1 Samwiri
Essuula 16
Awo Mukama n'agamba Samwiri nti Olituusa wa okunakuwalira Sawulo nze nga mmaze okumugaana okuba kabaka wa Isiraeri? jjuza ejjembe lyo amafuta ogende, naakutuma eri Yese Omubesirekemu: kubanga neerabidde kabaka mu batabani be.
2 Samwiri n'ayogera nti Nnyinza ntya okugenda? Sawulo bw'alikiwulira, alinzita. Mukama n'ayogera nti Twala ente enduusi ogende nayo oyogere nti Nzize okuwaayo ssaddaaka eri Mukama.
3 N'oyita Yese ajje ku ssaddaaka, nange ndikulaga bw'olikola: era olinfukira amafuta ku oyo gwe ndikwatulira erinnya.
4 Awo Samwiri n'akola ekyo Mukama kye yayogera n'ajja e Besirekemu. Abakadde b'ekibuga ne bajja okumusisinkana nga bakankana ne boogera nti Ozze mirembe?
5 N'ayogera nti Mirembe: nzize okuwaayo ssaddaaka eri Mukama: mwetukuze mujje nange tugende ku ssaddaaka. N'atukuza Yese ne batabani be n'abayita okujja ku ssaddaaka.
6 Awo olwatuuka nga batuuse n'atunuulira Eriyaabu n'ayogera nti Mazima Mukama gw'afukako amafuta ali mu maaso ge.
7 Naye Mukama n'agamba Samwiri nti Totunuulira maaso ge newakubadde embala Ye bw'eri empanvu; kubanga mugaanyi: kubanga Mukama talaba ng'abantu bwe balaba; kubanga abantu batunuulira okufaanana okw'okungulu, naye Mukama atunuulira mutima.
8 Awo Yese n’alyoka ayita Abinadaabu n'amuyisa mu maaso ga Samwiri. N'ayogera nti So n'oyo Mukama tamulonze.
9 Awo Yese n'ayisaawo Samma. N'ayogera nti So n'oyo Mukama tamulonze.
10 Yese n'ayisa mu maaso ga Samwiri musanvu ku batabani be. Samwiri n'agamba Yese nti Mukama talonze abo.
11 Samwiri n'agamba Yese nti Abaana bo bonna bali wano? N'ayogera nti Ekyasigaddeyo omuto, era, laba, alunda endiga. Samwiri n'agamba Yese nti Tuma bamukime: kubanga tetuutuule okutuusa lw'anajja eno.
12 N'atuma n'amuyingiza. Era yali mumyufu n'amaaso ge nga malungi era eyeegombebwa okutunuulirwa. Mukama n'ayogera nti Golokoka omufukeko amafuta: kubanga ye wuuyo.
13 Awo Samwiri n'alyoka addira ejjembe ery'amafuta, n'amufukako amafuta wakati mu baganda be: omwoyo gwa Mukama ne gujja ku Dawudi n'amaanyi okuva ku lunaku olwo n'okweyongerayo. Awo Samwiri n'agolokoka n'agenda e Laama.
14 Awo omwoyo gwa Mukama gwali guvudde ku Sawulo, n'omuzimu omubi ogwava eri Mukama ne gumunakuwaza.
15 Awo abaddu ba Sawulo ne bamugamba nti Laba nno; omuzimu omubi oguva eri Katonda gukunakuwaza.
16 Mukama waffe alagire kaakano abaddu bo, abali mu maaso go, okunoonya omusajja omukubi w'ennanga ow’amagezi: awo olunaatunkanga omuzimu omubi oguva eri Katonda bwe gunaabanga ku ggwe, kale anaakubanga ennanga n'engalo ze naawe oliwona.
17 Sawulo n'agamba abaddu be nti Mundabire nno omusajja ayinza okukuba obulungi mumundeetere.
18 Awo omu ku balenzi n'addamu n'ayogera nti Laba, nalaba mutabani wa Yese Omubesirekemu, omukubi w'ennanga ow'amagezi, era omusajja ow'amaanyi omuzira, era omulwanyi, era omutegeevu okwogera, era omuntu omulungi, ne Mukama ali naye.
19 Sawulo kyeyava atumira Yese ababaka n'ayogera nti Mpeereza Dawudi mutabani wo ali n'endiga.
20 Yese n'addira endogoyi n'agitikka emigaati n'ekita eky'omwenge n'omwana gw'embuzi, n'abiweereza Sawulo mu mukono gwa Dawudi mutabani we.
21 Awo Dawudi n’ajja eri Sawulo n'ayimirira mu maaso ge: n'amwagala nnyo; n'atwalanga ebyokulwanyisa bye:
22 Sawulo n'atumira Yese ng'ayogera nti Nkwegayiridde Dawudi ayimirirenga mu maaso gange; kubanga aganze mu maaso gange.
23 Awo olwatuukanga omuzimu omubi ogwava eri Katonda bwe gwabanga ku Sawulo, Dawudi n'addiranga ennanga ye n'akuba n’engalo ze: awo Sawulo n'aweeranga n'awona, omuzimu omubi ne gumuvaako.