Isaaya
Essuula 32
Laba, kabaka alifuga n'obutuukirivu, n'abakulu balifuga n'omusango.
2 Era omuntu aliba ng'ekifo eky'okwekwekamu eri empewo, n'ekiddukiro eri kibuyaga; ng'emigga gy'amazzi mu kifo ekikalu, ng'ekisiikirize ky'olwazi olunene mu nsi ekooyesa.
3 N'amaaso g'abo abalaba tegalibaako kifu, n'amatu g'abo abawulira galiwuliriza.
4 N'omutima gw'oyo eyeeyinula gulitegeera okumanya, n'olulimi lw'abanaanaagize lulyeteekateeka okwogera obulungi.
5 Omugwagwa nga tebakyamuyita mugabi, so n'omukodo nga tebamuyita wa kisa.
6 Kubanga omugwagwa alyogera eby'obugwagwa, n'omutima gwe gulikola ebitali bya butuukirivu, okukola eby'okuvuma Katonda, n'okwogera ebikyamu ku Mukama, okulumya enjala obulamu bw'omuyala, n'okumalawo ow'ennyonta kye yandinywedde.
7 Era n'ebintu eby'omukodo bibi: asala enkwe embi okuzikiriza omuwombeefu n'ebigambo eby'obulimba atalina kintu ne bw'ayogera eby'ensonga.
8 Naye omugabi alowooza bya kugaba; era mu by'okugaba mw'alinywerera.
9 Mugolokoke, mmwe abakazi abalangajja, muwulire eddoboozi lyange; mmwe abawala abataliiko kye mulowooza, mutegere amatu ebigambo byange.
10 Mulinakuwalira ennaku ezirisussa omwaka, mmwe abakazi abataliiko kye mulowooza: kubanga ebikungulwa eby'emizabbibu birifa, okukungula tekulituuka.
11 Mukankane, mmwe abakazi abalangajja; munakuwale, mmwe abataliiko kye mulowooza: mwambule mubeere bwereere, mwesibe ebibukutu mu biwato byammwe.
12 Balikuba mu kifuba olw'ennimiro ez'okusanyuka, olw'omuzabbibu omugimu.
13 Ku nsi y'abantu bange kulimera amaggwa ne katazamiti; weewaawo, ku nnyumba zonna ez'essanyu mu kibuga eky'essanyu:
14 kubanga olubiri lulirekebwawo; ekibuga eky'abantu abangi kiriba kifulukwa; olusozi n'ekigo ekirengererwako biriba mpuku ennaku zonna, ssanyu lya ntulege, ddundiro lya magana;
15 okutuusa omwoyo lwe gulitufukibwako okuva waggulu, eddungu ne lifuuka ennimiro eŋŋimu, ennimiro eŋŋimu ne bagiyita kibira.
16 Kale omusango gulituula mu ddungu, n'obutuukirivu bulibeera mu nnimiro eŋŋimu.
17 N'omulimu gw'obutuukirivu guliba mirembe; era obutuukirivu bulireeta okutereera n'okwesiganga ennaku zonna.
18 N'abantu bange balituula mu kifo eky'emirembe ne mu nnyumba ez'enkalakkalira, ne mu biwummulo ebitereevu.
19 Naye omuzira gulitonnya, ekibira bwe kirigwa; n'ekibuga kirisuulirwa ddala wansi.
20 Mulina omukisa mmwe abasiga ku mabbali g'amazzi gonna, abasindika ebigere by'ente n'endogoyi.