0:00
0:00

Essuula 30

Zibasanze abaana abajeemu bw'ayogera Mukama, abateesa ebigambo, naye si nange; era ababikka n'ekibikka, naye si kya mwoyo gwange, balyoke bongere ekibi ku kibi:
2 abatambula okuserengeta okugenda e Misiri, so nga tebabuuzizza mu kamwa kange; okwenyweza mu maanyi ga Falaawo, n'okwesiga ekisiikirize eky'e Misiri!
3 Amaanyi ga Falaawo kyegaliva gabeera ensonyi zammwe, n'okwesiga ekisiikirize eky'e Misiri kuliba kuswala kwammwe.
4 Kubanga abakulu be bali Zowani, n'ababaka be batuuse e Kanesi.
5 Bonna balikwatirwa ensonyi abantu abatayinza kubagasa abatayamba newakubadde okugasa wabula ensonyi era ekivume.
6 Omugugu ogw'ensolo ez'omu bukiika obwa ddyo. Bayita mu nsi ey'okulaba ennaku n'okubalagalwa, omuva empologoma enkazi n'ensajja, embalasaasa n'omusota ogw'omuliro ogubuuka nga batikka obugagga bwabwe ku mabega g'endogoyi ento, n'ebintu byabwe ku mabango g'eŋŋamira nga bagenda eri abantu abatagenda kubagasa.
7 Kubanga Misiri abeerera bwereere era busa: kyenvudde mmuyita Lakabu atuula obutuuzi.
8 Kale genda okiwandiikire ku kipande mu maaso gaabwe, okiteeke ne mu kitabo, kibeere kya biro ebigenda okujja emirembe n'emirembe.
9 Kubanga be bantu abajeemu, abaana ab'obulimba, abaana abataganya kuwulira mateeka ga Mukama:
10 abagamba abalabi nti Temulabanga; n'abalaguzi nti Temutulaguliranga bya mazima, mutubuulire ebiweweevu mulagule eby'obulimba:
11 muve mu luguudo, mukyame okuva mu kkubo, Omutukuvu owa Isiraeri mumumalewo mu maaso gaffe.
12 Kyava ayogera Omutukuvu owa Isiraeri nti Kubanga munyoomye ekigambo kino ne mwesiga okujooga n'obubambaavu ne mwesigama okwo;
13 obutali butuukirivu buno kyebuliva bubeera gye muli ng'ekituli ekiwagule ekyagala okugwa, ekizimba enkundi mu kisenge ekiwanvu, okumenyeka kwakyo kujja mangu obutamanyirira.
14 Era alikimenya ng'ekintu eky'omubumbi bwe kimenyeka, ng'akimenyamenya awatali kusaasira; n'okulabika ne wataabika lugyo mu bitundu byakyo olw'okusena omuliro mu kyoto, oba olw'okusena amazzi mu kidiba.
15 Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda, Omutukuvu owa Isiraeri nti Mu kudda ne mu kuwummula mwe mulirokokera; mu kutereera ne mu kwesiga mwe muliba amaanyi gammwe: mmwe ne mutayagala.
16 Naye ne mugamba nti Nedda, kubanga tuliddukira ku mbalaasi; kyemuliva mudduka: era nti Tulyebagala ku z'embiro; abalibagoberera kyebaliva babeera ab'embiro.
17 Olukumi balidduka olw'okuboggola kw'omu; olw'okuboggola kw'abataano mulidduka: okutuusa lwe mulisigala ng'omulongooti oguli ku ntikko y'olusozi, era ng'ebendera eri ku kasozi.
18 Era Mukama kyaliva alinda, abakwatirwe ekisa, era kyaliva agulumizibwa abasaasire: kubanga Mukama Katonda alaba ensonga; balina omukisa bonna abamulindirira.
19 Kubanga abantu balituula ku Sayuuni e Yerusaalemi: tolikaaba nate maziga; talirema kukukwatirwa kisa olw'eddoboozi ery'okukaaba kwo; bw'aliwulira alikwanukula.
20 Era Mukama newakubadde ng'akuwa emmere ey'okulaba ennaku n'amazzi ag'okubonyaabonyezebwa, naye abayigiriza bo nga tebakyakwekebwa nate, naye amaaso go galiraba abayigiriza bo:
21 n'amatu go ganaawuliranga ekigambo ekikuvaako ennyuma nga kyogera nti Lino lye kkubo, mulitambuliremu; bwe munaakyamiranga ku mukono ogwa ddyo, era bwe munaakyamiranga ku gwa kkono.
22 Era mulyonoona ebibikka ku bifaananyi byo ebyole ebya ffeeza, n'ebisaanikira ku bifaananyi byo ebifumbe ebya zaabu: olibisuulira ddala ng'ekintu ekitali kirongoofu; olikigamba nti Vaawo.
23 Era alitonnyesa enkuba ey'ensigo zo, z'olisiga mu ttaka; era aligaba emmere ey'ekyengera eky'ettaka, era eriba ŋŋimu era nnyingi: ku lunaku luli ebisibo byo biririira mu malundiro amagazi.
24 Era ente n'endogoyi ento ezirima ettaka zinaalyanga ebyokulya ebirimu omunnyo, ebyawewebwa n'olugali n'ekiwujjo.
25 Era ku buli lusozi olugulumivu ne ku buli kasozi akawanvu kuliba ensulo n'emigga gy'amazzi, ku lunaku olw'okutta abangi, ebigo bwe birigwa.
26 Era omusana gw'omwezi guliba ng'omusana gw'enjuba, n'omusana gw'enjuba gulyeyongera emirundi musanvu ng'omusana gw'ennaku omusanvu, ku lunaku Mukama lw'alisibirako ekinuubule eky’abantu be n'awonya ekiwundu eky'okufumitibwa kwabwe.
27 Laba, erinnya lya Mukama liva wala, nga lyaka n'obusungu bwe, era nga linyooka omukka omuziyivu emimwa gye gijjudde okunyiiga, n'olulimi lwe luli ng'omuliro ogwokya:
28 n'omukka gwe guli ng'omugga ogwanjaala, ogutuuka ne mu bulago, okukuŋŋunta amawanga n'olugali olw'obutaliimu: n'olukoba oluwabya luliba mu mba z'amawanga.
29 Muliba n'oluyimba ng'ekiro bwe bakwata embaga entukuvu n'essanyu ery'omu mutima, ng'omuntu bw'agenda n'endere okujja ku lusozi lwa Mukama, eri Olwazi lwa Isiraeri.
30 Era Mukama aliwuliza eddoboozi lye ery'ekitiibwa, era aliraga okukka kw'omukono gwe, n'okunyiiga kw'obusungu bwe, n'olulimi lw'omuliro ogwokya n'okubwatuka ne kibuyaga n'omuzira.
31 Kubanga olw'eddoboozi lya Mukama Omwasuli alimenyekamenyeka, eyakubanga n'oluga.
32 Na buli lwe banaamukubanga n'omuggo ogwalagirwa, Mukama gw'alimuteekako, wanaabangawo ebitaasa n'ennanga: era alirwana nabo mu ntalo ez'okunyeenya.
33 Kubanga Tofesi kyategekebwa okuva edda; weewaawo, kyateekerwateekerwa kabaka; akifudde kiwanvu era kinene: ekikoomi kyakyo muliro na nku nnyingi; omukka gwa Mukama, ng'omugga ogw'ekibiriiti, gukyasa.