Ezekyeri
Essuula 21
Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
2 Omwana w'omuntu, simba amaaso go okwolekera e Yerusaalemi, otonnyese ekigambo kyo okwolekera ebifo ebitukuvu, olagulire ku nsi ya Isiraeri;
3 ogambe ensi ya Isiraeri nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndi mulabe wo, era ndisowola ekitala kyange ne nkiggya mu kiraato kyakyo, ne nkumaliramu ddala omutuukirivu n'omubi.
4 Kale kubanga ndikumaliramu ddala omutuukirivu n'omubi, ekitala kyange kyekiriva kifuluma mu kiraato kyakyo okutabaala bonna abalina omubiri, okuva obukiika obwa ddyo okutuuka obukiika obwa kkono:
5 kale bonna abalina omubiri balimanya nga nze Mukama nsowodde ekitala kyange ne nkiggya mu kiraato kyakyo; tekiridda nate lwa kubiri.
6 Kale ssa ebikkowe, ggwe omwana w'omuntu; amabega go nga gakusonjose era ng'oliko obuyinike bw'olissa ebikkowe bw'otyo bo nga balaba.
7 Kale olunaatuuka bwe banaakugamba nti Lwaki ggwe okussa ebikkowe? n'oyogera nti Olw'ebigambo ebiwuliddwa, kubanga bijja: na buli mutima gulisaanuuka, n'emikono gyonna giriyongobera, na buli mwoyo gulizirika, n'amaviivi gonna galiba manafu ng'amazzi: laba, bijja, era birikolebwa, bw'ayogera Mukama Katonda.
8 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
9 Omwana w'omuntu, lagula oyogere nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Yogera nti Ekitala, ekitala kiwagaddwa era kiziguddwa:
10 kiwagaddwa kitte ekiwendo; kiziguddwa kibe ng'enjota: kale tunaasanyuka? omuggo ogw'omwana we gunyooma buli muti.
11 Era kiweereddwayo okuzigulwa, kiryoke kikwatibwe: ekitala kiwagaddwa, weewaawo, kiziguddwa, okukiwaayo mu mukono gw'omussi.
12 Kaaba era wowoggana, omwana w'omuntu: kubanga kiri ku bantu bange, kiri ku bakungu bonna aba Isiraeri: baweereddwayo eri ekitala wamu n'abantu bange: kale kuba ku kisambi kyo.
13 Kubanga waliwo okusala omusango; era kiriba kitya omuggo nagwo ogugaya bwe guliba nga tegukyaliwo? bw'ayogera Mukama Katonda.
14 Kale ggwe, omwana w'omuntu, lagula okube mu ngalo; ekitala kyongerwe omulundi ogw'okusatu, ekitala eky'abafumitiddwa okufa: kye kitala ky'omukulu, afumitiddwa okufa, ekiyingira mu bisenge byabwe.
15 Ntadde omumwa gw'ekitala ku miryango gyabwe gyonna, omutima gwabwe gusaanuuke n'okwesittala kwabwe kwongerwe nnyo: ee! kifuuse ng'enjota, kisongoddwa olw'okutta.
16 Weekuŋŋaanye, tambulira ku gwa ddyo; tala, tambulira ku gwa kkono; yonna yonna amaaso go gye goolekera.
17 Era ndikuba mu ngalo, ne nzikusa ekiruyi kyange: nze Mukama nkyogedde.
18 Ekigambo kya Mukama ne kinjijira nate nga kyogera nti
19 Era, omwana w'omuntu, weeteekerewo amakubo abiri ekitala kya kabaka w'e Babulooni mwe kinaafuluma; ago gombi galiva mu nsi emu: olambe ekifo, okirambire ekkubo eridda mu kibuga we lisibuka.
20 Oteekewo ekkubo ekitala mwe kinaafuluma okutuuka e Labba eky'abaana ba Amoni n'okutuuka eri Yuda mu Yerusaalemi ekiriko enkomera.
21 Kubanga kabaka w'e Babulooni yayimirira mu masaŋŋanzira, amakubo gombi we gasibuka; okulagulwa: yazunzazunza obusaale, ne yeebuuza ku baterafi, n'akebera ekibumba.
22 Mu mukono gwe ogwa ddyo nga mulimu obulaguzi obw'e Yerusaalemi, okusimba ebitomera, okwasamira akamwa okutta, okuyimusa eddoboozi n'okwogerera waggulu, okusimba ebitomera ku miryango, okutuuma ebifunvu, okuzimba ebigo.
23 Era buliba gye bali ng'obulaguzi obutaliimu mu maaso gaabwe ababalayiridde ebirayiro: naye ajjukiza obutali butuukirivu, balyoke bakwatibwe.
24 Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Kubanga mujjukizizza obutali butuukirivu bwammwe, kubanga okusobya kwammwe kubikkuddwako, ebibi byammwe n'okulabika ne birabika mu bikolwa byammwe byonna; kubanga mujjukiddwa, mulikwatibwa n'omukono.
25 Naawe, ai ggwe omubi afumitiddwa okufa, omukulu wa Isiraeri, ajjiriddwa olunaku lwo, mu biro eby'obutali butuukirivu obw'enkomerero;
26 bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ggyawo enkufiira otikkuleko engule: ekyo tekiriba nate bwe kityo: gulumiza ebikkakkanye, okkakkanye ebigulumizibwa.
27 Ndikivuunika, ndikivuunika, ndikivuunika: so n'ekyo tekiriba nate, okutuusa nnyini kyo lw'alijja, era ndikimuwa.
28 Naawe, omwana w'omuntu, lagula oyogere nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda eby'abaana ba Amoni n'eby'okuvuma kwabwe; oyogere nti Ekitala, ekitala kisowoddwa, kiziguliddwa ekiwendo, okukiriisa, kibeere ng'enjota:
29 nga bwe baakulabira ebyayanga, nga bwe baakulagula eby'obulimba, okukuteeka ku nsingo z'ababi abafumitiddwa okufa abajjiddwa olunaku lwabwe, mu biro eby'obutali butuukirivu obw'enkomerero.
30 Kizze mu kiraato kyakyo. Mu kifo mwe watonderwa, mu nsi mwe wazaalirwa, mwe ndikusalirira omusango.
31 Era ndikufukirako ddala okunyiiga kwange; ndikufuuwako omuliro ogw'obusungu bwange: era ndikuwaayo mu mukono gw'abantu abali ng'ensolo ab'amagezi okuzikiriza.
32 Oliba nku za muliro; omusaayi gwo guliba wakati mu nsi; tolijjukirwa nate: kubanga nze Mukama nkyogedde.