1 Samwiri
Essuula 9
Awo waaliwo omusajja wa Benyamini, erinnya lye Kiisi, mutabani wa Abiyeeri, mutabani wa Zeroli, mutabani wa Bekolaasi, mutabani wa Afia omwana w'Omubenyamini, omusajja ow'amaanyi omuzira.
2 Era yalina omwana, erinnya lye Sawulo, omulenzi omulungi: so mu baana ba Isiraeri temwali muntu eyamusinga obulungi: okuva ku bibegabega bye n'okwambuka yasinga abantu bonna obuwanvu.
3 Awo endogoyi za Kiisi kitaawe wa Sawulo zaali zibuze. Kiisi n'agamba Sawulo mutabani we nti Twala omu ku baddu agende naawe ogolokoke ogende onoonye endogoyi.
4 Awo n'ayita mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu n’ayita ne mu nsi ya Salisa, naye ne bataziraba: awo ne bayita mu nsi ya Saalimu, nga teziri eyo: n'ayita mu nsi ey'Ababenyamini, naye ne bataziraba.
5 Awo bwe baatuuka mu nsi ya Zufu, Sawulo n'agamba omuddu we eyali naye nti Tugende tuddeyo; kitange aleme okuleka okulowooza endogoyi ne yeeraliikirira ffe.
6 N'amugamba nti Laba nno, mu kibuga muno mulimu omusajja wa Katonda, era omusajja oyo bamussaamu ekitiibwa; byonna by'ayogera tebirema kutuukirira: tugende eyo kaakano; mpozzi ye anaayinza okutubuulira eby'olugendo lwaffe lwe tutambula.
7 Awo Sawulo n'agamba omuddu we nti Naye, laba, bwe tunaagenda kiki kye tunaatwalira omusajja? kubanga emmere ewedde mu bintu byaffe, so tewali kirabo kye tuba tutwalira omusajja wa Katonda tulina ki?
8 Omuddu n'amuddamu Sawulo nate n'ayogera nti Laba, nnina ekitundu eky'okuna ekya sekeri eya ffeeza mu ngalo zange: ekyo kye nnaawa omusajja wa Katonda atulagirire ekkubo lyaffe.
9 (Edda mu Isiraeri, omuntu bwe yagendanga okubuuza Katonda, n'ayogeranga bw'ati nti Jjangu tugende eri omulabi: kubanga oyo ayitibwa nnabbi kaakano baamuyitanga mulabi edda.)
10 Awo Sawulo n'agamba omuddu we nti Oyogedde bulungi; jjangu tugende. Awo ne bayingira mu kibuga omwali omusajja wa Katonda.
11 Awo bwe baali balinnya awayambukirwa mu kibuga, ne basanga abawala abato nga bafuluma okusena amazzi, ne babagamba nti Omulabi ali wano?
12 Ne babaddamu ne boogera nti Waali; laba, ali mu maaso go: yanguwa nno, kubanga atuuse mu kibuga leero; kubanga abantu balina ssaddaaka leero mu kifo ekigulumivu:
13 bwe munaaba nga mutuuse mu kibuga, munaamulaba mangu ago, nga tannaba kwambuka mu kifo ekigulumivu okulya: kubanga abantu tebaalye nga tannajja, kubanga ye asabira ssaddaaka omukisa; awo abaayitibwa ne balyoka balya. Kale nno kaakano mwambuke; kubanga kaakano lwe munaamulaba.
14 Ne bambuka mu kibuga; awo bwe baali bayingira mu kibuga, laba, Samwiri n'afuluma okuboolekera, okwambuka mu kifo ekigulumivu.
15 Awo Mukama yali abikkulidde Samwiri ng'ekyasigaddeyo olunaku lumu Sawulo okujja, ng'ayogera nti
16 Enkya nga mu kiseera kino nnaawereza gy'oli omusajja ava mu nsi ya Benyamini, era olimufukako amafuta okuba omukulu w'abantu bange Isiraeri, era ye alirokola abantu bange mu mukono gw'Abafirisuuti: kubanga ntunuulidde abantu bange, kubanga okukaaba kwabwe kutuuse gye ndi.
17 Awo Samwiri bwe yalaba Sawulo, Mukama n'amugamba nti Laba omusajja gwe nnakugambyeko! oyo ye aliba n'obuyinza ku bantu bange.
18 Awo Sawulo n'asemberera Samwiri mu mulyango n'ayogera nti Mbuulira, nkwegayiridde, ennyumba ey'omulabi w'eri.
19 Samwiri n'addamu Sawulo n'ayogera nti Nze mulabi; yambuka okunkulembera mu kifo ekigulumivu, kubanga munaalya nange leero: awo enkya naakusiibula, ne nkubuulira byonna ebiri mu mutima gwo.
20 N'endogoyi zo ezaakamala ennaku ssatu okubula, tozeeraliikirira; kubanga zirabise. Era byonna ebyegombebwa mu Isiraeri biriba by'ani? tebiriba bibyo ggwe n'ennyumba ya kitaawo yonna?
21 Sawulo n'addamu n'ayogera nti Nze siri Mubenyamini, ow'omu kika ekisinga obutono mu bika bya Isiraeri? n'ennyumba yange si ye esinga obutono mu nnyumba zonna ez'ekika kya Benyamini? kale kiki ekikwogeza nange bw'otyo?
22 Awo Samwiri n'atwala Sawulo n'omuddu we n'abayingiza mu nju ey'abagenyi n'abatuuza mu kifo eky'oku mwanjo mu abo abaayitibwa, abantu ng'asatu.
23 Samwiri n'agamba omufumbiro nti Leeta omugabo gwe nkuwadde gwe nkugambyeko nti Gutereke.
24 Omufumbiro n'asitula ekisambi n'ebyakiriko n'akiteeka mu maaso ga Sawulo. Samwiri n'ayogera nti Laba ekyo ekiterekeddwa! kiteeke mu maaso go olye; kubanga kikuterekeddwa okutuusa ku biro ebyateekebwawo, kubanga nayogera nti Mpise abantu. Awo Sawulo n'alya ne Samwiri ku lunaku olwo.
25 Awo bwe baali baserengese mu kibuga okuva mu kifo ekigulumivu, n'ateesa ne Sawulo waggulu ku nnyumba.
26 Ne bagolokoka mu makya: awo olwatuuka obudde nga bukya, Samwiri n'ayita Sawulo waggulu ku nnyumba ng'ayogera nti Golokoka, nkusindike ogende. Sawulo n'agolokoka ne bafuluma bombi, ye ne Samwiri.
27 Bwe baali nga baserengeta ekibuga we kikoma, Samwiri n'agamba Sawulo nti Lagira omuddu ayitemu atukulembere (n'ayitamu,) naye ggwe yimirira buyimirizi mu kiseera kino nkuwulize ekigambo kya Katonda.