0:00
0:00

Essuula 19

Omugugu gwa Misiri. Laba, Mukama yeebagadde ku kire ekiyita amangu n'ajja mu Misiri: n'ebifaananyi eby'e Misiri birinyeenyezebwa mu maaso ge, omutima gwa Misiri gulisaanuuka mu yo wakati.
2 Era ndirwanya Abamisiri n'Abamisiri: era balirwaana buli muntu ne muganda we; na buli muntu ne muliraanwa we; ekibuga n'ekibuga, obwakabaka n'obwakabaka.
3 N'omwoyo gwa Misiri guliggwaamu wakati mu yo; nange nditta okuteesa kwayo: era baliragulwa eri ebifaananyi, n'eri abasamize, n'eri abo abaliko emizimu, n'eri abalogo.
4 Era ndigabula Abamisiri mu mukono gw'omwami omukambwe; era kabaka omukanga alibafuga, bw'ayogera Mukama, Mukama ow'eggye.
5 N'amazzi galikendeera mu nnyanja, n'omugga guliweebuuka ne gukala.
6 N'emigga giriwunya; obugga obw'e Misiri bulikeewa ne bukala: ebitoogo n'essaalu biriwotoka.
7 Amalundiro agali ku Kiyira, ku lubalama lwa Kiyira kwennyini, ne byonna ebisigibwa ku Kiyira, birikala, birigobebwawo, so tebiribaawo nate.
8 Era n'abavubi balikaaba, n'abo bonna abasuula amalobo mu Kiyira balinakuwala, n'abo abasuula ebiragala mu mazzi baliggwaamu amaanyi.
9 Era nate abo abakola omulimu ogw'obugoogwa obusunsule, n'abo abaluka engoye enjeru, balikwatibwa ensonyi.
10 N'empagi zaayo zirimenyekamenyeka, abo bonna abakolera empeera balinakuwala mu myoyo.
11 Abakulu ab'e Zowani basiruwalidde ddala; okuteesa kw'abateesa ba Falaawo abakiza amagezi kufuuse ng'okw'ensolo: mugamba mutya Falaawo nti Ndi mwana wa bagezi, omwana wa bassekabaka ab'edda?
12 Kale nno abasajja bo ab'amagezi bali ludda wa? era bakubuulire kaakano; era bategeere Mukama ow'eggye ky'ateesezza ku Misiri.
13 Abakulu ab'e Zowani basiruwadde, abakulu ab'e Noofu balimbiddwa; ejjinja ery'oku nsonda ery'ebika byayo, abo be bakyamizza Misiri.
14 Mukama atadde omwoyo ogw'obubambaavu wakati mu yo: era bakyamizza Misiri mu buli mulimu gwayo, ng'omutamiivu atagatta ng'asesema.
15 So tewaliba mulimu gwonna gwa Misiri oguyinzika okukolebwa omutwe oba mukira, olusansa oba kitoogo.
16 Ku lunaku luli Misiri erifaanana ng'abakazi: era erikankana eritya olw'okukunkumula kw'omukono gwa Mukama ow'eggye, gw'akunkumulira ku yo.
17 N'ensi ya Yuda erifuuka ntiisa eri Misiri, buli muntu anaagibuulirwangako anaatyanga, olw'okuteesa kwa Mukama ow'eggye, kw'ateesa ku yo.
18 Ku lunaku luli waliba ebibuga bitaano mu nsi y'e Misiri ebyogera olulimi lwa Kanani, ne birayirira Mukama ow'eggye; ekimu kiriyitibwa nti Kibuga kya kuzikirira.
19 Ku lunaku luli waliba ekyoto eri Mukama wakati mu nsi y'e Misiri, n'empagi eriba ku nsalo yaayo eri Mukama.
20 Era eriba kabonero era omujulirwa eri Mukama ow'eggye mu nsi y'e Misiri: kubanga balikaabira Mukama olw'abajoozi, naye alibaweereza omulokozi, era omukuumi, naye alibalokola.
21 Era Mukama alimanyibwa Misiri, n'Abamisiri balimanya Mukama ku lunaku luli; weewaawo, balisinza ne ssaddaaka n'ekitone, era balyeyama obweyamo eri Mukama, era balibutuukiriza.
22 Era Mukama alikuba Misiri, ng'akuba era ng'awonya; nabo balidda eri Mukama, naye alyegayirirwa bo, era alibawonya.
23 Ku lunaku luli waliba oluguudo oluva mu Misiri olugenda mu Bwasuli, n'Omwasuli alijja mu Misiri, n'Omumisiri mu Bwasuli; n'Abamisiri balisinziza wamu n'Abaasuli.
24 Ku lunaku luli Isiraeri aliba wa kusatu wamu ne Misiri n'Obwasuli, omukisa wakati mu nsi:
25 kubanga Mukama ow'eggye abawadde omukisa, ng'ayogera nti Baweebwe omukisa Misiri abantu bange, n'Obwasuli omulimu gw'emikono gyange, ne Isiraeri obusika bwange.