Isaaya
Essuula 55
Mukale, buli muntu alumiddwa ennyonta, mujje eri amazzi, n'oyo atalina bigula; mujje mugule mulye; weewaawo, mujje mugule omwenge n'amata awatali bigula awatali muwendo.
2 Lwaki okuwaayo ebigula olw'ebyo ebitali bya kulya? lwaki okuteganira ebyo ebitakkutibwa? mumpulirire ddala nze, mulye ebirungi, obulamu bwammwe busanyukire amasavu.
3 Mutege amatu gammwe, mujje gye ndi; muwulire, n'obulamu bwammwe bunaaba bulamu: nange saalagaana nammwe endagaano eteriggwaawo, kwe kusaasira kwa Dawudi okw'enkalakkalira.
4 Laba, mmuwaddeyo okuba omujulirwa eri amawanga, omukulu era omugabe eri amawanga.
5 Laba, oliyita eggwanga lye wali tomanyi, era eggwanga eryali terikumanyi liriddukira gy'oli, ku lwa Mukama Katonda wo ne ku lw'Omutukuvu wa Isiraeri; kubanga akugulumizizza.
6 Munoonye Mukama nga bw'akyayinzika okulabika, mumukaabirire nga bw'akyali okumpi:
7 omubi aleke ekkubo lye, n'omuntu atali mutuukirivu aleke ebirowoozo bye: era akomewo eri Mukama, naye anaamusaasira; adde eri Katonda waffe, kubanga anaasonyiyira ddala nnyo.
8 Kubanga ebirowoozo byange si birowoozo byammwe, so n'amakubo gammwe si makubo gange, bw'ayogera Mukama.
9 Kuba eggulu nga bwe lisinga ensi obugulumivu, amakubo gange bwe gasinga bwe gatyo amakubo gammwe, n'ebirowoozo byange ebirowoozo byammwe.
10 Kuba enkuba nga bw'ekka n'omuzira okuva mu ggulu, ne bitaddayo, naye ne bifukirira ettaka, ne birimeza ne biribaza, ne biwa omusizi ensigo n'omuli ebyokulya;
11 bwe kityo me kinaabanga ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange: tekiridda gye ndi nga kyereere, naye kirikola ekyo kye njagala, era kiriraba omuisa mu ekyo kye nnakitumirira.
12 Kubanga mulifuluma n'essanyu, mulitwalibwa n'emirembe okuvaayo: ensozi n'obusozi ziribaguka okuyimba mu maaso gammwe, n'emiti gyonna egy'oku ttale girikuba mu ngalo.
13 Mu kifo ky'omweramanyo mulimera olusambya, ne mu kifo ky'omutovu mulimera omumwanyi: era kiriba eri Mukama erinnya, akabonero akataliggwaawo akataliggibwawo.