Isaaya
Essuula 14
Kubanga Mukama alisaasira Yakobo, era, bw'alimala, n'alonda Isiraeri, n'abateeka mu nsi yaabwe bo: n'omugenyi alyegatta nabo, era balyetaba n'ennyumba ya Yakobo.
2 N'amawanga balibatwala, ne babaleeta mu kifo kyabwe: n'ennyumba ya Isiraeri baliba nabo mu nsi ya Mukama okuba baddu n'abazaana: era baliwamba abo abaabawambanga; era balifuga abo abaabajooganga.
3 Awo olulituuka ku lunaku Mukama lw'alikuweerako okuwummula mu nnaku zo ne mu kutegana kwo ne mu kuweereza okuzibu kwe wawalirizibwa okuweereza,
4 awo oligera olugero luno ku kabaka w’e Babulooni n'oyogera nti Omujoozi ng'aweddewo! ekibuga ekya zaabu nga kiweddewo!
5 Mukama amenye omuggo ogw'ababi, omuggo ogw'obwakabaka ogw'abo abafuga;
6 ogwakubanga amawanga n'obusungu olutata, ogwafuganga amawanga n'ekiruyi, ne guyigganyanga ne gutaziyizibwa muntu yenna.
7 Ensi yonna ewummudde, era eteredde: babaguka okuyimba.
8 Weewaawo, enfugo zikusanyukira, n'emivule egy'oku Lebanooni, nga gyogera nti Kasookedde ogalamizibwa, tekulinnyanga ku ffe atutema.
9 Amagombe wansi gagugumuka ku lulwo okukusisinkana ng'ojja: gagolokosa abafu ku lulwo, abakulu bonna ab'ensi; gayimusizza bakabaka bonna ab'amawanga okuva ku ntebe zaabwe.
10 Abo bonna baliddamu ne bakugamba nti Era naawe ofuuse munafu nga ffe? ofaanaanyizibwa nga ffe?
11 Ekitiibwa kyo kissibwa e magombe, n'eddoboozi ly'ennanga zo: envunyu zaaliiriddwa wansi wo, era envunyu zikubisseeko.
12 Ng'ogudde okuva mu ggulu, ggwe emmunyeeye ey'enkya, omwana w'enkya! ng'otemeddwa okutuuka ku ttaka, ggwe eyamegganga amawanga!
13 N'oyogera mu mutima gwo nti Ndirinnya mu ggulu, ndigulumiza entebe yange okusinga emmunyeeye za Katonda; era ndituula ku lusozi olw'ekibiina, ku njuyi ez'enkomerero ez'obukiika obwa kkono:
14 ndirinnya okusinga ebire we bikoma; ndifaanana oyo ali waggulu ennyo.
15 Naye olissibwa e magombe, ku njuyi ez'enkomerero ez'obunnya.
16 Abo abanaakulabanga banaakukeberanga, banaakulowoozanga, nga boogera nti Ye wuuno eyakankanyanga ensi, eyanyeenyanga obwakabaka:
17 eyazisanga ensi yonna, n'asuula ebibuga byamu; ataatanga basibe be okudda ewaabwe?
18 Bakabaka bonna ab'amawanga, bonna bwe benkana, beebakira mu kitiibwa, buli muntu mu nnyumba ye ye.
19 Naye ggwe osuulibwa okukuggya mu malaalo go ng'ettabi erikyayibwa, ng'oyambadde abattibwa, abafumitibwa n'ekitala, abakka mu mayinja ag'obunnya; ng'omulambo ogulinnyirirwa n'ebigere.
20 Toligattibwa nabo mu kuziikibwa, kubanga wazikiriza ensi yo, n'otta abantu bo; ezzadde ly'abo abakola obubi teriryogerwako ennaku zonna.
21 Mutegekere abaana be okuttibwa olw'obutali butuukirivu bwa bakitaabwe; baleme okugolokoka, ne balya ensi, ne bajjuza ensi yonna ebibuga.
22 Nange ndibagolokokerako, bw'ayogera Mukama ow'eggye, ne mpemmenta mu Babulooni erinnya n'abalifikkawo, n'omwana n'omuzzukulu, bw'ayogera Mukama.
23 Era ndikifuula obutaka bwa namunnungu, n'ebidiba eby'amazzi: era ndikyera n'olweyo olw'okuzikiriza, bw'ayogera Mukama ow'eggye.
24 Mukama ow'eggye alayidde, ng'ayogera nti Mazima nga bwe nnalowooza, bwe kirituukirira bwe kityo; era nga bwe nnateesa, bwe kirinywera bwe kityo;
25 ndimenyera Omwasuli mu nsi yange, era ndimulinnyira n'ebigere ku nsozi zange: kale ekikoligo kye kiribavaako, n'omugugu gwe guliva ku kibegabega kyabwe.
26 Okwo kwe kuteesa okwateesebwa ku nsi yonna: era ogwo gwe mukono ogwagololwa ku mawanga gonna.
27 Kubanga Mukama ow'eggye ye yateesa, era ani alikijjulula? n'omukono gwe gugoloddwa, era ani aliguzzaayo?
28 Mu mwaka kabaka Akkazi mwe yafiira ne wabaawo omugugu guno.
29 Tosanyuka, ggwe Bufirisuuti, ggwe wenna, kubanga omuggo gumenyese ogwakukuba: kubanga mu kikolo ky'omusota muliva essalambwa, n'ezzadde lyalyo liriba musota gwa muliro ogubuuka.
30 N'ababereberye ab'abaavu balirya, n'abatalina bintu baligalamira mirembe: era nditta ekikolo kyo n'enjala, n'ababo abalifikkawo balittibwa.
31 Wowoggana, ggwe wankaaki; kaaba, ggwe ekibuga; osaanuuse, ggwe Bufirisuuti, ggwe wenna; kubanga mu bukiika obwa kkono muvaamu omukka, so tewali eyeewala mu ntuuko ze ezaalagirwa.
32 Kale balyanukulwa batya ababaka ab'eggwanga? Nti Mukama yateekawo emisingi gya Sayuuni, ne mu ye ababonyaabonyezebwa ku bantu be mwe baliddukira.