Ezekyeri
Essuula 42
Awo n'anfulumya mu luggya olw'ebweru, lye kkubo eridda obukiika obwa kkono: n'annyingiza mu nju eyayolekera ekifo ekyayawulibwa era eyayolekera ennyumba ku luuyi olw'obukiika obwa kkono.
2 Mu maaso g'obuwanvu buli obw'emikono ekikumi we waali oluggi olw'obukiika obwa kkono, n'obugazi bwali emikono amakumi ataano.
3 Okwolekera emikono abiri giri egy'oluggya olw'omunda n'okwolekera amayinja amaaliire gali ag'omu luggya olw'ebweru we waali ebbalaza ng'eyolekera ebbalaza ginnaayo mu nju eya waggulu ey'okusatu.
4 Ne mu maaso g'amayu gali waaliwo ekkubo obugazi bwalyo emikono kkumi munda, ekkubo lya mukono gumu; n'enzigi zaago zaayolekera obukiika obwa kkono.
5 Era amayu aga waggulu gaali mampi okusinga ago: kubanga ebbalaza zaasala ku ago okusinga bwe zaasala ku za wansi n'eza wakati mu nnyumba.
6 Kubanga gaali amayu aga waggulu asatu, so tegaalina mpagi ng'empagi ez'omu mpya: eya waggulu kyeyava efunzibwa okusinga eya wansi n'eya wakati okuva ku ttaka.
7 N'ekisenge ekyali ebweru ekyaliraana amayu okwolekera oluggya olw'ebweru mu maaso g'amayu obuwavu bwakyo bwali emikono amakumi ataano.
8 Kubanga obuwanvu bw'amayu agaali mu luggya lw'ebweru bwali emikono amakumi ataano: era, laba, mu maaso ga yeekaalu waaliwo emikono kikumi.
9 Era wansi w'amayu ago we baavanga okuyingira ku luuyi olw'ebuvanjuba, ng'oyingira mu go ng'ova mu luggya olw'ebweru.
10 Ku mubiri gw'ekisenge eky'oluggya kwolekera obuvanjuba, mu maaso g’ekifo ekyayawulibwa ne mu maaso n'ennyumba, kwaliko amayu.
11 N'ekkubo eryali mu maaso gaago lyali ng'enfaanana ey'ekkubo ery'amayu agayolekera obukiika obwa kkono; ng'obuwanvu bwago, n'obugazi bwago bwe bwali bwe butyo: n'awafulumirwa mu go wonna waali ng'engeri zaago bwe zaali era ng'ezigi zaago bwe zaali.
12 Era ng'enzigi ez'amayu agayolekera obukiika obwa ddyo bwe zaali, oluggi bwe lwali bwe lutyo ekkubo we lisibuka eriri ddala mu bwenyi bw'ekisenge ebuvanjuba bw'oyingira mu go.
13 Awo n'aŋŋamba nti Amayu ag'obukiika obwa kkono n'amayu ag'obukiika obwa ddyo agoolekedde ekifo ekyayawulibwa ago ge mayu amatukuvu, bakabona abali okumpi ne Mukama mwe banaaliiranga ebintu ebitukuvu ennyo: eyo gye banaateekanga ebintu ebitukuvu ennyo n'ekiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo olw'ebibi n'ekiweebwayo olw'omusango; kubanga ekifo ekyo kitukuvu.
14 Bakabona bwe banaayingirangamu, kale tebavanga mu kifo ekitukuvu okuyingira mu luggya olw'ebweru, naye banaateekanga eyo ebyambalo byabwe bye baweereezaamu; kubanga bitukuvu; kale banaayambalanga ebyambalo ebirala, ne balyoka basemberera ekyo eky'abantu.
15 Awo bwe yamala okugera ennyumba ey'omunda, n'anfulumya mu kkubo ery'omulyango ogutunuulira obuvanjuba, n'agigera enjuyi zonna.
16 N'agera ku luuyi olw'ebuvanjuba n'olumuli olwo olugera, emmuli ebikumi bitaano, n'olumuli olugera enjuyi zonna.
17 N'agera ku luuyi olw'obukiika obwa kkono n'olumuli olugera, emmuli ebikumi bitaano enjuyi zonna.
18 N'agera ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo, emmuli ebikumi bitaano, n'olumuli olugera.
19 N'akyukira eri oluuyi olw'ebugwanjuba n'agera emmuli ebikumi bitaano, n'olumuli olugera.
20 Yagigera enjuyi ennya: yalina bbugwe enjuyi zonna, obuwanvu ebikumi bitaano n'obugazi ebikumi bitaano, okwawula ebitukuvu n'ebitali bitukuvu.