1 Samwiri
Essuula 24
Awo olwatuuka Sawulo bwe yakomawo ng'amaze okugoberera Abafirisuuti, ne bamubuulira nti Laba, Dawudi ali mu ddungu erya Engedi.
2 Awo Sawulo n’atwala abasajja enkumi ssatu abaalondebwa mu Isiraeri yenna, n'agenda okunoonya Dawudi n'abasajja be ku njazi ez'embulabuzi.
3 N'ajja ku bisibo by'endiga mu kkubo awali empuku; Sawulo n'ayingira okubikka ku bigere bye. Era Dawudi n’abasajja be baali batudde mu bifo eby'omu mpuku ebyakomererayo munda.
4 Abasajja ba Dawudi ne bamugamba nti Laba, olunaku Mukama lwe yakugambako nti Laba, ndigabula omulabe wo mu mukono gwo, era olimukola nga bw'olisiima. Awo Dawudi n'agolokoka n’asala ku kirenge ky'ekyambalo kya Sawulo mu kyama.
5 Awo olwatuuka oluvannyuma Dawudi n'alumwa omwoyo, kubanga yasala ku kirenge kya Sawulo.
6 N'agamba abasajja be nti Mukama akiddize eri nze okukola mukama wange Mukama gwe yafukako amafuta ekigambo kino, okumugololera omukono gwange kubanga ye oyo Mukama gwe yafukako amafuta.
7 Awo Dawudi n’aziyiza abasajja be n'ebigambo ebyo, n'atabaganya kumugolokokerako Sawulo. Awo Sawulo n'agolokoka n'ava mu mpuku n’agenda.
8 Awo ne Dawudi n'agolokoka oluvannyuma n'ava mu mpuku n'akoowoola Sawulo ng'ayogera nti Mukama wange kabaka. Awo Sawulo bwe yakebuka, Dawudi n'avuunama amaaso ge ne yeeyanza.
9 Dawudi n'agamba Sawulo nti Kiki ekikuwuliza ebigambo by'abantu nga boogera nti Laba, Dawudi ayagala okukukola akabi?
10 Laba, leero amaaso go galabye Mukama bw'abadde akugabudde mu mukono gwange leero mu mpuku: era wabaddewo abaŋŋambye okukutta: naye eriiso lyange ne likusaasira; ne ŋŋamba nti Sijja kugolola mukono gwange ku mukama wange; kubanga ye oyo Mukama gwe yafukako amafuta.
11 Era, kitange, laba, weewaawo, laba, ekirenge ky'ekyambalo kyo mu ngalo zange; kale kubanga nsaze ku kirenge ky'ekyambalo kyo ne sikutta, tegeera olabe nga tewali kabi newakubadde ekyonoono mu mukono gwange; so sikusobezza newakubadde ng'oyigganya obulamu bwange okubukwata:
12 Mukama asale omusango wakati wange naawe, Mukama akuwalaneko eggwanga lyange: naye, omukono gwange teguliba ku ggwe.
13 Ng'olugero olw'ab'edda bwe lwogera nti Mu babi mwe muva obubi: naye omukono gwange teguliba ku ggwe.
14 Kabaka wa Isiraeri atabadde ani? ogoberera ani? ogoberera embwa enfu, enkukunyi.
15 Kale Mukama abe mulamuzi, asale omusango gwange n'ogugwo, alabe awoze ensonga yange andokole mu mukono gwo.
16 Awo olwatuuka Dawudi bwe yamala okugamba Sawulo ebigambo ebyo, Sawulo n'ayogera nti Lino lye ddoboozi lyo, mwana wange Dawudi? Sawulo n'ayimusa eddoboozi lye n'akaaba amaziga.
17 N'agamba Dawudi nti Ggwe onsinga obutuukirivu: kubanga onsasudde obulungi, naye nze nkusasudde obubi.
18 Era oyatudde leero bw'onkoze obulungi: kuba Mukama ng'angabudde mu mukono gwo n'otonzita.
19 Kubanga omuntu bw'asanga omulabe we, anaamuganya okugenda nga mulamu? Kale Mukama akuwe empeera ennungi olw'ekyo ky'onkoze leero.
20 Era nno, laba, mmanyi nga tolirema kuba kabaka, era ng'obwakabaka bwa Isiraeri bulinywezebwa mu mukono gwo.
21 Kale nno kaakano ndayirira Mukama nga tolizikiriza zzadde lyange eririddawo, so nga tolimalawo linnya lyange okuliggya mu nnyumba ya kitange.
22 Dawudi n'alayirira Sawulo. Sawulo n'addayo eka; naye Dawudi n'abasajja be ne bayambuka mu mpuku.