Ezekyeri
Essuula 24
Nate mu mwaka ogw'omwenda mu mwezi ogw'ekkumi ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
2 Omwana w'omuntu, weewandiikire erinnya ery'olunaku, ery'olunaku olwa leero: kabaka w'e Babulooni yasemberera Yerusaalemi ku lunaku luno.
3 Era ogerere ennyumba enjeemu olugero obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Teekako sseffuliya, giteekeko, era ogifukemu amazzi:
4 okuŋŋaanye ebifi byamu obiteekemu, buli kifi ekirungi, ekisambi n'omukono; gijjuze amagumba agasinga obulungi.
5 Ddira ku mbuzi esinga obulungi, otuume amagumba wansi waayo: gyeseze bulungi; weewaawo, amagumba gaayo gafumbibwe wakati mu yo.
6 Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Zisanze ekibuga eky'omusaayi, essufuliya omuli obutalagge bwayo, so n'obutalagge bwayo tebugivuddeemu! giggyeemu kitundu kitundu; tegwiriddwako kalulu.
7 Kubanga omusaayi gwakyo guli wakati mu kyo; kyaguteeka ku lwazi olwereere; tekyagufuka ku ttaka okugubikkako enfuufu;
8 gulinnyise ekiruyi okuwalana eggwanga, kyenvudde nteeka omusaayi gwakyo ku lwazi olwereere, guleme okubikkibwako.
9 Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Zisanze ekibuga eky'omusaayi! era nange nditeekera enkoomi okuba ennene.
10 Tindikira enku nnyingi, oyase omuliro, ofumbire ddala ennyama, okwase amazzi g'ennyama, amagumba gasiriire.
11 Olyoke ogiteeke ku manda gaayo nga teriimu kintu, ebugume, n'ekikomo kyayo kiggye, n'empitambi yaayo esaanuuke mu yo, obutalagge bwayo bumalibwewo.
12 Kyekooyezza n'okutegana: era naye obutalagge bwakyo obungi tebukivaamu; obutalagge bwakyo tebuvaamu na muliro.
13 Mu mpitambi yo mulimu obukaba: kubanga nakulongoosa so tewalongoosebwa, kyoliva olema okulongoosebwa empitambi yo nate n'akatono okutuusa lwe ndikkusa ekiruyi kyange ku ggwe.
14 Nze Mukama nkyogedde: kirituuka nange ndikikola; siridda nnyuma so sirisonyiwa so siryejjusa; ng'amakubo go bwe gali era ng'ebikolwa byo bwe biri, bwe balikusalira omusango, bw'ayogera Mukama Katonda.
15 Era ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
16 Omwana w'omuntu, laba, oliba oli awo ne nkuggyako ekyo amaaso go kye geegomba: era naye towuubaalanga so tokaabanga maziga so n'amaziga go galemenga okukulukuta
17 Ssa ebikkowe naye kasirise towuubaalira afudde, weesibe ekiremba kyo, onaanike engatto zo mu bigere, so tobikka ku mimwa gyo, so tolyanga ku mmere ey'abantu.
18 Awo ne njogera n'abantu enkya; akawungeezi mukazi wange n'afa: ne nkola enkya nga bwe nnalagiddwa.
19 Abantu ne baŋŋamba nti Tootubuulire ebigambo bino bwe biri ku ffe, kyova okola bw'otyo?
20 Awo ne mbagamba nti Ekigambo kya Mukama kyanjijidde nga kyogera nti
21 Gamba ennyumba ya Isiraeri nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndyonoona ekifo kyange ekitukuvu, amalala ag'obuyinza bwammwe, amaaso gammwe kye geegomba, n'ekyo emmeeme yammwe ky'esaasira; kale abaana bammwe ab'obulenzi n'ab'obuwala be mwaleka ennyuma baligwa n'ekitala.
22 Nammwe mulikola nga nze bwe nkoze: temulibikka ku mimwa gyammwe so temulirya mmere ya bantu.
23 N'ebiremba byammwe biriba ku mitwe gyammwe, n'engatto zammwe mu bigere byammwe: temuliwuubaala so temulikaaba; naye muliyongoberera mu butali butuukirivu bwammwe, ne musinda buli muntu ne munne.
24 Bwe kityo Ezeekyeri aliba gye muli akabonero; nga byonna bwe biri by'akoze bwe mutyo bwe mulikola: ekyo bwe kirijja, kale ne mulyoka mutegeera nga nze Mukama Katonda.
25 Naawe, omwana w'omuntu, ku lunaku lwe ndibaggyako amaanyi gaabwe, essanyu ery'ekitiibwa kyabwe, amaaso gaabwe kye geegomba, n'ekyo kye bateekako omutima gwabwe, abaana baabwe ab'obulenzi n'ab'obuwala,
26 kale ku lunaku olwo tekiriba bwe kityo ng'oyo aliwona alijja gy'oli okukikuwuliza n'amatu go!
27 Ku lunaku lwo akamwa ko kalyasamira oyo aliba ng'awonye, n'oyogera so toliba kasiru nate: bwe kityo oliba kabonero gye bali; kale balimanya nga ze Mukama.