0:00
0:00

Essuula 10

Zibasanze abo abateeka amateeka agatali ga butuukirivu, n'abawandiisi abawandiika obukyamu:
2 okugoba abanaku baleme okusalirwa omusango, n'okubanyagako ebyabwe abaavu ab'omu bantu bange, bannamwandu babeere munyago gwabwe, era abafiiriddwa bakitaabwe babafuule omuyiggo gwabwe.
3 Era mulikola mutya ku lunaku olw'okujjirwa, ne mu kuzikirizibwa okuliva ewala? muliddukira eri ani okubeerwa? era mulireka wa ekitiibwa kyammwe?
4 Balikutama bukutami wansi w'abasibe, era baligwa wansi w'abattiddwa. Ebyo byonna bimaze okubaawo naye obusungu bwe tebunnakyusibwa okubavaako, naye omukono gwe gukyagoloddwa.
5 Ggwe Omwasuli, oluga olw'obusungu bwange, omuggo oguli mu ngalo zo kye kiruyi kyange!
6 Ndimutuma okulumba eggwanga erivoola, era ndimulagira ku bantu baliko obusungu bwange, okunyaga omunyago, n'okunyaga omuyiggo, n’okubalinnyirira wansi ng'ebitoomi by'omu nguudo.
7 Naye tagenderera kukola bw'atyo, so n'omutima gwe tegulowooza bwe gutyo; naye kiri mu mutima gwe okuzikiriza, n'okumalawo amawanga si matono.
8 Kubanga ayogera nti Abakulu bange bonna si bakabaka?
9 Kalino tekifaanana Kalukemisi? Kamasi tekifaanana Alupadi? Samaliya tekifaanana Ddamasiko?
10 Ng'omukono gwange bwe gwatuuka ku nsi za bakabaka ezisinza ebifaananyi, ezaalina ebifaananyi ebibajje ebyasinga ebyo ebiri mu Yerusaalemi ne mu Samaliya;
11 nga bwe nnakola Samaliya ne sanamu zaakyo, sirikola bwe ntyo Yerusaalemi ne sanamu zaakyo?
12 Kyekiriva kituuka, Mukama bw'aliba ng'amalidde ddala omulimu gwe gwonna ku lusozi Sayuuni ne ku Yerusaalemi, me ndyoka mbonereza ebibala by'omutima omukakanyavu ogwa kabaka w’e Bwasuli, n'amalala g'amaaso ge amagulumivu.
13 Kubanga yayogera nti Olw'amaanyi g'omukono gwange nakikola, n'olw'amagezi gange; kubanga ndi mukabakaba: era najjulula ensalo ez'amawanga, ne nnyaga obugagga bwabwe, ne ntoowaza ng'omusajja omuzira abo abatuula ku ntebe:
14 era omukono gwange guvumbudde obugagga obw'amawanga ng'ekisu; era ng'omuntu bw'akuŋŋaanya amagi amazire, bwe ntyo bwe naakuŋŋaanyanga ensi zonna: so tewali eyayanjuluza ekiwaawaatiro, newakubadde eyayasamya akamwa, newakubadde eyakaaba.
15 Embazzi eryenyumiriza eri oyo agitemya? omusumeeno gulyekuza eri oyo agunyeenya? kwenkana oluga nga lunyeenyezza abo abalulonda, oba omuggo nga gusitudde atali muti.
16 Mukama, Mukama ow'eggye, kyaliva aweereza obukovvu mu basajja be abagevvu; era wansi w'ekitiibwa kye we alikolera okwokya ng'okwokya kw'omuliro.
17 N'omusana gwa Isiraeri guliba mu kifo ky'omuliro, n'Omutukuvu we aliba mu kifo ky'okwaka: kale gulyokya gulimalawo amaggwa ge n'emyeramannyo gye ku lunaku lumu.
18 Era alimalawo ekitiibwa ky'ekibira kye, n'eky'ennimiro ye engimu, obulamu era n'omubiri: kale kiriba ng'omukwasi w'ebendera bw'azirika.
19 N'emiti egy'omu kibira kye egirisigalawo giriba mitono, omwana omuto n'okuyinza n'ayinza okugiwandiika.
20 Awo olulituuka ku lunaku luli, abaliba nga bafisseewo ku Isiraeri, n'abo abaliba nga bawonye ku nnyumba ya Yakobo, nga tebakyesigama nate ku oyo eyabakuba: naye balyesigama ku Mukama, Omutukuvu wa Isiraeri, mu mazima.
21 Ekitundu ekirifikkawo kirikomawo, ekirifikkawo ku Yakobo, eri Katonda ow'amaanyi.
22 Kubanga abantu bo Isiraeri newakubadde nga baliba ng'omusenyu ogw'ennyanja, kitundu butundu ekirifikkawo ku bo kye kirikomawo: okutuukiriza kwateesebwa, okusukkirira n'omusango ogw'ensonga.
23 Kubanga okukomekkereza, era okwateesebwa, Mukama, Mukama ow'eggye kw'alikola wakati mu nsi yonna.
24 Kyava ayogera Mukama, Mukama ow'eggye nti Mmwe abantu bange abatuula mu Sayuuni, temutyanga Asuli: newakubadde ng'akukuba n'oluga, n'akugalulira omuggo gwe, ng'empisa y'e Misiri bw'eri.
25 Kubanga akaseera kakyali katono nnyo, okunyiiga kulyoke kutuukirizibwe n'obusungu bwange mu kuzikirira kwabwe.
26 Awo Mukama ow'eggye alimuleetako ekibonoobono, nga bwe byali Midiyaani bwe yattirwa awali olwazi lwa Olebu: n'oluga lwe luliba ku nnyanja, era alirugalula ng'empisa y'e Misiri bw'eri.
27 Awo olulituuka ku lunaku luli, omugugu gwe guliva ku kibegabega kyo, n'ekikoligo kye mu bulago bwo, n'ekikoligo kirizikirizibwa olw'okufukibwako amafuta.
28 Atuuse e Yayasi, ayise mu Miguloni; e Mikumasi gy'aterekera emigugu gye:
29 bavvuunuse awavvuunukirwa; basuze e Geba: Laama akankana; Gibeya wa Sawulo adduse.
30 Yogerera waggulu n'eddoboozi lyo, ggwe muwala wa Gallimu! wulira, ggwe Layisa! Ggwe Anasosi asaasirwa!
31 Madumena mudduse; abatuula mu Gebimu beekuŋŋaanya okudduka.
32 Ku lunaku luno olwa leero anaasula Enobu: omukono gwe agugalulira olusozi lwa muwala wa Sayuuni, olusozi lwa Yerusaalemi.
33 Laba, Mukama, Mukama ow'eggye, alitema amatabi n'entiisa n'abawanvu abawagguufu balitemerwa ddala, n'abagulumivu balikkakkanyizibwa.
34 Era alimalawo n'ekyuma ebisaka eby'omu kibira, ne Lebanooni aligwa olw'ow'amaanyi.