Ezekyeri

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48

0:00
0:00

Essuula 27

Ekigambo kya Mukama ne kinjijira nate nga kyogera nti
2 Naawe, omwana w'omuntu, tanula okukungubagira Ttuulo:
3 ogambe Ttuulo nti Ai ggwe atuula awayingirirwa mu nnyanja, omusuubuzi ow'amawanga eri ebizinga bingi, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ggwe, ai Ttuulo oyogedde nti Nze natuukirira mu bulungi.
4 Ensalo zo ziri mu mutima gw'ennyanja, abazimbi bo batuukirizza obulungi bwo.
5 Embaawo zo zonna baaziggya mu miberozi egiva ku Seniri: baggye emivule ku Lebanooni okukukolera omulongooti.
6 Enkasi zo bazikoze mu myera egya Basani: emmanga zo bazikozezza masanga agawaayirwa mu nzo ezaava ku bizinga bya Kittimu.
7 Ettanga lyo lyali lya bafuta eriko omulimu ogw'eddalizi ogwava e Misiri, libeere gy'oli ebendera: engoye eza kaniki n'ez'effulungu ezaava ku bizinga bya Erisa ze zaali ettandaluwa yo.
8 Abatuula mu Sidoni ne Aluvadi be baali abavuzi bo: abagezigezi bo baali mu ggwe, ai Ttuulo, be baali abagoba bo.
9 Abakadde ba Gebali n'abagezigezi baayo baali mu ggwe, nga be bakonzi bo: ebyombo byonna eby'oku nnyanja n'abalunnyanja baabyo baabanga mu ggwe okuwamba eby'obuguzi bwo.
10 Obuperusi ne Ludi ne Puti baali mu ggye lyo, abasajja bo abalwanyi: baawanikanga mu ggwe engabo n'enkuffiira: baatenda obulungi bwo.
11 Abasajja ab'e Yaluvadi wamu n'eggye lyo baabanga ku babbugwe bo okwetooloola, n'Abagammada baabanga mu bigo byo: baawanikanga engabo zaabwe ku babbugwe bo okwetooloola: baatuukiriza obulungi bwo.
12 Talusiisi ye yabanga omusuubuzi wo olw'obugagga obw'engeri zonna: baawangayo olw'obuguzi bwo effeeza n'ebyuma n'amabaati n'amasasi.
13 Yavani, Tubali, ne Meseki, be baali abasuubuzi bo: baawanga emibiri gy'abantu n'ebintu eby'ebikomo olw'obuguzi bwo.
14 Ab'omu nnyumba ya Togaluma baawangayo embalaasi n'embalaasi ez'entalo n'ennyumbu olw'ebintu byo.
15 Abasajja ab'e Dedani be baali abasuubuzi bo: ebizinga bingi ebyali akatale ak'omu mukono gwo: baakuleeteranga okuwaanyisa amasanga n'emitoogo.
16 Obusuuli yabanga, musuubuzi wo olw'olufulube lw'emirimu gyo: baawangayo olw'ebintu byo amayinja aga nnawandagala n'olugoye olw'effulungu n'omulimu ogw'eddalizi ne bafuta ennungi ne kolali n'amayinja amatwakaavu,
17 Yuda n'ensi ya Isiraeri baabanga basuubuzi bo: baawangayo olw'obuguzi bwo eŋŋaano ey'e Minnisi n'eby'akaloosa n'omubisi gw'enjuki n'amafuta n'envumbo.
18 Ddamasiko yabanga musuubuzi wo olw'olufulube olw'emirimu gyo, olw'olufulube lw'obugagga obw'engeri zonna: n'omwenge ogw'e Keruboni n'ebyoya by'endiga ebyeru.
19 Vedani ne Yavani baawangayo olw'ebintu byo obugoogwa: ekyuma ekimasamasa ne kasiya ne kalamo byabanga mu buguzi bwo.
20 Dedani yabanga musuubuzi wo olw'engoye ez'omuwendo omungi ez'okwebagalirako.
21 Obuwalabu n’abalangira bonna ab'e Kedali abo baabanga basuubuzi ba mu mukono gwo: baabanga basuubuzi bo olw'abaana b'endiga n'endiga ennume n'embuzi.
22 Abasuubuzi ab'e Seeba ne Laama baabanga basuubuzi bo: baawangayo olw'ebintu byo eby'akaloosa ebisinga byonna n'amayinja gonna ag'omuwendo omungi n'ezaabu.
23 Kalani, ne Kanne ne Edeni n'abasuubuzi ab'e Seeba ne Asuli, ne Kirunaadi baabanga basuubuzi bo.
24 Abo be baabanga abasuubuzi bo olw'ebintu ebironde, olw'emitumba gya kaniki n'emirimu egy'eddalizi, n’essanduuko ez'ebyambalo ezineekaneeka, ezisibibwa n'emigwa ezikolebwa emivule, mu by'obuguzi bwo.
25 Ebyombo eby'e Talusiisi bye byakutambuliranga olw'obuguzi bwo: era wagaggawala n'oba wa kitiibwa kinene mu mutima gw'ennyanja.
26 Abavuzi bo baakutuusiza awali amazzi amangi: omuyaga ogw'ebuvanjuba gukumenye mu mutima gw'ennyanja.
27 Obugagga bwo n'ebintu byo, obuguzi bwo, abalunnyanja bo, n'abagoba bo, abakozi bo n'abawamba obuguzi bwo, n'abasajja bo bonna abalwanyi abaali mu ggwe, wamu n'ekibiina kyo kyonna ekiri mu ggwe wakati, baligwa mu mutima gw'ennyanja ku lunaku olw'okugwa kwo.
28 Olw'eddoboozi ery'okuleekaana kw'abagoba bo, ebyalo ebiriraanyeewo birikankana.
29 N'abo bonna abakwata enkasi, abalunnyanja n'abagoba bonna ab'oku nnyanja baliva mu byombo byabwe, baliyimirira ku lukalu,
30 era baliwuliza eddoboozi lyabwe, nga bakukaabira, era balirira nga baliko obuyinike, ne basuula enfuufu ku mitwe gyabwe, era balyekulukuunya mu vvu:
31 era balikumwera ne beesiba ebibukutu, era balikukaabira amaziga emmeeme zaabwe nga ziriko obuyinike, nga bawuubaala nnyo nnyini.
32 Awo nga bakuba ebiwoobe balitanula okukukungubagira ne bakukungubagira nga boogera nti Ani afaanana Ttuulo, afaanana oyo asirisibwa wakati mu nnyanja?
33 Ebintu byo bwe byavanga ku nnyanja, wajjuzanga amawanga mangi: wagaggawaza bakabaka b'ensi n’olufulube lw'obugagga bwo n'olw'obuguzi bwo.
34 Mu biro ennyanja bwe yakumenya mu buziba obw'amazzi, obuguzi bwo n'ekibiina kyo kyonna ne bigwa wakati mu ggwe.
35 Abo bonna abali ku bizinga bakusamaaliriridde, ne bakabaka baabwe batidde nnyo nnyini, amaaso gaabwe geeraliikiridde.
36 Abasuubuzi ab'omu mawanga bakusooza; ofuuse entiisa, so toobengawo nate ennaku zonna.