Okukungubaga
Essuula 1
Ekibuga nga kitudde kyokka ekyajjulanga abantu! Nga kifuuse okuba nga nnamwandu! Ekyabanga omukulu mu mawanga, omumbejja mu masaza, Nga kifuuse kya musolo!
2 Akaaba nnyo nnyini ekiro n'amaziga ge gali ku matama ge; Mu baganzi be bonna talina n'omu wa kumusanyusa: Mikwano gye gyonna bamukuusakuusizza, Bafuuse abalabe be.
3 Yuda agenze mu busibe olw'okubonyaabonyezebwa n'olw'obuddu obuzito; Abeera mu bannaggwanga, talaba kiwummulo: Bonna abamuyigganya bamukwatira wabi.
4 Amakubo ga Sayuuni gakaaba, kubanga tewali ajja eri okukuŋŋaana okutukuvu; Emiryango gye gyonna girekeddwawo, bakabona be basinda: Bawala be baliko obuyinike, naye yennyini abalagalwa.
5 Abalabe be bafuuse omutwe, abamukyawa balabye omukisa; Kubanga Mukama amubonyaabonyezza olw'olufulube lw'ebyonoono bye: Abaana be abato bagenze mu kusibibwa mu maaso g'omulabe.
6 Era omuwala wa Sayuuni afiiriddwa obukulu bwe bwonna: Abakungu be bafuuse ng'ennangaazi ezitalaba muddo, Era bagenze nga tebalina maanyi mu maaso g'oyo ayigganya.
7 Yerusaalemi ajjukirira mu nnaku ez'okulabiramu ennaku n'obuyinike Ebintu bye byonna ebisanyusa, ebyabangawo okuva mu nnaku ez'edda: Abantu be bwe baagwa mu mukono gw'omulabe, so nga tewali amuyamba, Abalabe baamulaba ne bakudaalira okuziika kwe.
8 Yerusaalemi yayonoona nnyo nnyini, kyavudde afuuka ng'ekintu ekitali kirongoofu: Bonna abaamussangamu ekitiibwa bamunyoomye, kubanga balabye ensonyi ze: Weewaawo, assa ekikkowe n'akyuka ennyuma.
9 Empitambi ye yali mu birenge bye; teyajjukira nkomerero ye ya luvannyuma; Kyavudde akkakkanyizibwa ddala; talina amusanyusa: Ai Mukama, tunuulira okubonyaabonyezebwa kwange; kubanga omulabe yeegulumizizza.
10 Omulabe agolodde omukono gwe ku bintu bye byonna ebisanyusa: Kubanga alabye nga bannaggwanga bayingidde mu kifo kye ekitukuvu. Be walagirako baleme okuyingiranga mu kibiina kyo.
11 Abantu be bonna bassa ebikkowe, banoonya emmere; Bawaddeyo ebintu byabwe ebisanyusa okugula emmere okuweezaweeza emmeeme yaabwe: Tunula, ai Mukama, olabe; kubanga nfuuse ataliiko ky'agasa.
12 Temufaayo, mmwe mwenna abayitawo? Mutunule mulabe oba nga waliwo obuyinike bwonna obwenkana obuyinike bwange obukoleddwa nze, Mukama bw'ambonyaabonyezezza ku lunaku olw'ekiruyi kye.
13 Yaweereza omuliro mu magumba gange ng'ayima waggulu, ne gugawangula: Ategedde ebigere byange ekitimba, anzizizza ennyuma, Andeeseeko okuwuubaala n'okuzirika n'okuyongobera okuzibya obudde.
14 Ekikoligo ky'ebyonoono byange omukono gwe gwe gukisibye; Byezinzezinze, birinnye ku nsingo yange; amazeewo amaanyi gange: Mukama angabudde mu mikono gy'abo be siyinza kuyimirira mu maaso gaabwe.
15 Mukama anyoomye abasajja bange bonna ab'amaanyi wakati mu nze; Ankuŋŋaanyirizzaako okukuŋŋaana okutukuvu okubetenta abalenzi bange: Mukama asambye omuwala wa Yuda atamanyi musajja nga mu ssogolero.
16 Olw'ebyo kyenvudde nkaaba amaziga; eriiso lyange, eriiso lyange likulukuta amazzi; Kubanga omukubagiza eyandisanyusizza emmeeme yange andi wala: Abaana bange balekeddwawo kubanga omulabe awangudde.
17 Sayuuni ayanjuluza emikono gye; tewali wa kumukubagiza; Mukama alagidde ebya Yakobo abo abamwetoolodde babeere abalabe be: Yerusaalemi ali mu bo ng'ekintu ekitali kirongoofu.
18 Mukama mutuukirivu; kubanga njeemedde ekiragiro kye: Muwulire, mbeegayiridde, mmwe amawanga gonna, mulabe obuyinike bwange: Abawala bange n'abalenzi bange bagenze mu busibe.
19 Nayita baganzi bange, naye ne bannimba: Bakabona bange n'abakadde bange baaweerayo obulamu bwabwe mu kibuga, Nga bwe beenoonyeza emmere okuweezaweeza emmeeme zaabwe.
20 Tunula, ai Mukama; kubanga ndi munaku: emmeeme yange yeeraliikiridde; Omutima gwange gukyuse munda yange; kubanga njeemye nnyo nnyini: Ebweru ekitala kinnyaga, mu nju mulimu ng'okufa.
21 Bawulidde nga nzisa ebikkowe; tewali wa kunkubagiza; Abalabe bange bonna bawulidde ennaku ze ndabye; basanyuse kubanga okireese: Olireeta olunaku lwe walangirira, nabo balifaanana nze.
22 Obubi bwabwe bwonna butuuke mu maaso go; Era obakole bo nga bw'onkoze nze olw'okusobya kwange kwonna: Kubanga ebikkowe bye nzisa bingi, n'omutima gwange guyongobedde.