Isaaya
Essuula 66
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Eggulu ye ntebe yange, n'ensi ye ntebe y'ebigere byange: nnyumba ki gye mulinzimbira? era kifo ki ekiriba ekiwummulo kyange?
2 Kubanga bino byonna omukono gwange gwe gwabikola, era ebyo byonna ne bibaawo bwe bityo, bw'ayogera Mukama: naye omwavu era alina omwoyo oguboneredde era akankanira ekigambo kyange ye wuuyo gwe nditunuulira.
3 Asala ente aliŋŋanga atta omuntu; awaayo omwana gw'endiga aliŋŋanga amenyako embwa obugalo; aleeta ekiweebwayo aliŋŋanga aleeta omusaayi gw'embizzi; ayoteza omugavu ng'oyo asabira ekifaananyi omukisa: weewaawo, balonze amakubo gaabwe bo, n'emmeeme yaabwe esanyukira emizizo gyabwe;
4 era nange ndironda ebibalimbalimba, ne mbaleetako ebyo bye batya; kubanga bwe nnayita ne wataba muntu eyayitaba; bwe nnayogera tebaawulira: naye ne bakola ekyali ekibi mu maaso gange, ne balonda ekyo kye ssaasanyukira.
5 Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abakankanira ekigambo kye: nti Baganda bammwe abaabakyawa, abaabagoba okubalanga erinnya lyange, boogedde nti Mukama aweebwe ekitiibwa tulyoke tulabe essanyu lyammwe; naye balikwatibwa ensonyi.
6 Eddoboozi ery'okuyoogaana eriva mu kibuga, eddoboozi eriva mu yeekaalu, eddoboozi lya Mukama asasula abalabe be empeera.
7 Yali nga tannalumwa n'azaala; obubalagaze bwe bwali nga tebunnatuuka n'azaala omwana wa bulenzi.
8 Ani eyali awulidde ekigambo ekifaanana bwe kityo? ani eyali alabye ebigambo ebifaanana bwe bityo? Ensi erizaalwa ku lunaku lumu? eggwanga liriva mu lubuto mulundi gumu? kubanga Sayuuni yali nga kyajje alumwe n'azaala abaana be.
9 Ndituusa okuzaalwa ne ssizaaza? bw'ayogera Mukama: nze azaaza ndiggala olubuto? bw'ayogera Katonda wo.
10 Musanyukire wamu ne Yerusaalemi, mujaguze ku lulwe, mmwe mwenna abamwagala: musanyukire wamu naye olw'essanyu, mmwe mwenna abamukaabirira:
11 mulyoke muyonke mukkute amabeere ge agasanyusa; mulamule mumalemu musanyukire ekitiibwa kye ekisukkirivu.
12 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndibunya emirembe gy'ali ng'omugga, n’ekitiibwa ky'amawanga ng'omugga ogwanjaala, nammwe muliyonkako; muliweekerwa ku mbiriizi, era mulibuusibwabuusibwa ku maviivi.
13 Ng'omuntu nnyina gw'asanyusa, bwe ntyo bwe ndisanyusa mmwe; ne musanyusibwa mu Yerusaalemi.
14 Era mulikiraba n'omutima gwammwe gulijaguza n'amagumba gammwe galyera ng'omuddo omugonvu: n'omukono gwa Mukama gulimanyibwa eri abaddu be, era alisunguwalira abalabe be.
15 Kubanga, laba, Mukama alijja n'omuliro, n'amagaali ge galiba ng'empewo ey'akazimu; okusasula obusungu bwe n'ekiruyi, n'okunenya kwe n'ennimi ez'omuliro.
16 Kubanga Mukama aliwoza na muliro era na kitala kye eri bonna abalina omubiri: era Mukama b'alitta baliba bangi.
17 Abo abeetukuza ne beerongoosa okugenda mu nsuku, ennyuma w'omu ali wakati, nga balya ennyama embizzi n'eky'omuzizo ekyo n'omusonso; baliggweerawo wamu, bw'ayogera Mukama.
18 Kubanga nze mmanyi emirimu gyabwe n'ebirowoozo byabwe: ebiro bijja lwe ndikuŋŋaanya amawanga gonna n'ennimi; kale balijja ne balaba ekitiibwa kyange.
19 Era nditeeka akabonero mu bo, n'abo abawona ku bo ndibatuma mu mawanga, eri Talusiisi, Puuli ne Luudi, abaleega omutego, eri Tubali ne Yavani, mu bizinga ebiri ewala, abatawuliranga ttutumu lyange, so tebalabanga kitiibwa kyange; kale balibuulira amawanga ekitiibwa kyange.
20 Awo balireeta baganda bammwe bonna nga babaggya mu mawanga gonna okuba ekiweebwayo eri Mukama, ku mbalaasi ne mu magaali ne ku nnyinyo ne ku nnyumbu ne ku nsolo ez'embiro, awali olusozi lwange olutukuvu Yerusaalemi, bw'ayogera Mukama, ng'abaana ba Isiraeri bwe baleeta ekyo kye bawaayo mu kintu ekirongoofu mu nnyumba ya Mukama.
21 Era nditwala ne ku bo okuba bakabona n'Abaleevi, bw'ayogera Mukama.
22 Kubanga eggulu eriggya n'ensi empya bye ndikola bwe birisigala mu maaso gange, bw'ayogera Mukama, bwe bityo bwe birisigala ezzadde lyammwe n'erinnya lyammwe.
23 Awo olulituuka, okuva ku mwezi okutuusa ku mwezi, n'okuva ku ssabbiiti okutuusa ku ssabbiiti, bonna abalina omubiri banajjanga okusinziza mu maaso gange, bw'ayogera Mukama.
24 Kale balifuluma ne batunuulira emirambo gy'abasajja abansobezzaako: kubanga envunyu yaabwe terifa, so n'omuliro gwabwe tegulizikizibwa: era baliba kyenyinyalwa eri bonna abalina omubiri.