0:00
0:00

Essuula 33

Zikusanze ggwe anyaga so tonyagibwanga; era alyazaamaanya, so tebakulyazaamaanyanga! Bw'olireka okunyaga, n'olyoka onyagibwa; era bw'olimalira ddala okulyazaamaanya, ne balyoka bakulyazaamaanya.
2 Ai Mukama, tukwatirwe ekisa; twakulindirira: beera mukono gwabwe buli nkya, era obulokozi bwaffe mu biro eby'okulabiramu ennaku.
3 Olw'eddoboozi ery'okuyoogaana amawanga gadduse: olw'okweyimusa ggwe amawanga gasaasaanye.
4 N'omunyago gwammwe gulikuŋŋaanyizibwa ng'akawuka bwe kakuŋŋaanya: ng'enzige bwe zigwa bwe baligugwako bwe batyo.
5 Mukama agulumizibwa kubanga atuula waggulu: ajjuzizza Sayuuni omusango n'obutuukirivu.
6 Era walibaawo enkalakkalira mu biro byo, obulokozi obusukkirira, amagezi n'okumanya: okutya Mukama bwe bugagga bwe.
7 Laba, abazira baabwe bakaabira bweru: ababaka ab'emirembe bakaaba nnyo amaziga.
8 Enguudo zizise, omutambuze aggwaawo: amenye endagaano, anyoomye ebibuga, tassaayo mwoyo eri abantu.
9 Ensi ewuubaala eyongobera: Lebanooni akwatiddwa ensonyi awotoka: Saloni ali ng'eddungu; ne Basani ne Kalumeeri bawaatula.
10 Kaakano naagolokoka, bw'ayogera Mukama; kaakano neeyimusa kaakano naagulumizibwa.
11 Muliba mbuto za bisusunku, mulizaala ssubi: omukka gwammwe muliro ogulibookya.
12 N'amawanga galiba ng'okwokya kw'ensimbi: ng'amaggwa agatemebwa agookerwa mu muliro.
13 Muwulire, mmwe abali ewala bye nkoze; nammwe abali okumpi mukkirize amaanyi gange.
14 Abalina ebibi abali mu Sayuuni batidde; okukankana kugudde ku abo abatatya Katonda. Ani ku ffe alituula awamu n'omuliro ogwokya? ani ku ffe alituula awamu n'okwokya okutaliggwaawo?
15 Oyo atambula n'obutuukirivu, era ayogera eby'amazima; oyo anyooma amagoba agava mu kujooga, akunkumula engalo ze obutakwata nguzi, aziba amatu ge obutawulira musaayi, era aziba amaaso ge obutatunuulira bubi;
16 oyo ye alituula waggulu: ekifo kye eky'okwekuuma kiriba nkomera za mayinja: emmere ye anaagiweebwanga; amazzi ge galiba ga nkalakkalira.
17 Amaaso go galiraba kabaka mu bulungi bwe: galiraba ensi eziyimirira ewala.
18 Omutima gwo gulifumiitiriza entiisa: ali ludda wa oyo eyabala, ali ludda wa oyo eyagera omusolo? ali ludda wa oyo eyabala ebigo?
19 Toliraba ggwanga kkakali, eggwanga eririna enjogera enzibu gy'otoyinza kumamya; eririna olulimi olunnaggwanga lw'otoyinza kutegeera.
20 Tunuulira Sayuuni, ekibuga eky'embaga zaffe: amaaso go galiraba Yerusaalemi nga kifo kya kutuulamu kitereevu, eweema eterijjululwa, enkondo zaayo tezirisimbulwa ennaku zonna, so tewaliba ku migwa gyayo egirikutulwa.
21 Naye eyo Mukama alibeera naffe mu bukulu, ekifo eky'emigga emigazi n'ensulo; omutaliyita lyato erivugibwa, so n’ekyombo ekinene tekirigendamu.
22 Kubanga Mukama ye mulamuzi waffe, Mukama ye muteesi w'amateeka gye tuli, Mukama ye kabaka waffe; ye alitulokola.
23 Emigwa gyo egisiba gisumulukuse; tebayinza kunyweza kikolo kya mulongooti gwabwe, tebayinza kuwanika ttanga: awo ne bagereka ebintu eby'omunyago omunene; abawenyera baatwala omunyago.
24 N'oyo atuulamu talyogera nti Ndi mulwadde: abantu abatuula omwo balisonyiyibwa obutali butuukirivu bwabwe.