Ezekyeri
Essuula 7
Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
2 Naawe, omwana w'omuntu, bw'ati Mukama Katonda bw'agamba ensi ya Isiraeri nti Enkomerero: enkomerero yennyini etuuse ku nsonda ennya ez'ensi.
3 Kaakano enkomerero ekutuuseeko, nange ndikuweereza ku busungu bwange, era ndikusalira omusango ng'amakubo go bwe gali; era ndikuleetako emizizo gyo gyonna.
4 So n'eriiso lyange teririkusonyiwa so sirikwatibwa kisa: naye ndikuleetako amakubo go, n'emizizo gyo giriba mu ggwe wakati: kale mulimanya nga nze Mukama.
5 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Akabi, akabi kamu: laba, kajja.
6 Enkomerero etuuse, enkomerero yennyini etuuse, ezuukuka eri ggwe: laba, ejja.
7 Omusango gwo gutuuse gy'oli, ai ggwe atuula mu nsi: ekiseera kituuse, olunaku luli kumpi; olunaku olw'okusasamaliramu so si lwa kwogereramu waggulu n'essanyu, ku nsozi.
8 Kaakano naatera okufukira ddala ekiruyi kyange ku ggwe, ne ntuukiriza obusungu bwange eri ggwe, ne nkusalira omusango ng'amakubo go bwe gali; era ndikuleetako emizizo gyo gyonna.
9 So n'eriiso lyange teririsonyiwa so sirikwatibwa kisa: ndikuleetako ng'amakubo go bwe gali, n'emizizo gyo giriba mu ggwe wakati; kale mulimanya nga nze Mukama nkuba.
10 Laba, olunaku, laba, lujja: omusango gwo gufulumye; omuggo gwanyizza, amalala gamulisizza.
11 Ekyejo kigolokose okuba omuggo ogw'obubi; tewaliba ku bo abalisigalawo, newakubadde olufulube lwabwe newakubadde obugagga bwabwe: so tewaliba bukulu mu bo.
12 Ekiseera kituuse, olunaku lusembedde kumpi: agula aleme okusanyuka, so n'atunda aleme okunakuwala: kubanga obusungu buli ku lufulube lwabwe lwonna.
13 Kubanga atunda talidda eri ekyo ekitundibwa, newakubadde nga bakyali balamu: kubanga okwolesebwa kwa lufulube lwabwe lwonna, tewaliba alidda; so tewaliba alyenyweza mu butali butuukirivu obw'obulamu bwe.
14 Bafuuye ekkondeere bategese byonna; naye tewali agenda mu lutalo: kubanga obusungu bwange buli ku lufulube lwabwe lwonna.
15 Ekitala kiri bweru, ne kawumpuli n'enjala biri munda: ali mu nnimiro alifa n'ekitala; n'oyo ali mu kibuga enjala ne kawumpuli birimulya.
16 Naye abo abaliwonawo ku bo baliwona, era baliba ku nsozi nga bukaamukuukulu obw'omu biwonvu, bonna nga bawuubaala, buli muntu mu butali butuukirivu bwe.
17 Emikono gyonna giriyongobera, n'amaviivi gonna galiba manafu ng'amazzi.
18 Era balyesiba ebibukutu, n'ensisi eribabikkako; n'ensonyi ziribeera ku maaso gonna, n'emitwe gyabwe gyonna giribaako ebiwalaata.
19 Balisuula effeeza yaabwe mu nguudo, ne zaabu yaabwe eriba ng'ekintu ekitali kirongoofu; effeeza yaabwe ne zaabu yaabwe tebiriyinza kubawonya ku lunaku olw'obusungu bwa Mukama; tebalyekkusa mmeeme zaabwe, so tebalyejjuza mbuto zaabwe: kubanga ebyo bye byabanga enkonge ey'obutali butuukirivu bwabwe.
20 Obulungi obw'obuyonjo bwe yabusimba mu bukulu: naye ne bakolera ebifaananyi eby'emizizo gyabwe n'ebintu byabwe eby'ebivve omwo: kyenvudde mbufuula gye bali ng'ekintu ekitali kirongoofu.
21 Era ndibuwaayo mu mikono gya bannaggwanga okuba omunyago, n'eri ababi ab'omu nsi okuba eky'okugereka; era balibwonoona.
22 Era ndikyusa n'amaaso gange okugabaggyako, era bo balyonoona ekifo kyange eky'ekyama: era abanyazi balikiyingiramu ne bakyonoona.
23 Kola olujegere: kubanga ensi ejjudde emisango egy'omusaayi, era ekibuga kijjudde ekyejo.
24 Kyendiva ndeeta bannaggwanga abasinga obubi, ne balya ennyumba zaabwe: era ndikomya amalala ag'ab'amaanyi; n'ebifo byabwe ebitukuvu biryonoonebwa.
25 Okuzikirira kujja; era balinoonya emirembe, kale nga tewali.
26 Walijja akabi ku kabi, era waliwulirwa ebigambo ku bigambo; era balinoonya okwolesebwa eri nnabbi; naye amateeka galibula awali kabona, n'okuteesa awali abakadde.
27 Kabaka aliwuubaala, n'omukungu alyambala obuyinike, n'emikono gy'abantu ab'omu nsi giryeraliikirira: ndibakola ng'ekkubo lyabwe bwe liri, era nga bwe basaanidde bwe ndibasalira omusango; kale balimanya nga nze Mukama.