliba gye muli ng'enzaalwa mu baana ba Isiraeri; baliba n'obusika wamu nammwe mu bika bya Isiraeri.
23 Awo olulituuka mu buli kika munnaggwanga mw'anaabeeranga eyo gye mulimuwa obusika bwe, bw'ayogera Mukama Katonda.