1 Samwiri
Essuula 18
Awo olwatuuka bwe yamala okwogera ne Sawulo, emmeeme ya Yonasaani n'egattibwa n'emmeeme ya Dawudi, Yonasaani n'amwagala ng'emmeeme ye ye.
2 Sawulo n'amutwala ku lunaku olwo n'atamuganya kuddayo nate eka mu nnyumba ya kitaawe.
3 Awo Yonasaani ne Dawudi ne balagaana endagaano kubanga yamwagala ng'emmeeme ye ye.
4 Yonasaani ne yeeyambulamu omunagiro gwe gwe yali ayambadde n'aguwa Dawudi, n'ekyambalo kye, era n'ekitala kye n'omutego gwe n'olukoba lwe.
5 Dawudi n'agendanga buli Sawulo gye yamutumanga n'ayisa n'amagezi: Sawulo n'amufuula omukulu w'abasajja abalwanyi, abantu bonna ne bakisiima, era n'abaddu ba Sawulo.
6 Awo olwatuuka nga bajja, Dawudi bwe yakomawo ng'asse Omufirisuuti, abakazi ne bava mu bibuga byonna ebya Isiraeri, nga bayimba era nga bazina, okusisinkana ne kabaka Sawulo, nga balina ebitaasa, nga basanyuka, nga bakutte ebivuga.
7 Abakazi ne bayimbiragana nga bazannya ne boogera nti Sawulo asse enkumi ze, Ne Dawudi obukumi bwe.
8 Sawulo n'asunguwala nnyo ekigambo ekyo ne kimunyiiza; n'ayogera nti Dawudi bamuwadde obukumi, nange bampadde enkumi zokka: kale ayinza okweyongera okuba na ki wabula obwakabaka?
9 Awo Sawulo n'amutunuulira Dawudi n'eriiso ebbi okuva ku lunaku olwo n'okweyongerayo.
10 Awo olwatuuka enkya omuzimu omubi ogwava eri Katonda ne gujja ku Sawulo n'amaanyi, n'alagulira wakati mu nnyumba: Dawudi n'akuba ennanga n'engalo ze nga bwe yakolanga buli lunaku: era Sawulo yalina effumu lye mu ngalo ze.
11 Sawulo n'akasuka effumu; kubanga n'ayogera nti Naafumita Dawudi okukwasa n’ekisenge. Dawudi ne yeewomera mu maaso ge emirundi ebiri.
12 Awo Sawulo n'atya Dawudi kubanga Mukama yali naye, era ng'avudde ku Sawulo.
13 Sawulo kyeyava amuggya w'ali n'amufuula omukulu we ow'olukumi: n'afulumanga n'ayingira mu maaso g'abantu.
14 Dawudi n'ayisa n'amagezi mu makubo ge gonna; era Mukama yali naye.
15 Awo Sawulo bwe yalaba ng'ayisa n'amagezi mangi nnyo, n'amutekemukira.
16 Naye Isiraeri yenna ne Yuda ne bamwagala Dawudi; kubanga yafulumanga n'ayingira mu maaso gaabwe.
17 Awo Sawulo n'agamba Dawudi nti Laba, muwala wange omukulu Merabu ndikumuwa okumuwasa: kyokka ombeereranga omuzira olwanenga entalo za Mukama. Kubanga Sawulo yayogera nti Omukono gwange guleme okumubaako, naye omukono gw'Abafirisuuti gumubeeko.
18 Awo Dawudi n'agamba Sawulo nti Nze ani, n'obulamu bwange kiki, oba ennyumba ya kitange mu Isiraeri, nze okuba mukoddomi wa kabaka?
19 Naye olwatuuka ebiro bwe byajja bwe kyagwanira okumuwa Dawudi Merabu muwala wa Sawulo, awo ne bamuwa Adulieri Omumekolasi okumufumbirwa.
20 Awo Mikali muwala wa Sawulo n'ayagala Dawudi: ne babuulira Sawulo, ekigambo ekyo n'akisiima.
21 Sawulo n'ayogera nti Ndimumuwa abeere ekyambika gy'ali, n'omukono gw'Abafirisuuti gulwane naye. Sawulo kyeyava agamba Dawudi nti Leero onooba mukoddomi wange omulundi ogw'okubiri.
22 Awo Sawulo n'alagira abaddu be nti Muteese ne Dawudi mu kyama mwogere nti Laba, kabaka akusanyukira n'abaddu be bonna bakwagala: kale nno kaakano beera mukoddomi wa kabaka.
23 Awo abaddu ba Sawulo ne boogera ebigambo ebyo mu matu ga Dawudi. Dawudi n'ayogera nti Mukiyita kigambo kitono okuba mukoddomi wa kabaka, nze ani omusajja omwavu era gwe batayitamu ka buntu?
24 Abaddu ba Sawulo ne bamubuulira nga boogera nti Bw'atyo Dawudi bw'ayogedde.
25 Sawulo n'ayogera nti Bwe mutyo bwe munaagamba Dawudi nti Kabaka tayagala bya buko byonna, wabula ebikuta by'Abafirisuuti kikumi, okuwalana eggwanga ku balabe ba kabaka. Era Sawulo yali alowooza okussa Dawudi omukono gw'Abafirisuuti.
26 Awo abaddu be bwe baabuulira Dawudi ebigambo ebyo, Dawudi n'asiima nnyo okuba mukoddomi wa kabaka. Awo ennaku nga tezinnaba kuyitawo;
27 Dawudi n'agolokoka n'agenda, ye n'abasajja be, n'atta ku Bafirisuuti abasajja ebikumi bibiri; Dawudi n'aleeta ebikuta byabwe, n’abiwa kabaka omuwendo nga gutuukiridde, alyoke abeere mukoddomi wa kabaka. Awo Sawulo n'amuwa Mikali muwala we okumufumbirwa.
28 Sawulo n'alaba n'ategeera nga Mukama ali ne Dawudi; ne Mikali muwala wa Sawulo n'amwagala.
29 Awo Sawulo ne yeeyongera nate okutya Dawudi, Sawulo n'aba mulabe wa Dawudi ennaku zonna.
30 Awo abaami b'Abafirisuuti ne balyoka batabaala: awo olwatuuka buli lwe baatabaalanga, Dawudi n'ayisanga n'amagezi n'asinga abaddu ba Sawulo bonna; erinnya lye ne lyatiikirira nnyo.