1 Samwiri
Essuula 12
Awo Samwiri n'agamba Isiraeri yenna nti Laba, mpulidde eddoboozi lyammwe mu byonna bye mwaŋŋamba, era nkoze kabaka okubafuga.
2 Era, laba, kaakano kabaka atambulira mu maaso gammwe: nange ndi mukadde, mmeze n'envi; era, laba, batabani bange bali nammwe: era natambulira mu maaso gammwe okuva mu buto bwange ne leero.
3 Nze nzuuno: munnumiririze mu maaso ga Mukama ne mu maaso g'oyo gwe yafukako amafuta: ani gwe nnanyagako ente ye? oba ani gwe nnanyagako endogoyi ye? oba ani gwe nnali ndyazaamaanyizza? ani gwe nnali njooze? oba ani gwe nnatoolako mu ngalo ze enguzi okunzibya amaaso nange naabasasula.
4 Ne boogera nti Totulyazaamaanyanga so totujooganga, so totoolanga kintu mu ngalo z'omuntu yenna.
5 N'abagamba nti Mukama ye mujulirwa gye muli n'oyo gwe yafukako amafuta ye mujulirwa leero nga mmwe temulabye kintu mu mukono gwange. Ne boogera nti Ye mujulirwa.
6 Samwiri n'agamba abantu nti Ye Mukama eyassaawo Musa ne Alooni era eyaggya bajjajjammwe mu nsi y'e Misiri.
7 Kale nno kaakano muyimirire buyimirizi mpoze nammwe mu maaso ga Mukama olw'ebikolwa byonna eby'obutuukirivu ebya Mukama bye yakola mmwe ne bajjajjammwe.
8 Yakobo bwe yali atuuse mu Misiri, bajjajjammwe ne bakaabira Mukama, awo Mukama n'atuma Musa ne Alooni eyaggya bajjajjammwe mu Misiri n'abatuuza mu kifo muno.
9 Naye ne beerabira Mukama Katonda waabwe, n'abatunda mu mukono gwa Sisera, omwami w'eggye lya Kazoli ne mu mukono gw'Abafirisuuti ne mu mukono gwa kabaka wa Mowaabu, ne balwana nabo.
10 Awo ne bakaabira Mukama ne boogera nti Twayonoona kubanga twaleka Mukama ne tuweereza Babaali ne Baasutaloosi; naye kaakano tulokole mu mukono gw'abalabe baffe, tulyoke tukuweereze.
11 Awo Mukama n'atuma Yerubbaali ne Bedani ne Yefusa ne Samwiri, n'abalokola mu mukono gw'abalabe bammwe enjuyi zonna, ne mutuula mirembe.
12 Awo bwe mwalaba nga Nakkasi kabaka w'abaana ba Amoni ng'abatabadde, ne muŋŋamba nti Nedda, naye kabaka ye alitufuga: Mukama Katonda wammwe nga ye kabaka wammwe.
13 Kale nno kaakano laba kabaka gwe mulonze era gwe musabye: era, laba, Mukama ataddewo kabaka okubafuga.
14 Bwe munaatyanga Mukama ne mumuweerezanga ne muwuliranga eddoboozi lye ne mutajeemeranga kiragiro kya Mukama, mmwe era ne kabaka abafuga ne mugobereranga Mukama Katonda wammwe; kale:
15 naye bwe mutaawulirenga ddoboozi lya Mukama, naye ne mujeemeranga ekiragiro kya Mukama, awo omukono gwa Mukama gunaalwananga nammwe nga bwe gwalwananga ne bajjajjammwe.
16 Kale nno kaakano muyimirire buyimirizi mulabe ekigambo kino ekikulu Mukama ky'anaakolera mu maaso gammwe.
17 Leero si ge makungula g'eŋŋaano? Naasaba Mukama aweereze okubwatuka n'enkuba: awo munaamanya ne mulaba ng'obubi bwammwe bunene bwe mwakola mu maaso ga Mukama nga mwesabira kabaka.
18 Awo Samwiri n'asaba Mukama; Mukama n'aweereza okubwatuka n'enkuba ku lunaku olwo: abantu bonna ne batya nnyo Mukama ne Samwiri.
19 Abantu bonna ne bagamba Samwiri nti Sabira abaddu bo eri Mukama Katonda wo tuleme okufa: kubanga twongedde ku bibi byaffe byonna n'ekibi kino, okwesabira kabaka.
20 Samwiri n'agamba abantu nti Temutya: okukola mwakola ekibi kino kyonna: naye temukyamanga obutagobereranga Mukama, naye muweerezenga Mukama n'omutima gwammwe gwonna;
21 so temukyamanga: kubanga kwe kwandibadde okugoberera ebitaliimu ebitayinza kugasa newakubadde okulokola, kubanga tebiriimu.
22 Kubanga Mukama taayabulirenga bantu be olw'erinnya lye ekkulu: kubanga Mukama yasiima okubeefuulira yekka eggwanga.
23 Era nze kiddire eri nze okusobya ku Mukama nga ndekayo okubasabira: naye naabayigirizanga ekkubo eddungi eggolokofu.
24 Kyokka mutyenga Mukama mumuweererezenga mu mazima n'omutima gwammwe gwonna: kubanga mulowooze ebigambo bye yabakolera bwe byenkana obukulu.
25 Naye bwe muneeyongeranga okukola ebibi, mulizikirira mmwe era ne kabaka wammwe.