Ezekyeri

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48

0:00
0:00

Essuula 39

Naawe, omwana w'omuntu, mulagulireko Googi oyogere nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndi mulabe wo, ai Googi, omulangira wa Loosi, Meseki, ne Tubali:
2 era ndikuzzaayo, ne nkutwala mu maaso ne nkulinnyisa okuva mu njuyi ez'obukiika obwa kkono ezikomererayo; ne nkutuusa ku nsozi za Isiraeri:
3 era ndikuba omutego gwo ne nguggya mu mukono gwo ogwa kkono, ne ngwisa obusaale bwo mu mukono gwo ogwa ddyo.
4 Oligwa ku nsozi za Isiraeri, ggwe n'eggye lyo lyonna n'amawanga agali naawe: ndikuwaayo eri ennyonyi ez'amaddu ez'engeri zonna n'eri ensolo ez'omu nsiko okuliibwa.
5 Oligwa ku ttale mu bbanga: kubanga nze nkyogedde, bw'ayogera Mukama Katonda.
6 Era ndiweereza omuliro ku Magogi, ne ku abo abatuula ku bizinga nga tebaliiko kye batya: kale balimanya nga nze Mukama.
7 Era ndimanyisa erinnya lyange ettukuvu wakati mu bantu bange Isiraeri; so siriganya erinnya lyange ettukuvu okulivuma nate: kale amawanga galimanya nga nze Mukama, Omutukuvu mu Isiraeri.
8 Laba, kijja, era kirikolebwa, bw'ayogera Mukama Katonda; luno lwe lunaku lwe nnayogerako.
9 N'abo abatuula mu bibuga bya Isiraeri balifuluma, ne babissaako omuliro ebyokulwanyisa, engabo era n'obugabo, emitego n'obusaale, n'emiggo egy'omu mukono n'amafumu, balibissizaako omuliro emyaka musanvu:
10 n'okutyaba ne batatyaba nku mu ttale so tebalitema nku zonna mu kibira; kubanga balibissaako omuliro ebyokulwanyisa: era balinyaga abo abaabanyaganga, era balibaggyako abo abaaggyangako, bw'ayogera Mukama Katonda.
11 Awo olulituuka ku lunaku olwo ndiwa Googi ekifo eky'okuziikamu mu Isiraeri, ekiwonvu ky'abo abayitamu ku luuyi olw'ennyanja olw'ebuvanjuba: era kiriziyiza abo abayitamu: era baliziika eyo Googi n'olufulube lwe lwonna: kale balikiyita nti Kiwonvu Kamonugoogi.
12 Era ennyumba ya Isiraeri balimala emyezi musanvu nga babaziika, balongoose ensi.
13 Weewaawo, abantu bonna ab'omu nsi balibaziika; era kiriba kya kaati gye bali ku lunaku lwe ndigulumizibwa, bw'ayogera Mukama Katonda.
14 Era balyawulamu abasajja okuba n'omulimu ogw'olutata, abanaayitanga mu nsi okuziika abo abaliyitamu, abalisigala ku maaso g'ensi, okugirongoosa: emyezi musanvu nga giweddeko balinoonya.
15 N'abo abayita mu nsi baliyitamu; awo omuntu yenna bw'anaalabanga eggumba ly'omuntu, kale anaasimbangako akabonero, okutuusa abaziisi lwe baliriziika mu kiwonvu Kamonugoogi.
16 Era walibaawo ekibuga ekiriyitibwa Kamona. Bwe batyo bwe balirongoosa ensi.
17 Naawe, omwana w'omuntu, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Yogera n'ennyonyi ez'engeri zonna na buli nsolo ey'omu nsiko nti Mukuŋŋaane mujje; mukuŋŋaane enjuyi zonna eri ssaddaaka yange gye mbaweerayo, ssaddaaka ennene ku nsozi za Isiraeri, mulye ennyama, munywe omusaayi.
18 Mulirya ennyama ey'ab'amaanyi, ne munywa omusaayi gw'abalangira ab'ensi, ogw'endiga ennume n'ogw'abaana b'endiga n'ogw'embuzi, n'ogw'ente ennume, zonna za ssava eza Basani.
19 Era mulirya amasavu ne mukkuta, ne munywa omusaayi ne mutamiira, ku ssaddaaka yange gye mbaweereddeyo.
20 Era mulikkutira mu ddiiro lyange embalaasi n'amagaali, abasajja ab'amaanyi n'abasajja bonna abalwanyi, bw'ayogera Mukama Katonda.
21 Era nditeeka ekitiibwa kyange mu mawanga, n'amawanga gonna galiraba omusango gwange gwe ntuukirizza, n'omukono gwange gwe mbataddeko.
22 Kale ennyumba ya Isiraeri balimanya nga nze Mukama Katonda waabwe okuva ku lunaku olwo n'okweyongerayo.
23 N'amawanga galimanya ng'ennyumba ya Isiraeri baagenda mu busibe olw'obutali butuukirivu bwabwe; kubanga bansobya ne mbakisa amaaso gange: kale ne mbawaayo mu mukono gw'abalabe baabwe, ne bagwa bonna n'ekitala.
24 Ng'obutali bulongoofu bwabwe bwe bwali era ng'okusobya kwabwe bwe kwali, bwe ntyo bwe nnabakola; ne mbakisa amaaso gange.
25 Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Kaakano nnaakomyawo obusibe bwa Yakobo, ne nsaasira ennyumba yonna eya Isiraeri; era ndikwatirwa erinnya lyange ettukuvu obuggya.
26 Era balibaako ensonyi zaabwe n'okusobya kwabwe kwonna kwe bansobya, bwe balituula mu nsi yaabwe nga tebaliiko kye batya, so nga tewali alibatiisa;
27 bwe ndiba nga mbakomezzaawo okubaggya mu mawanga, era nga mbakuŋŋaanyizza okuva mu nsi ez'abalabe baabwe, era nga ntukuzibwa mu bo mu maaso g'amawanga mangi.
28 Kale balimanya nga nze Mukama Katonda waabwe, kubanga nabasindika mu busibe mu mawanga, era nga mbakuŋŋaanyizza mu nsi yaabwe bo; so sirireka nate n'omu ku bo okubeera eyo;
29 so siribakisa nate maaso gange: kubanga nfuse omwoyo gwange ku nnyumba ya Isiraeri; bw'ayogera Mukama Katonda.