0:00
0:00

Essuula 28

Zisanze engule ey'amalala ag'abatamiivu ab'omu Efulayimu, n'ekimuli ekiwotoka eky'obulungi bwe obw'ekitiibwa, ekiri ku mutwe gw'ekiwonvu ekigimu eky'abo abameggebwa omwenge!
2 Laba, Mukama alina ow'amaanyi era omuzira; nga kibuyaga alimu omuzira, embuyaga ezizikiriza, ng'amazzi amangi ag'amaanyi agayanjaala ennyo, bw'atyo bw'alisuula wansi ku ttaka n'omukono.
3 Engule ey'amalala ag'abatamiivu ab'omu Efulayimu eririnnyirirwa n'ebigere:
4 n'ekimuli ekiwotoka eky'obulungi bwe obw'ekitiibwa, ekiri ku mutwe gw'ekiwonvu ekigimu, kiriba ng'ettiini erisooka okwengera ekyeya nga tekinnatuuka; oyo alitunuulira bw'aliraba nga likyali mu mukono gwe alirira ddala.
5 Ku lunaku luli Mukama ow'eggye aliba ngule ya kitiibwa, era aliba nkuufiira ya buyonjo, eri abantu be abalifikkawo:
6 era aliba mwoyo gwa kusala misango eri oyo atuula ng'asala emisango, era aliba maanyi eri abo abazzaayo olutalo mu mulyango.
7 Naye era nabo bakyamye olw'omwenge, era ekitamiiza kibawabizza; kabona ne nnabbi bakyamye olw'omwenge, omwenge gubasaanyizzaawo, bawabye olw'ekitamiiza; bakyama mu kwolesebwa, beesittala mu kusala emisango.
8 Kubanga emmeeza zonna zijjudde ebisesemye n'empitambi, obutabaawo kifo kirongoofu.
9 Ani gw'aliyigiriza okumanya? era ani gw'alitegeeza ebibuulirwa? abo abaleseeyo okuyonka era abavudde ku mabeere?
10 Kubanga kiba kiragiro ku kiragiro, ekiragiro ku kiragiro; olunnyiriri ku lunayiriri, olunnyiriri ku lunnyiriri; wano katono, awo katono.
11 Nedda, naye alyogera n'abantu bano n'emimwa emigenyi era n'olulimi olulala:
12 be yagamba nti Kuno kwe kuwummula, mumuwe okuwummula oyo akooye; era kuno kwe kuweera: naye ne bataganya kuwulira.
13 Ekigambo kya Mukama kyekiriva kibeera gye bali ekiragiro ku kiragiro, ekiragiro ku kiragiro; olunnyiriri ku lunnyiriri, olunnyiriri ku lunnyiriri; wano katono, awo katono; bagende bagwe bugazi bamenyeke bateegebwe bakwatibwe.
14 Kale, muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abanyooma, abafuga abantu bano abali mu Yerusaalemi nti
15 Kubanga mwogedde nti Tulagaanye endagaano n'okufa, era tutabaganye n'amagombe; ekibonyoobonyo ekyanjaala bwe kiriyitamu, tekiritutuukako; kubanga tufudde eby'obulimba ekiddukiro kyaffe, era twekwese wansi w'obukuusa:
16 Mukama Katonda kyava ayogera nti Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja okuba omusingi, ejjinja eryakemebwa, ejjinja ery'oku nsonda ery'omuwendo omungi erinywezebwa ennyo wansi: akkiriza talyanguyiriza.
17 Era ndifuula omusango okuba omugwa ogugera, n'obutuukirivu okuba omugwa ogutereeza: n'omuzira gulyerera ddala ekiddukiro eky'obulimba, n'amazzi galyanjaala ku kifo eky'okwekwekamu.
18 N'endagaano gye mwalagaana n'okufa erijjulukuka, so n'okutabagana kwammwe kwe mwatabagana n'amagombe tekulinywera; ekibonyoobonyo ekiryanjaala bwe kiriyitamu, ne kiryoka kibalinnyirira wansi.
19 Buli lwe kinaayitangamu; kinaabakwatanga; kubanga buli lukya kinaayitangamu emisana n'ekiro: era okutegeera ebibuulirwa kuliba ntiisa nsa.
20 Kubanga ekitanda kimpi omuntu n'okuyinza n’atayinza kukyegololerako; n'eky'okwebikkako kyako kifunda n'okuyinza n'atayinza kukyebikka.
21 Kubanga Mukama aligolokoka nga bwe yagolokokera ku lusozi Perazimu, alisunguwala nga bwe yasunguwalira mu kiwonvu eky'e Gibyoni; akole omulimu gwe, omulimu gwe ogw'ekitalo, era atuukirize ekikolwa kye, ekikolwa kye eky'ekitalo.
22 Kale nno temuba banyoomi, enjegere zammwe zireme okunywezebwa: kubanga okukomekkereza era okwateesebwa kwe mpulidde okuva eri Mukama, Mukama ow'eggye, ku nsi yonna.
23 Mutege amatu muwulire eddoboozi lyange; mutegereze muwulire ebigambo byange.
24 Omulimi alima lutata okusiga? akabala lutata n'akuba amavuunike ag'ettaka lye?
25 Bw'amala okulittaanya lyonna, tayiwa ntinnamuti, n'asaasaanya kumino, n'asiga eŋŋaano ennyiriri ne sayiri mu kifo ekiragiddwa n'obulo ku lubibiro lwako?
26 Kubanga Katonda we amutegeeza bulungi, amuyigiriza.
27 Kubanga entinnamuti teziwuulibwa na kintu kya bwogi, so ne kumino tebaginyooleranyoolerako namuziga w'eggaali; naye entinnamuti ziwuulibwa na muggo, ne kumino na luga.
28 Eŋŋaano ey'omugaati bagisa busa; kubanga talimala nnaku zonna ng'agiwuula: era namuziga w'eggaali lye n'embalaasi ze ne bwe bigisaasaanya, era tagisa.
29 Era n'ekyo kivudde eri Mukama ow'eggye, ow'ekitalo okuteesa ebigambo, asinga bonna amagezi.