0:00
0:00

Essuula 23

Omugugu gwa Ttuulo. Muwowoggane, mmwe ebyombo eby'e Talusiisi; kubanga kizise, obutabaamu nnyumba newakubadde okuyingiramu; bakibikkuliddwa okuva mu nsi ya Kittimu.
2 Musirike, mmwe abatuula ku kizinga; ggwe abasuubuzi ab’e Zidoni abawunguka ennyanja gwe bajjuza.
3 Era ku mazzi amangi ensigo za Sikoli, ebikungulwa bya Kiyira, bye byali amagoba ge; era oyo ye yali akatale k'amawanga.
4 Kwatibwa ensonyi, ggwe Zidoni: kubanga ennyanja eyogedde, ekigo eky'ennyanja, nti Sinnalumwa kuzaala, so sinnazaala, so sinnayonsa balenzi, so sinnalera bawala.
5 Ebigambo bwe birituuka e Misiri, balinakuwalira nnyo ebigambo eby'e Ttuulo.
6 Muwunguke mugende e Talusiisi; muwowoggane, mmwe abatuula ku kizinga.
7 Kino kye kibuga kyammwe eky'essanyu ekimaze emyaka emingi era ebigere byakyo ebyakitwalanga mu bitundu eby'ewala olw'obubudamo?
8 Ani ateesezza kino ku Ttuulo, ekibuga ekitikkira engule, abasuubuzi baamu balangira, abatunzi baamu be b'ekitiibwa mu nsi?
9 Mukama ow'eggye ye akiteesezza, okuvumisa amalala ag'ekitiibwa kyonna, okunyoomesa ab'ekitiibwa bonna mu nsi.
10 Yita mu nsi yo nga Kiyira, ggwe muwala wa Talusiisi; tewakyali lukoba olukusiba.
11 Agolodde omukono gwe ku nnyanja, anyeenyezza obwakabaka: Mukama alagidde eby'e Kanani, okuzikiriza ebigo byamu.
12 N'ayogera nti Tokyeyongera kusanyuka, ggwe muwala wa Zidoni ajoogebwa: golokoka, owunguke ogende e Kittimu; era n'eyo toliba na kuwummula.
13 Laba, ensi ey'Abakaludaaya; eggwanga lino terikyaliwo; Omwasuli agifudde ey'ensolo ez'omu ddungu: baazimba ebigo byabwe, baasuula amayumba gaamu; yabizikiriza.
14 Muwowoggane, mmwe ebyombo eby'e Talusiisi: kubanga ekigo kyammwe kizise.
15 Awo olulituuka ku lunaku luli Ttuulo kiryerabirirwa emyaka nsanvu, ng'ennaku za kabaka omu bwe ziriba: emyaka nsanvu nga giweddeko ebiriba ku Ttuulo biriba ng'ebiri mu luyimba olw'omwenzi.
16 Ddira ennanga otambuletambule mu kibuga, ggwe omwenzi eyeerabirwa; kuba bulungi ennanga, oyimbe ennyimba nnyingi, olyoke ojjukirwe.
17 Awo olulituuka emyaka nsanvu nga giweddeko Mukama alijjira Ttuulo, naye aliddira empeera ye, era alyenda n'obwakabaka bwonna obw'ensi obusaasaanidde wonna.
18 N'ebibye eby'obuguzi n'empeera ye biriba butukuvu eri Mukama: tebiriterekebwa so tebiriwanikibwa; kubanga ebibye eby'obuguzi biriba by'abo abatuula mu maaso ga Mukama, okulyanga okukkuta, n'okuba ebyambalo ebigumu.