Isaaya
Essuula 50
Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Ebbaluwa ey'okugoba nnyammwe eri ludda wa gye nnamugobya? oba aluwa ku abo abammanja gwe nnabaguza? Laba, olw'obutali butuukirivu bwammwe kyemwava mutundibwa, era okusobya kwammwe kwe kwagobya nnyammwe.
2 Bwe nnajja, kyewava walema okubaawo omuntu ki? bwe nnayita, tewaali eyandiyitabye? Omukono gwange guyimpawadde ne gutayinza n'akatono kununula? oba sirina maanyi n'akatono ga kuwonya? Laba, olw'okunenya kwange nkaliza ennyanja; emigga ngifuula eddungu: ebyennyanja byamu ne biwunya, obutabaawo mazzi, ne bifa ennyonta.
3 Nnyambaza eggulu obuddugavu, era ndibikkako ebibukutu.
4 Mukama Katonda ampadde olulimi lw'abo abayigirizibwa, ndyoke mmanye okugumya n'ebigambo oyo akooye: azuukusa buli lukya; azuukusa okutu kwange okuwulira ng'abo abayigirizibwa.
5 Mukama Katonda aggudde okutu kwange, ne ssiba mujeemu ne ssikyuka kudda nnyuma.
6 Nawaayo amabega gange eri abakuba, n'amatama gange eri abo abakuunyuula enviiri: saakweka maaso gange nsonyi na kuwanda malusu.
7 Kubanga Mukama Katonda alinnyamba; kyennava nnema okuswala: kyenvudde nteeka amaaso gange ng'ejjinja ery'embaalebaale, era mmanyi nga sirikwatibwa nsonyi.
8 Ali kumpi ampeesa obutuukirivu; ani aliyomba nange? tuyimirire fembi; omulabe wange ye ani? ansemberere.
9 Laba, Mukama Katonda ye alinnyamba; ani oyo alinsalira omusango? laba, bonna balikaddiwa ng'ekyambalo; ennyenje eribaliira ddala.
10 Ani ku mmwe atya Mukama; agondera eddoboozi ly'omuweereza we? atambulira mu kizikiza, nga talina musana, yeesige erinnya lya Mukama, era yeesigame ku Katonda we.
11 Laba, mmwe mwenna abakuma omuliro, abeesiba emimuli enjuyi zonna: mutambulire mu nnimi z'omuliro gwammwe, ne mu mimuli gye mukoleezezza, Ekyo kye muliweebwa mu mukono gwange; muligalamira nga munakuwadde.