0:00
0:00

Essuula 18

Woowe, ensi ey'okukwakwaya kw'ebiwaawaatiro, eri emitala w'emigga gya Kuusi:
2 etuma ababaka ku nnyanja mu bibaya ku mazzi, ng'eyogera nti Mugende, mmwe ababaka abangu, eri eggwanga eggwanvu era eggweweevu, eri abantu abaabanga ab'entiisa kasookedde babeerawo na guno gujwa; eggwanga erigera era eririnnyiririra ddala, ensi yaabwe emigga gigisazeemu!
3 Mmwe mwenna abatuula mu nsi, nammwe ababeera ku ttaka ly'ensi, ebendera bw'ewanikibwanga ku nsozi, mulabanga; era ekkondeere bwe lifuuyibwanga, muwuliranga.
4 Kubanga bw'atyo Mukama bw'aŋŋambye nti Ndisirika, era ndiraba nga nnyima mu kifo kyange we ntudde; ng'olubugumu olutemagana mu musana, ng'ekire ky'omusulo mu lubugumu lw'omu biro eby'okukunguliramu.
5 Kubanga okukungula nga tekunnabaawo, okumulisa nga kuwedde, n'ekimuli nga kifuuka zabbibu eyengera, aliwawaagula obutabi n'ebiwabyo, n'amatabi agalanda aligaggyawo n'agatema.
6 Galirekerwa wamu ennyonyi ez'amaddu ez'oku nsozi n'ensolo ez'ensi: era ennyonyi ez'amaddu zirigatuulako mu kyeya, n'ensolo zonna ez'ensi zirigabeerako mu ttoggo.
7 Mu biro ebyo ekirabo kirireeterwa Mukama ow'eggye eky'abantu abawanvu era abaweweevu, n'okuva eri abantu abaabanga ab'entiisa kasookedde babeerawo na guno gujwa; eggwanga erigera era eririnnyiririra ddala, ensi yaabwe emigga gigisazeemu, eri ekifo eky'erinnya lya Mukama ow'eggye, olusozi Sayuuni.