Isaaya
Essuula 38
Mu biro ebyo Keezeekiya n'alwala kumpi n'okufa. Isaaya nabbi mutabani wa Amozi n'ajja gy'ali n’amugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Teekateeka ennyumba yo; kubanga ogenda kufa so togenda kulama.
2 Awo Keezeekiya n'akyusiza amaaso ge ku kisenge ne yeegayirira Mukama n'ayogera nti
3 Jjukira kaakano, ai Mukama, nkwegayiridde, bwe nnatambuliranga mu maaso go n'amazima n'omutima ogwatuukirira, ne nkola ebiri mu maaso go ebirungi. Keezeekiya n'akaaba nnyo amaziga.
4 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Isaaya nti
5 Genda ogambe Keezeekiya nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda wa Dawudi kitaawo, nti Mpulidde okusaba kwo, ndabye amaziga go: laba, ndyongera ku nnaku zo emyaka kkumi n'etaano.
6 Era ndikuwonya ggwe n'ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli: era ndirwanirira ekibuga kino.
7 Era kano ke kanaaba akabonero gy'oli okuva eri Mukama nga Mukama alikola ekigambo kino ky'ayogedde:
8 laba, nazzaayo ennyuma ekisiikirize ekiri ku madaala, ekikkidde ku madaala ga Akazi awamu, n'enjuba, ebbanga ery'amadaala ekkumi. Awo enjuba n'eddayo ebbanga ery'amadaala ekkumi ku madaala ge yali ekkiddeko.
9 Okuwandiika kwa Keezeekiya kabaka wa Yuda, bwe yamala okulwala era ng'awonye endwadde ye.
10 N'ayogera nti Mu ttuntu ly'ennaku zange mwe ndigendera mu miryango gy'emagombe: Nzigiddwako emyaka gyange egisigaddeyo.
11 N'ayogera nti Siriraba Mukama, Mukama mu nsi y'abalamu: Siriraba bantu nate wamu n'abatuula mu nsi.
12 Ebiro byange bivuddewo, era binzigiddwako ng'eweema ey'omusumba: Nzinze obulamu bwange ng'omulusi w'engoye; alinsala ku muti ogulukirwako: Okuva enkya okutuusa ekiro olimmalirawo ddala.
13 Neesirisa okutuusa enkya; ng'empologoma, bw'amenya bw'atyo amagumba gange gonna: Okuva enkya okutuusa ekiro olimmalirawo ddala.
14 Ng'akataayi oba sekanyolya, bwe nnavulungutana bwe ntyo; Nawuubaala nga kaamukuukulu: amaaso gange gafuuyirira olw'okulalama; Ai Mukama, njoogebwa; ggwe beera muyima wange.
15 Naayogera ntya? yayogedde nange era ye yennyini ye akikoze: Naatambulanga mpola emyaka gyange gyonna olw'okubalagalwa kw'obulamu bwange.
16 Ai Mukama, olw'ebyo abantu baba balamu, Era mu ebyo mwokka mwe muli obulamu bw'omwoyo gwange: Kale mponya onnamye.
17 Laba, olw'emirembe gyange kyennava mbalagalwa ennyo: Naye ggwe olw'okwagala obulamu bwange obuwonyezza mu bunnya obuvundirwamu; Kubanga osudde ebibi byange byonna ennyuma w'amabega go.
18 Kubanga amagombe tegayinza kukutendereza, okufa tekuyinza kukusuuta: Abo abakka mu bunnya tebayinza kusuubira mazima go.
19 Omulamu, omulamu ye alikutendereza nga nze bwe nkola leero Kitaabwe alitegeeza abaana amazima go.
20 Mukama yeeteeseteese okundokola: Kyetunaavanga tuyimbira ennyimba zange mu nnanga Ennaku zonna ez'obulamu bwaffe mu nnyumba ya Mukama.
21 Era Isaaya yali ayogedde nti Baddire ekitole ky'ettiini bakisiige ku jjute, era aliwona.
22 Ne Keezeekiya yali ayogedde nti Kaluwa akabonero nga ndyambuka mu nnyumba ya Mukama?