0:00
0:00

Essuula 8

Mukama n'aŋŋamba nti Weetwalire ekipande ekinene, okiwandiikeko n'ekkalaamu ey'omuntu nti Kya Makeru-salalukasu-bazi;
2 nange ndyetwalira abajulirwa abeesigwa okuwandiika, Uliya kabona, ne Zekkaliya omwana wa Yeberekiya.
3 Ne ŋŋenda eri nnabbi omukazi; n'aba lubuto, n'azaala omwana wa bulenzi. Mukama n'alyoka aŋŋamba nti Mutuume erinnya Makeru-salalu-kasu-bazi.
4 Kubanga omwana nga tannamanya kukaaba nti Kitange, era nti Mmange, obugagga obw'e Ddamasiko n'omunyago ogw'e Samaliya birinyagibwa mu maaso ga kabaka w’e Bwasuli.
5 Mukama n'ayogera nange nate omulundi omulala nti
6 Kubanga abantu bano bagaanyi amazzi ga Sirowa agatambula empola, ne basanyukira Lezini n'omwana wa Lemaliya;
7 kale nno, laba, Mukama ayambusa ku bo amazzi ag'Omugga, ag'amaanyi era amangi, kabaka w’e Bwasuli n'ekitiibwa kye kyonna: era alyambuka okusukkirira ensalosalo ze zonna, era aliyiika ku ttale lye lyona:
8 era alyeyongera n'akulukuta okutuuka mu Yuda; alyanjaala aliyitamu; alikoma ne mu bulago; n'okugololwa kw'ebiwaawaatiro bye kulijjuza ensi yo, ggwe Imanueri; nga bwe yenkana obugazi.
9 Muyoogaane, mmwe amawanga, mulimenyekamenyeka; era mutege amatu, mmwe mwenna ab'omu nsi ez'ewala: mwesibe, mulimenyekamenyeka; mwesibe, mulimenyekamenyeka.
10 Muteese ebigambo wamu, birizikirizibwa; mwogere ekigambo, tekiriyimirira: kubanga Katonda ali wamu naffe.
11 Kubanga Mukama yayogera nange bw'atyo n'omukono ogw'amaanyi, n'anjigiriza nneme okutambulira mu kkubo ly'abantu bano, ng'ayogera nti
12 Temwogera nti Okwekoba, mu byonna eggwanga lino bye liryogerako nti Okwekoba; so temutya kutya kwabwe, so temutekemuka.
13 Mukama ow'eggye oyo gwe muba mutukuza; era oyo abeerenga entiisa yammwe, era oyo abeerenga ekitiibwa kyammwe.
14 Era aliba ng'awatukuvu; naye aliba ng'ejjinja ery'okwesittalwako era olwazi olugwisa eri ennyumba zombi eza Isiraeri, okuba omutego era ekyambika eri abo abatuula mu Yerusaalemi.
15 Era bangi abaliryesittalako, ne bagwa, ne bamenyeka, ne bategebwa, ne bakwasibwa.
16 Sibira ddala okutegeeza, osse akabonero ku mateeka mu bayigirizwa bange.
17 Era ndirindirira Mukama, akweka amaaso ge ennyumba ya Yakobo, ne mmunoonya.
18 Laba, nze n'abaana Mukama b'ampadde bya kuba bubonero era bya kuba byewuunyo mu Isiraeri ebiva eri Mukama ow'eggye, atuula ku lusozi Sayuuni.
19 Era bwe babagambanga nti Mubuuze abo abaliko emizimu n'abafumu, abalira ng'ennyonyi era abajoboja: eggwanga tekirigwanira kubuuza Katonda waabwe? Ebigambo by'abalamu bandibibuuzizza bafu?
20 Tudde eri amateeka n'obujulirwa! oba nga teboogera ng'ekigambo ekyo bwe kiri, mazima obudde tebugenda kubakeerera.
21 Era baliyita mu nsi, nga beeraliikirira nnyo nga balumwa enjala: awo olunaatuukanga bwe banaalumwanga enjala, banaanyiiganga ne bakolima nga balayira kabaka waabwe ne Katonda waabwe, ne batunuza amaaso gaabwe waggulu:
22 era banaatunuuliranga ensi, era, laba, nnaku n'ekizikiza, ekizikiza eky'okubonyaabonyezebwa; era baligoberwa mu kizikiza ekikutte.