Ezekyeri

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48

0:00
0:00

Essuula 19

Era nate tanula okukungubagira abakungu ba Isiraeri,
2 oyogere nti Nnyoko kyali kiki? Mpologoma nkazi: yagalamiranga mu mpologoma, wakati mu mpologoma ento mwe yayonseza abaana baayo.
3 N'akuza emu ku baana baayo; n'eba mpologoma ento: n'eyiga okukwata omuyiggo, n'erya abantu.
4 Era n'amawanga ne gagiwulira; yakwatibwa mu bunnya bwabwe; ne bagireeta n'amalobo mu nsi y'e Misiri.
5 Awo enkazi bwe yalaba ng'erindiridde n'essuubi lyayo nga libuze, n'eryoka eddira omwana gwayo omulala, n'egufuula empologoma ento.
6 N'etambulatambula mu mpologoma, yafuuka empologoma ento: era yayiga okukwata omuyiggo, yalya abantu.
7 Era yamanya amayumba gaabwe, n'ezisa ebibuga byabwe; ensi n'erekebwawo ne byonna ebyalimu olw'eddoboozi ery'okuwuluguma kwayo.
8 Awo amawanga ne bagirumba enjuyi zonna nga gayima mu masaza: ne bagisuulako ekitimba kyabwe; n'ekwatibwa mu bunnya bwabwe.
9 Ne bagisiba mu jjiririzo n'amalobo, ne bagitwala eri kabaka w’e Babulooni; baagitwala mu bigo, eddoboozi lyayo lireme okuwulirirwa nate ku nsozi za Isiraeri.
10 Nnyoko yali ng'omuzabbibu mu musaayi gwo, ogwasimbibwa awali amazzi: yali mugimu, yajjula amatabi olw'amazzi amangi.
11 Era yalina emiggo eminywevu okuba emiggo egy'obwakabaka egy'abo abaafuganga, n'obukulu bwabwe bwagulumizibwa wakati mu matabi amaziyivu ne balengerwa olw'obuwanvu bwabwe nga balina olufulube lw'amatabi gaabwe.
12 Naye yasimbulibwa olw'ekiruyi; yasuulibwa wansi, embuyaga ez'ebuvanjuba ne zikaza ebibala bye: emiggo gye eminywevu ne giwogokako ne giwotoka; omuliro ne gugookya.
13 Awo kaakano asimbiddwa mu ddungu, mu nsi enkalu ey'ennyonta.
14 Era omuliro guvudde mu miggo egy'amatabi ge, gwokezza ebibala bye, ne kutaba ku ye omuggo munywevu okuba omuggo ogw'obwakabaka ogw'okufuga. Ebyo bya kukungubaga, era biriba bya kukungubaga.