Okukungubaga

1 2 3 4 5

0:00
0:00

Essuula 3

Nze ndi muntu oyo eyalaba ennaku olw'omuggo ogw'obusungu bwe.
2 Yantwala n'antambuliza mu kizikiza so si mu musana.
3 Mazima tata kundeetako mukono gwe okuzibya obudde.
4 Omubiri gwange n'eddiba lyange abikadiyizza; amenye amagumba gange.
5 Anzimbiddeko n'anneetoolooza omususa n'okulumwa.
6 Antuuzizza mu bifo eby'ekizikiza ng'abo abaafa edda.
7 Ankomedde n'okuyinza ne siyinza kufuluma; azitoyezza olujegere lwange.
8 Weewaawo, bwe nkaaba ne nkuba enduulu okubeerwa, aggalira okusaba kwange.
9 Akomedde amakubo gange n'amayinja amateme, akyamizza empitiro zange.
10 Ali gye ndi ng'eddubu eteega, ng'empologoma eri mu bifo eby'ekyama.
11 Akyamizza olugendo lwange, n'antaagulataagula; ansamaalirizza.
12 Anaanudde omutego gwe, n'anteekawo okuba sabbaawa w'akasaale.
13 Ayingizizza mu mmeeme yange ebiri mu mufuko gwe.
14 Nfuuse eky'okusekererwa eri abantu bange bonna; n'oluyimba lwabwe okuzibya obudde.
15 Anzikusizza obubalagaze, annyiyizza abusinso,
16 Era amenye amannyo gange n'oluyinjayinja, ambisseeko evvu.
17 Era wayawula emmeeme yange okuba ewala n'emirembe; nneerabira omukisa bwe gufaanana.
18 Ne njogera nti Amaanyi gabuze, n'okusuubira kwange okuva eri Mukama.
19 Jjukira ennaku zange n'obuyinike bwange, abusinso n'omususa.
20 Emmeeme yange ekyabijjukira, era ekutamye mu nda yange.
21 Nkijjukira ekyo, kyenvudde mbeera n'okusuubira.
22 Kwe kusaasira kwa Mukama ffe obutamalwawo, kubanga ekisa kye tekiggwaawo.
23 Kiba kiggya buli nkya; obwesigwa bwo bungi.
24 Mukama gwe mugabo gwange, emmeeme yange bw'eyogera; kyennaava mmusuubira.
25 Mukama aba mulungi eri abo abamulindirira, eri emmeeme emunoonya.
26 Kirungi omuntu okusuubiranga n'okulindiriranga obulokozi bwa Mukama ng'ateredde.
27 Kirungi omuntu okusitula ekikoligo mu buto bwe.
28 Atuule yekka asirike, kubanga akimutaddeko.
29 Ateeke akamwa ke mu nfuufu oba nga mpozzi wanaabaawo okusuubira.
30 Awe ettama lye eri oyo amukuba; akkute okuvumibwa.
31 Kubanga Mukama talisuula ennaku zonna.
32 Kuba newakubadde ng'aleeta obuyinike, naye alikwatibwa ekisa ng'olufulube lw'okusaasira kwe bwe luli.
33 Kubanga tagenderera kubonyaabonya newakubadde okuluma abaana b'abantu.
34 Okulinnyirira n'ekigere abasibe bonna ab'omu nsi,
35 Okukyamya ensonga y'omuntu mu maaso g'oyo ali waggulu ennyo,
36 N'okulya ensonga, ebyo Mukama tabisiima.
37 Ani oyo ayogera ne kituukirira, Mukama nga takiragidde?
38 Mu kamwa k'oyo ali waggulu ennyo temuvaamu ebibi n'ebirungi?
39 Omuntu omulamu yeemulugunyiza ki, omuntu olw'okubonerezebwa olw'ebibi bye?
40 Tukebere tukeme emitima gyaffe, tukyukire nate eri Mukama.
41 Tuyimuse emitima gyaffe wamu n'engalo zaffe eri Katonda mu gulu.
42 Tusobezza era tujeemye; tosonyiye.
43 Otubisseeko obusungu, n'otuyigganya; osse so tosaasidde.
44 Weebisseeko ekire, okusaba kwafe kuleme okugguka okutuukayo.
45 Otufudde ng'empitambi n'ebisasiro wakati mu mawanga.
46 Abalabe baffe bonna batwasamidde nnyo akamwa kaabwe.
47 Entiisa n'obunnya bitutuuseeko, okunyagibwa n'okuzikirira.
48 Eriiso lyange likulukuta emigga egy'amazzi olw'okuzikirira kw'omuwala w'abantu bange.
49 Eriiso lyange litonnya, terirekaayo, terita n'akatono,
50 Okutuusa Mukama lw'anaatunula wansi n'alaba ng'ayima mu ggulu.
51 Eriiso lyange linakuwaza emmeeme yange olw'abawala bonna ab'ekibuga kyange.
52 Bancoccedde ddala nnyo ng'ennyonyi, ababa abalabe bange awatali nsonga.
53 Bamazeewo obulamu bwange mu nju ey'obunnya, era bansuddeko ejjinja.
54 Amazzi gaakulukuta ku mutwe gwange; ne njogera nti Mmaliddwawo.
55 Nakaabira erinnya lyo, ai Mukama, nga nnyima mu nju ey'obunnya eya wansi ennyo.
56 N'owulira eddoboozi lyange; tokisa kutu kwo kussa mukka kwange, okukaaba kwange.
57 Wasembera ku lunaku kwe nnakukaabirira: n'oyogera nti Totya.
58 Ai Mukama, wawoza ensonga ez'emmeeme yange; wanunula obulamu bwange.
59 Ai Mukama, olabye okujoogebwa kwange; nsalira omusango.
60 Olabye eggwanga lyonna lye bawalana, n'enkwe zonna ze bansalira.
61 Owulidde okuvuma kwabwe, ai Mukama, n'enkwe zonna ze bansalira;
62 Emimwa gy'abo abangolokokerako n'ebyo bye bandowoolezaako okuzibya obudde.
63 Tunuulira okutuula kwabwe n'okuyimuka kwabwe; nze ndi luyimba lwabwe,
64 Olibasasula empeera, ai Mukama, ng'omulimu bwe guli ogw'emikono gyabwe.
65 Olibawa omutima ogukakanyadde, ekikolimo kyo eri bo.
66 Olibayigganya n'obusungu, n'obazikiriza okuva wansi w'eggulu lya Mukama.