0:00
0:00

Essuula 35

Olukoola n'amatongo birijaguza; n'eddungu lirisanyuka, lirisansula ng'ekiyirikiti.
2 Lirisukkiriza okusansula, lirisanyuka n'essanyu n'okuyimba; ekitiibwa kya Lebanooni kiririweebwa, obulungi obungi obwa Kalumeeri ne Saloni: baliraba ekitiibwa kya Mukama, obulungi obungi obwa Katonda waffe.
3 Munyweze emikono eminafu, mukakase n'amaviivi agajugumira.
4 Mugambe abo abalina omutima omuti nti Mubeere n'amaanyi, temutya: laba Katonda wammwe alijja n'okuwalana eggwanga, n'empeera ya Katonda; alijja n'abalokola.
5 Awo amaaso g'omuzibe w'amaaso ne galyoka gazibuka, n'amatu g'omuggavu w'amatu galigguka.
6 Awo awenyera n'alyoka abuuka ng'ennangaazi, n'olulimi lwa kasiru luliyimba: kubanga amazzi galitiiriikira mu lukoola, n'emigga mu ddungu.
7 N'omusenyu ogumasamasa gulifuuka ekidiba, n'ettaka ekkalangufu nzizi za mazzi: mu kifo eky'ebibe mwe byagalamiranga, muliba omuddo n'essaalu n'ebitoogo.
8 Era eribaayo oluguudo, n'ekkubo, era liriyitibwa nti Kkubo lya butukuvu; abatali balongoofu tebaliriyitamu; naye liriba lya bali: abatambuze, weewaawo abasirusiru, tebaliriwabiramu.
9 Teribaayo mpologoma, so tekulirinnyako nsolo yonna ey'amaddu, tezirirabikayo; naye abaanunulibwa be baliritambuliramu:
10 n'aba Mukama abaagulibwa balikomawo, ne bajja e Sayuuni nga bayimba; n'essanyu eritaliggwaawo liribeera ku mitwe gyabwe: balifuna essanyu n'okujaguza, n'okunakuwala n'okusinda kuliddukira ddala.