Ezekyeri

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48

0:00
0:00

Essuula 2

N'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, yimirira ku bigere bye nange naayogera naawe.
2 Kale omwoyo ne guyingira mu nze bwe yayogera nange, ne gunnyimiriza ku bigere byange; ne mpulira oyo eyayogera nange.
3 N'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, nkutuma eri abaana ba Isiraeri eri amawanga amajeemu, abanjeemedde: bo ne bajjajjaabwe bansobyanga okutuukira ddala ku lunaku olwa leero.
4 N'abaana ba kyejo, era ba mitima mikakanyavu; nkutuma eri abo: era olibagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda.
5 Nabo, oba nga banaawulira, oba nga banaalekayo, (kubanga nnyumba njeemu era naye balimanya nga mu bo mubaddemu nnabbi.
6 Naawe omwana w'omuntu, tobatyanga, so totyanga bigambo byabwe, newakubadde emyeramannyo n'amaggwa nga biri naawe, era ng'obeera mu njaba ez'obusagwa: totyanga bigambo byabwe, so tokeŋŋentererwanga olw'amaaso gaabwe, newakubadde nga nnyumba njeemu.
7 Era olibagamba ebigambo byange oba nga banaawulira) oba nga banaalekayo: kubanga bajeemu nnyo nnyini.
8 Naye ggwe, omwana w'omuntu, wulira kye nkugamba tobanga ggwe mujeemu ng'ennyumba eyo enjeemu: yasama akamwa ko olye ekyo kye nkuwa:
9 Awo bwe nnatunula, laba, omukono ne gugololwa eri nze; era, laba, omuzingo gw'ekitabo nga guli omwo;
10 n'agwanjululiza mu maaso gange; era gwawandiikibwa munda ne kungulu: era mwawandiikibwamu okuwuubaala n'okukungubaga n'obuyinike.