Ezekyeri
Essuula 36
Naawe, omwana w'omuntu, lagula ensozi za Isiraeri oyogere nti Mmwe ensozi za Isiraeri, muwulire ekigambo kya Mukama.
2 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga omulabe aboogeddeko nti Nyeenya! era nti Ebifo ebigulumivu eby'edda byaffe, tubiridde:
3 kale lagula oyogere nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga, kubanga babalekesezzaawo, era babalidde enjuyi zonna, amawanga agafisseewo gabalye, era musituliddwa mu mimwa gy'aboogezi ne mu bigambo ebibi eby'abantu:
4 kale, mmwe ensozi za Isiraeri, muwulire ekigambo kya Mukama Katonda; bw'ati Mukama Katonda bw'agamba ensozi n'obusozi, ensalosalo n'ebiwonvu, amatongo agaazika n'ebibuga ebyalekebwawo, ebifuuse omuyiggo n'eky'okusekererwa eri amawanga agafisseewo ageetoolodde:
5 Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Mazima njogeredde mu muliro ogw'obuggya bwange eri amawanga agafisseewo n'eri Edomu yonna abeeteekeddewo ensi yange okugirya, omutima gwabwe gwonna nga gusanyuse, emmeeme yaabwe ng'eriko ekyejo, okugisuula okuba omuyiggo:
6 kale lagula eby'ensi ya Isiraeri ogambe ensozi n'obusozi, ensalosalo n'ebiwonvu, nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, njogezezza obuggya bwange n'ekiruyi kyange, kubanga mwabangako ensonyi ez'ab'amawanga:
7 Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Nnyimusizza omukono gwange nga njogera nti Mazima ab'amawanga agabeetoolodde abo be balibaako ensonyi zaabwe.
8 Naye mmwe, ai ensozi za Isiraeri, mulisuula amatabi gammwe, ne mubalira abantu bange Isiraeri ebibala byammwe; kubanga banaatera okujja.
9 Kubanga, laba, nze ndi ku lwammwe, era ndikyukira gye muli, nammwe mulirimibwa, mulisigibwa:
10 era ndyaliza abantu ku mmwe, ennyumba yonna eya Isiraeri, yonna bwe yenkana n'ebibuga birituulwamu n'amatongo galizimbibwa:
11 era ndyaza ku mmwe abantu n'ensolo; era balyeyongera, balizaala: era ndibawa okutuulwako, nga mumaze okuba bwe mutyo, era ndibakola bulungi okusinga bwe nnakola mu kusooka kwammwe: kale mulimanya nga nze Mukama.
12 Weewaawo, nditambuliza ku mmwe abantu, abantu bange Isiraeri; era balikulya, naawe oliba busika bwabwe, so tolibafiiriza nate abaana okuva leero.
13 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga babagamba nti Ggwe ensi, oli muli wa bantu, era waliisizanga eggwanga lyo;
14 kyoliva olema okulya abantu nate, so tolifiisiza nate eggwanga lyo, bw'ayogera Mukama Katonda;
15 so sirikuganya nate okuwulira ensonyi z'ab'amawanga, so tolibaako nate kuvumibwa kwa bantu, so tolyesittaza nate ggwanga lyo, bw'ayogera Mukama Katonda.
16 Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
17 Omwana w'omuntu, ennyumba ya Isiraeri bwe baatuulanga mu nsi yaabwe, baagyonoona olw'ekkubo lyabwe n'olw'ebikolwa byabwe: ekkubo lyabwe mu maaso gange lyabanga ng'obutali bulongoofu bwa mukazi mu kweyawula kwe.
18 Kyennava mbafukako ekiruyi kyange, olw'omusaayi bo gwe baali bafuse ku nsi, era kubanga baali bagyonoonye n'ebifaananyi byabwe:
19 ne mbasaasaanyiza mu mawanga ne bataataaganira mu nsi nnyingi: nnabasalira omusango ng'ekkubo lyabwe bwe lyali era ng'ebikolwa byabwe bwe byali.
20 Awo bwe baatuuka mu mawanga gye baagenda, ne bavumisa erinnya lyange ettukuvu; kubanga abantu baaboogerangako nti Bano bantu ba Mukama, era bavudde mu nsi ye.
21 Naye ne nsaasira erinnya lyange ettukuvu ennyumba ya Isiraeri lye baali bavumisizza mu mawanga gye baagenda.
22 Kale gamba ennyumba ya Isiraeri nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Sikola kino ku lwammwe, ai ennyumba ya Isiraeri, naye ku lw'erinnya lyange ettukuvu lye muvumisizza mu mawanga gye mwagenda.
23 Era nditukuza erinnya lyange ekkulu eryavumisibwa mu mawanga, mmwe lye muvumisizza wakati mu go; kale amawanga galimanya nga nze Mukama, bw'ayogera Mukama Katonda, bwe nditukuzibwa mu mmwe mu maaso gaabwe.
24 Kubanga ndibaggya mu mawanga, ne mbakuŋŋaanya okubaggya mu nsi zonna, ne mbayingiza mu nsi yammwe mmwe.
25 Era ndibamansirako amazzi amalungi, era muliba balongoofu: ndibalongoosa mu mpitambi yammwe yonna ne mu bifaananyi byammwe byonna.
26 Era ndibawa n'omutima omuggya, ne nteeka omwoyo omuggya munda mu mmwe: era ndiggya omutima ogw'ejjinja mu mubiri gwammwe ne mbawa omutima ogw'ennyama.
27 Era nditeeka omwoyo gwange munda mu mmwe, ne mbatambuliza mu mateeka gange, era mulikwata emisango gyange ne mugikola.
28 Awo munaabeeranga mu nsi gye nnawa bajjajjammwe; nammwe munaabanga bantu bange, nange naabanga Katonda wammwe.
29 Era ndibawonya mu butali bulongoofu bwammwe bwonna: era ndiyita eŋŋaano, ne ngyaza, so siribaleetako njala.
30 Era ndyaza ebibala eby'emiti, n'ekyengera eky'omu nnimiro, mulemenga okuweebwa nate ekivume eky'enjala mu mawanga.
31 Kale ne mulyoka mujjukira amakubo gammwe amabi n'ebikolwa byammwe ebitali birungi; kale mulyetamwa mu maaso gammwe mmwe olw'obutali butuukirivu bwammwe n'olw'emizizo gyammwe.
32 Sikola kino ku lwammwe, bw'ayogera Mukama Katonda, mukimanye: mukwatirwe ensonyi amakubo gammwe, muswale, ai ennyumba ya Isiraeri.
33 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ku lunaku lwe ndibanaalizaako obutali butuukirivu bwammwe bwonna, ndituuza abantu mu bibuga, n’amatongo galizimbibwa
34 N'ensi eyalekebwangawo eririmibwa, naye yabanga nsiko mu maaso g'abo bonna abayitawo.
35 Kale balyogera nti Ensi eno eyalekebwangawo efuuse ng'olusuku Adeni; n'ebibuga ebyazika ebyalekebwawo ebyagwa bikoleddwako enkomera, abantu ne babituulamu.
36 Kale amawanga agasigadde okubeetooloola ne galyoka gamanya nga nze Mukama nzimbye ebifo ebyagwa ne nsimba ekyo ekyalekebwawo: nze Mukama nkyogedde, nange ndikikola.
37 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Era njagala ennyumba ya Isiraeri okumbuuzanga ekyo okukibakolera; ndibongerako abantu ng'ekisibo.
38 Ng'ekisibo ekya ssaddaaka, ng'ekisibo ekya Yerusaalemi mu mbaga zaakyo ezaalagirwa; ebibuga ebyazika bwe birijjula bwe bityo ebisibo eby'abantu: kale balimanya nga nze Mukama.