Okukungubaga
Essuula 5
Jjukira, ai Mukama, ebitujjidde: Tunula olabe okuvumibwa kwaffe.
2 Obusika bwaffe bukyuse okuba obw'abanaggwanga, Ennyumba zaffe okuba ez'abatali ba muno.
3 Tuli bamulekwa, so tetulina bakitaffe, Bannyaffe bali nga bannamwandu.
4 Tunywedde amazzi gaffe lwa bintu; Enku zaffe bazituguza.
5 Abatucocca batuuse ku nsingo zaffe: Tukooye so tetulina kiwummulo.
6 Tubagololedde Abamisiri emikono, N'Abasuuli olw'okukkuta emmere.
7 Bakitaffe baayonoona so tebaliiwo; Naffe twetisse obutali butuukirivu bwabwe.
8 Abaddu batufuga: Tewali wa kutulokola mu mukono gwabwe.
9 Tufuna emmere yaffe lwa kusingawo bulamu bwaffe Olw'ekitala eky'omu ddungu.
10 Eddiba lyaffe liddugadde ng'akabiga. Olw'olubugumu olw'enjala olwokya.
11 Baakwatira abakazi mu Sayuuni, Abawala abatamanyi musajja mu bibuga bya Yuda.
12 Abakungu baawanikibwa n'omukono gwabwe: Amaaso g'abakadde tebaagassaamu kitiibwa.
13 Abalenzi baasitula olubengo, N'abaana abato beesittala nga beetikka enku.
14 Abakadde baweddewo mu mulyango Abalenzi baleseeyo okuyimba kwabwe.
15 Essanyu ery'omu mutima gwaffe likomye: Okuzina kwaffe kufuuse okuwuubaala.
16 Engule egudde evudde ku mutwe gwaffe: Zitusanze kubanga twonoonye.
17 Omutima gwaffe kyeguvudde guyongobera; Olw'ebyo amaaso gaffe kyegavudde gayimbaala;
18 Olw'olusozi lwa Sayuuni, olulekeddwawo; Ebibe bitambulira okwo.
19 Ggwe, ai Mukama, obeerera ennaku zonna; Entebe yo ebaawo okuva ku mirembe okutuuka ku mirembe gyonna.
20 Lwaki okutwerabira ennaku zonna, N'otuleka ebiro ebyenkanidde wano?
21 Tukyuse gy'oli, ai Mukama, naffe tunaakyusibwa; Ennaku zaffe ozizze buggya ng'edda.
22 Naye otusuulidde ddala, Otusunguwalidde nnyo.