Okukungubaga
Essuula 4
Zaabu ng'eyonoonese! zaabu ennungi ennyo nnyini nga efuuse! Amayinja ag'omu kifo ekitukuvu gafukibwa buli luguudo we lusibuka.
2 Batabani ba Sayuuni ab'omuwendo omungi, abenkana zaabu ennungi, Nga bayitiddwa nsuwa za bbumba, omulimu gw'emikono gy'omubumbi!
3 Era n'emisege giggyayo amabeere, giyonsa abaana baagyo: Omuwala w'abantu bange afuuse mukambwe nga bamaaya mu ddungu.
4 Olulimi lw'omwana ayonka lwegasse n'ekibuno kye olw'ennyonta: Abaana abato basaba emmere, so tewali abagibegera.
5 Abaalyanga nga beenaanya bawuubaalira mu nguudo: Abaakulira mu ngoye entwakaavu bawambaatira mmungo,
6 Kubanga obutali butuukirivu bw'omuwala w'abantu bange businga obunene ekibi kya Sodomu, Ekyasuulibwa nga mu kaseera, so tewali eyakissaako omukono.
7 Abakungu baali balongoofu okusinga omuzira, baali beeru okusinga amata, Emibiri gyabwe gyasinga amayinja amatwakaavu okumyuka, baali banyirivu nga safiro:
8 Amaaso gaabwe gaasinga ekisiriiza okuddugala; tebaamanyibwa mu nguudo: Eddiba lyabwe lyegasse n'amagumba gaabwe; likaze, lifuuse ng'omuggo.
9 Abattiddwa n'ekitala basinga abo abafudde enjala; Kubanga abo bayongobera nga bafumitiddwa olw'okubulwa ebibala eby'omu nnimiro.
10 Abakazi ab'okusaasira okungi bafumbye abaana baabwe bo n'emikono gyabwe bo; Baabanga ba kulya gye bali mu kuzikirira kw'omuwala w'abantu bange.
11 Mukama atuukirizza ekiruyi kye, era afukidde ddala obusungu bwe obukambwe; Era akumye omuliro mu Sayuuni ogwokezza emisingi gyakyo.
12 Bakabaka b'ensi tebakkiriza, newakubadde bonna abatuula mu nsi zonna, Ng'omulabe n'oyo abakyawa agenda okuyingira mu miryango gy'e Yerusaalemi.
13 Lwa bibi bya bannabbi baamu n'obutali butuukirivu bwa bakabona baamu, Abaayiwa omusaayi gw'abatuukirivu wakati mu kyo.
14 Bawaba ng'abazibe b'amaaso mu nguudo, boonoonese n'omusaayi, N'okuyinza abantu ne batayinza kukoma ku byambalo byabwe.
15 Muveewo, bwe baabalangira, nti Ekitali kirongoofu muveewo, muveewo, temukomako: Bwe badduka ne bawaba, abantu ne boogera mu mawanga nti Tebakyabeera wano nate.
16 Obusungu bwa Mukama bubasaasaanyizza; takyassaayo mwoyo eri bo: Tebatya maaso ga bakabona, tebaganza bakadde.
17 Amaaso gaffe gakyaziba nga tutunuulira okubeerwa kwaffe okutaliiko kye kugasa: Bwe twalindirira twalindirira eggwanga eritayinza kulokola.
18 Bacocca ebisinde byaffe, n'okuyinza ne tutayinza kutambulira mu nguudo zaffe: Enkomerero yaffe eneetera kutuuka, ennaku zaffe zituukiridde; kubanga enkomerero yaffe etuuse.
19 Abatuyigganya basinga embiro empungu ez'omu bbanga: Batucoccera ku nsozi, baatuteegera mu ddungu.
20 Omukka ogw'omu nnyindo zaffe, oyo Mukama gwe yafukako amafuta, yakwatibwa mu bunnya bwabwe; Gwe twayogerako nti Tulituula mu mawanga wansi w'ekisiikirize ky'oyo.
21 Sanyuka ojaguze, ai omuwala wa Edomu abeera mu nsi ya Uzi: Ekikompe kirigguka kirituuka ne ku ggwe; olitamiira ne weebikkula.
22 Okubonereza obutali butuukirivu bwo kutuukiridde, ai omuwala wa Sayuuni; Takyakutwala nate mu busibe: Alibonereza obutali butuukirivu bwo, ai omuwala wa Edomu; Alikunnyonnyola ebibi byo.