Isaaya
Essuula 56
Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Mukwatenga eby'ensonga, mukolenga eby'obutuukirivu: kubanga obulokozi bwange bunaatera okujja, n'obutuukirivu bwange bunaatera okubikkulibwa.
2 Alina omukisa omuntu akola ekyo, n'omwana w'omuntu akinyweza; akwata ssabbiiti obutagyonoona, n'akuuma omukono gwe obutakola bubi bwonna.
3 So ne munnaggwanga eyeegatta ne Mukama tayogeranga nti Mukama talirema kunjawula n'abantu be: so n'omulaawe tayogeranga nti Laba, ndi muti mukalu.
4 Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama w'abalaawe abakwata ssabbiiti zange, ne beeroboza ebyo bye nsanyukira, ne banyweza endagaano yange.
5 nti Abo be ndiwa ekijjukizo n'erinnya erisinga ery'abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala mu nnyumba ne munda w'ebisenge byange; ndibawa erinnya eritaliggwaawo eritaliggibwawo.
6 Era ne bannaggwanga abeegatta ne Mukama, okumuweerezanga, n'okwagalanga erinnya lya Mukama, okuba abaddu be, buli muntu akwata ssabbiiti obutagyonoona, n'anyweza endagaano yange;
7 abo ndibatuusa ku lusozi lwange olutukuvu, ne mbasanyusa mu nnyumba yange ey'okusabirangamu; ebyabwe ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka zaabwe birikkirizibwa ku kyoto kyange: kubanga ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu eri amawanga gonna.
8 Mukama Katonda akuŋŋaanya aba Isiraeri abaagobebwa ayogera nti Oliboolyawo ne mmukuŋŋaanyiza n'abalala, obutassaako babe abakuŋŋaanyizibbwa.
9 Mmwe mwenna ensolo ez'omu nsiko, mujje okulya, mmwe mwenna ensolo ez'omu kibira.
10 Abakuumi be bazibe ba maaso, bonna tebalina kumanya; bonna mbwa nsirusiru, tebayinza kuboggola; nga baloota, nga bagalamira, nga baagala okubongoota.
11 Weewaawo, embwa za mululu, teziyinza kukkuta ennaku zonna; ne bano basumba abatayinza kutegeera; bonna bakyamidde mu kkubo lyabwe bo, buli muntu eri amagoba ge, okuva mu njuyi zonna.
12 Boogera nti Mujje, naakima omwenge, ne twekamirira ekitamiiza; n'olw'enkya luliba ng'olwa leero, olukulu olutenkanikika.