0:00
0:00

Essuula 49

Mumpulirize, mmwe ebizinga; era mutege amatu, mmwe amawanga, nga muyima wala: Mukama yampita okuva mu lubuto; okuva munda ya mmange yayatula erinnya lyange:
2 era akamwa kange akafaananyizza ng'ekitala eky'obwogi, mu kisiikirize ky'omukono gwe mw'ankwese; era anfudde akasaale akazigule, mu mufuko gwe mw'ankuumidde ddala;
3 era yaŋŋamba nti Ggwe muweereza wange; Isiraeri gwe ndiweerwamu ekitiibwa.
4 Naye ne njogera nti Nateganira bwereere, amaanyi gange gaafa busa, naye mazima omusango gwange guli ne Mukama, n'empeera yange eri ne Katonda wange.
5 Era kaakano ayogera Mukama eyammumba okuva mu lubuto okuba omuweereza we, okumukomezaawo nate Yakobo era Isiraeri akuŋŋaanyizibwe gy'ali: (kubanga ndi wa kitiibwa mu maaso ga Mukama, era Katonda wange afuuse amaanyi gange:)
6 weewaawo, ayogera nti Ekigambo kyayinga obwangu ggwe okuba omuweereza wange okugolokosa ebika bya Yakobo n'okulokola abawonye ku Isiraeri: era ndikuwaayo okuba omusana eri ab'amawaaga, obeerenga obulokozi bwange okutuusa ku nkomerero y'ensi.
7 Bw'atyo bw'ayogera Mukama, omununuzi wa Isiraeri, era Omutukuvu we, ng'agamba oyo abantu gwe banyooma, oyo eggwanga gwe likyawa, omuweereza w'abafuga, nti Bakabaka baliraba ne bagolokoka; abalangira baligolokoka ne basinza; ku lwa Mukama omwesigwa, Omutukuvu wa Isiraeri eyakulonda.
8 Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Nkwanukulidde mu biro eby'okukkirizibwamu, era nkuyambye ku lunaku olw'okulokokeramu: era ndikuwonya ne nkuwaayo okuba endagaano eri abantu, okugolokosa ensi, okubasisa obusika obwazika:
9 ng'obuulira abo abasibiddwa nti Mufulume; abo abali mu kizikiza nti Mwerage. Banaaliiranga mu makubo, ne ku nsozi zonna ez'obweru kwe kunaabanga amalundiro gaabwe.
10 Tebaalumwenga njala newakubadde ennyonta; so n'olubugumu teruubakwatenga newakubadde omusana: kubanga oyo abasaasira anaabakulemberanga era awali enzizi z'amazzi gy'anaabatwalanga.
11 Era ndifuula ensozi zange zonna okuba ekkubo, n'enguudo zange zirigulumizibwa.
12 Laba, bano baliva wala: era, laba, bano baliva obukiika obwa kkono n'ebugwanjuba; era bano mu nsi y'e Sinimu.
13 Yimba, ggwe eggulu; era sanyuka, ggwe ensi; era mubaguke okuyimba, mmwe ensozi: kubanga Mukama asanyusizza abantu be, era alisaasira ababe ababonyaabonyezebwa.
14 Naye Sayuuni n’ayogera nti Mukama andese, era Mukama anneerabidde.
15 Omukazi ayinza okwerabira omwana we ayonka, obutasaasira mwana wa nda ye? weewaawo, abo bayinza okwerabira, naye siikwerabirenga ggwe.
16 Laba, nkuyoze ku bibatu by'emikono gyange; ebisenge byo biri mu maaso gange bulijjo.
17 Abaana bo baanguwa; abaakuzikiriza n'abaakuzisa balikuvaamu.
18 Yimusa amaaso go enjuyi zonna olabe: abo bonna beekuŋŋaanya wamu ne bajja gy'oli. Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama, tolirema kubambala bonna ng'eky'obuyonjo, n'obeesiba ng'omugole.
19 Kubanga ebifo byo ebyazika ebyalekebwawo n'ensi yo eyazikirizibwa, mazima kaakano olibayingirira obufunda abatuulamu, n'abo abaakulyanga baliba wala.
20 Abaana ab'okufiirwa kwo balyogerera mu matu go nti Ekifo kinnyingiridde obufunda: mpa ebbanga ntuule.
21 N'olyoka oyogerera mu mutima gwo nti Ani eyanzaalira bano, kubanga nafiirwa abaana bange, era ndi omu, eyagobebwa, era abulubuutira eruuyi n'eruuyi? era ani eyalera bano? Laba, nasigala omu; bano, baali bali ludda wa?
22 Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndigololera amawanga omukono gwange, ne nsimbira abantu ebendera yange: awo balireeta batabani bo mu kifuba kyabwe, ne bawala bo balikongojjerwa ku bibegabega byabwe.
23 Era bakabaka baliba bakitaawo abalera, ne bakaddulubaale baabwe baliba bannyoko abayonsa: balikuvuunamira n'amaaso gaabwe, ne bakomba enfuufu ey'omu bigere byo; kale olimanya nga ndi Mukama, n'abo abannindirira tebalikwatibwa nsonyi.
24 Omunyago guliggibwa ku b'amaanyi, oba abawambibwa olw'ensonga baliteebwa?
25 Naye bw'atyo bw'ayogera Mukama nti N'abo ab'amaanyi be baawamba baliggibwawo, n'omunyago gw'ab'entiisa guliteebwa: kubanga ndiyomba n'oyo ayomba naawe, era ndirokola abaana bo.
26 Era abo abakujooga ndibaliisa ennyama yaabwe bo; era balitamiira omusaayi gwabwe bo, nga n'omwenge omuwoomerevu: n'abalina omubiri bonna balimanya nga nze Mukama ndi mulokozi wo, era omununuzi wo, Ow'amaanyi owa Yakobo.