Isaaya
Essuula 1
Okwolesebwa kwa Isaaya omwana wa Amozi, kwe yalabanga ku Yuda ne Yerusaalemi, mu mirembe gya Uzziya, Yosamu, Akazi; ne Keezeekiya, bassekabaka ba Yuda.
2 Wulira ggwe Eggulu era tega okutu, ggwe Ensi, kubanga Mukama ayogedde: nayonsa ne ndera abaana, ne banjeemera,
3 Ente emanya nnyini yo, n'endogoyi emanya ekisibo kya mukama waayo: naye Isiraeri tamanyi, abantu bange tebalowooza.
4 Woowe eggwanga eririna ebibi, abantu abazitoowereddwa n'obutali butuukirivu, ezzadde ery'abakola obubi, abaana aboonoona: balese Mukama, banyoomye Omutukuvu wa Isiraeri, basenguse bazze ennyuma.
5 Ekibaagaza ki okukubibwa nate, n'okweyongera ne mweyongera okujeema? omutwe gwonna gulwadde, n'omutima gwonna guzirise.
6 Okuva munda w'ekigere okutuuka ku mutwe temuliimu bulamu; wabula ebiwundu, n'okuzimba, n'amabwa amavundu: tebibunizibwanga so tebisibibwanga so tebiteekebwangamu mafuta.
7 Ensi yammwe ezise; ebibuga byammwe byokeddwa omuliro; ensi yammwe, ab'amawanga bagiriira mu maaso gammwe, era ezise, kubanga ab'amawanga bagisudde.
8 Era omuwala wa Sayuuni asigadde ng'ensiisira eri mu lusuku lw'emizabbibu, ng'ekikuumirwamu ekiri mu nnimiro y'emyungu, ng'ekibuga ekizingizibwa.
9 Mukama ow'eggye singa teyatulekerawo kitundu ekyafikkawo ekitono ennyo, twandibadde nga Sodomu, twandifaananye nga Ggomola.
10 Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abafuga Sodomu; mutege okutu eri amateeka ga Katonda waffe, mmwe abantu ab'e Ggomola.
11 Zigasa ki ssaddaaka zammwe enkumu ze munsalira, bw'ayogera Mukama: nzikuse endiga ennume enjokye eziweebwayo n'amasavu g'ensolo ensibe; so sisanyukira musaayi gwa nte, newakubadde ogw'abaana b'endiga, newakubadde ogw'embuzi emmandwa.
12 Bwe mujja okulabika mu maaso gange, ani eyabasalira kino, okulinnyirira empya zange?
13 Temuleetanga nate bitone ebitaliimu; obubaane bwa muzizo gye ndi; emyezi egibonese ne ssabbiiti, okuyita amakuŋŋaaniro, sisobola butali butuukirivu na kukuŋŋaana kwa ddiini.
14 Emyezi gyammwe egibonese n'embaga zammwe eziragiddwa obulamu bwange bubikyawa: kwe kutegana gye ndi; nkooye okubigumiikirizanga.
15 Era bwe munaayanjalanga engalo zammwe, naabakwekanga amaaso gange: weewaawo, bwe munaasabanga ebigambo ebingi, siiwulirenga: emikono gyammwe gijjudde omusaayi.
16 Munaabe, mwerongoose; muggyengawo obubi bw'ebikolwa byammwe bive mu maaso gange; mulekenga okukola obubi:
17 muyige okukolanga obulungi; mugobererenga eby'ensonga; mudduukirirenga ajoogebwa, musalenga omusango gw'atalina kitaawe, muwolerezenga nnamwandu.
18 Mujje nno, tuteese fembi bw'ayogera Mukama: ebibi byammwe ne bwe biba ng'olugoye olumyufu, binaaba byeru ng'omuzira; ne bwe bitwakaala ng'ebendera, binaaba ng'ebyoya by’endiga.
19 Bwe munaagondanga nemuwulira; munaalyanga ebirungi eby’ensi:
20 naye bwe munaagaananga ne mujeemanga, munaaliibwanga n'ekitala: kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.
21 Ekibuga ekyesigwa nga kifuuse omwenzi! oyo eyajjulanga emisango egy'ensonga! obutuukirivu bwatuulanga mu ye, naye kaakano bassi.
22 Effeeza yo efuuse masengere, omwenge gwo gutabudwamu amazzi.
23 Abalangira bo bajeemu, mikwano gya babbi; buli muntu yeegomba enguzi, era agoberera empeera: tebasala musango gw'atalina kitaawe, so n'ensonga ya nnamwandu tetuuka gye bali.
24 Kyava ayogera Mukama, Mukama ow'eggye, Owaamaanyi owa Isiraeri, nti A, ndyeggyako abalabe bange, era ndiwalana eggwanga ku abo abankyawa:
25 era ndikuteekako omukono gwange, ne nnongooseza ddala amasengere go gonna, ne nziyawo essasi lyo lyonna:
26 era ndikomyawo abalamuzi bo ng'olubereberye, n'abateesa ebigambo byo nga mu kusooka: oluvannyuma oliyitibwa nti Ekibuga eky'obutuukirivu, ekibuga ekyesigwa.
27 Sayuuni alinunulibwa n'omusango n'abakyufu be n'obutuukirivu.
28 Naye okuzikirira kw'aboonoonyi n'abalina ebibi kulibeera wamu n'abo abaleka Mukama balimalibwawo.
29 Kubanga ensonyi ziribakwata olw'emivule gye mwegomba, era muliswazibwa olw'ensuku ze mweroboza.
30 Kubanga muliba ng'omuvule oguwotoka amalagala, era ng'olusuku omutali mazzi.
31 Era ow'amaanyi aliba ng'enfuuzi, n'omulimu gwe ng'olusasi olw'omuliro; era byombi biriggiira wamu, so tewaliba abizikiza.