0:00
0:00

Essuula 47

Serengeta otuule mu nfuufu ggwe omuwala wa Babulooni atamanyi musajja; tuula ku ttaka awatali ntebe ya bwakabaka, ggwe omuwala w'Abakaludaaya: kubanga tebakyakuyitanga nyanyali era mwekanasi.
2 Ddira emmengo ose obutta: bikkula ku maaso, ggyako ekirenge, bikkula ku kugulu, oyite mu migga.
3 Obwereere bwo bulibikkuka, weewaawo, ensonyi zo zirirabika: ndiwalana eggwanga so sirikkiriza muntu yenna.
4 Omununuzi waffe, Mukama ow'egge lye linnya lye, Omutukuvu wa Isiraeri.
5 Tuula ng'osirise, weegendere mu kizikiza, ggwe omuwala w'Abakaludaaya: kubanga tebakyakuyitanga Mukyala wa mu bwakabaka.
6 Nasunguwalira abantu bange, navumisa obusika bwange, ne mbawaayo mu mukono gwo: tewabasaasira n'akamu; ku bakadde obataddeko ekikoligo kyo kizito nnyo.
7 N'oyogera nti Naabanga mukyala ennaku zonna: ebyo n'otobissa ku mwoyo so tewajjukira nkomerero yaabyo ya luvannyuma.
8 Kale nno kaakano wulira kino, ggwe aweereddwa ejjaliri okwesiima, atuula ng'osiita, ayogera mu mutima gwo nti Wendi, so tewali mulala wabula nze; sirituula nga nnamwandu, so sirimanya kufiirwa baana:
9 naye bino byombiriri birikujjira mangu ku lunaku lumu, okufiirwa abaana ne bunnamwandu: birikujjako mu kigera kyabyo ekituukiridde, obulogo bwo newakubadde nga bungi butya, n'obusawo bwo newakubadde nga busukkiridde obungi.
10 Kubanga weesiga obubi bwo; wayogera nti Siriiko andaba; amagezi go n'okumanya kwo bye bikukyamizza: n'oyogera mu mutima gwo nti Wendi, so tewali mulala wabula nze.
11 Obubi kyebuliva bukujjako; tolimanya mmambya yaabwo: n'akataali kalikugwako; toliyinza kukaggyawo: n'okuzika kulikujjako mangu ago kw'otomanyiridde.
12 Yimirira nno n'obusawo bwo n'obulogo bwo obwayinga obungi, obwakutengezzanga okuva mu buto bwo; oba nga mpozzi oliyinza okugasa, oba nga mpozzi oliyinza okusobola.
13 Abateesa naawe abayinga obungi bakukooyezza: abalaguza eggulu, abalengera emmunyeenye, abalanga eby'emyezi bayimirire nno bakulokole mu ebyo ebirikujjako.
14 Laba, baliba ng'ebisusunku; omuliro gulibookya; tebalyewonya mu buyinza bw'omuliro: teguliba lyanda lya kwota, newakubadde kyoto eky'okutuulako.
15 Bwe bityo bwe biriba gy'oli ebyo ebyakutengezzanga: abaagulaananga naawe okuva mu buto bwo balibulubuuta buli muntu ku luuyi lwe ye; tewaliba wa kukulokola.