1 Samwiri
Essuula 17
Awo Abafirisuuti ne bakuŋŋaanya eggye lyabwe okulwana, ne bakuŋŋaanira e Soko ekya Yuda, ne basiisira wakati w'e Soko ne Azeka mu Efusudammimu.
2 Sawulo n'abasajja ba Isiraeri ne bakuŋŋaana ne basiisira mu kiwonvu Era, ne basimba ennyiriri okulwana n'Abafirisuuti.
3 Abafirisuuti ne bayimirira ku lusozi eruuyi ne Isiraeri n'ayimirira ku lusozi eruuyi: ne waba ekiwonvu wakati waabwe.
4 Ne mu lusiisira olw'Abafrisuuti ne muva omuzira, erinnya lye Goliyaasi, ow'e Gaasi, obuwanvu bwe emikono mukaaga ko oluta;
5 Era yali atikkide seppewo ey'ekikomo ku mutwe gwe, n'ayambala ekizibawo eky'ekikomo; n'obuzito bw'ekizibawo bwali sekeri enkumi ttaano ez'ekikomo.
6 Era yali ayambadde ku magulu eby'ebikomo, era yalina n'effumu ery'ekikomo ku kibegabega kye.
7 N'olunyago lw'effumu lye lwaliŋŋanga omuti ogulukirwako engoye; n'effumu lye lyennyini obuzito bwalyo sekeri kikumi ez'ekyuma: n'oyo eyatwalanga engabo ye n'amukulemberanga.
8 Awo n'ayimirira n'alangira eggye lya Isiraeri n'abagamba nti Mwafulumira ki okusimba ennyiriri zammwe? nze siri Mufirisuuti nammwe baddu ba Sawulo? mwerondere omusajja aserengete gye ndi.
9 Bw'anaayinza okulwana nange n'anzita, kale tunaaba baddu bammwe: naye bwe nnaamusinga ne mmutta, kale mmwe munaaba baddu baffe ne mutuweereza.
10 Omufirisuuti n'ayogera nti Nsoomozezza eggye lya Isiraeri leero: mumpe omusajja tulwane fembi.
11 Awo Sawulo ne Isiraeri yenna bwe baawulira ebigambo ebyo eby'Omufirisuuti, ne bakeŋŋentererwa ne batya nnyo.
12 Awo Dawudi yali mwana wa Mwefulaasi oyo ow'e Besirekemuyuda, erinnya lye Yese; era yalina batabani be munaana: era omusajja yali mukadde ku mirembe gya Sawulo ng'akootakoota mu bantu.
13 Ne batabani ba Yese abakulu abasatu baali bagoberedde Sawulo mu ntalo: ne batabani be abasatu abaagenda mu ntalo amannya gaabwe Eriyaabu omubereberye, n'eyamuddako Abinadaabu, n'ow'okusatu Samma.
14 Ne Dawudi ye yali omuto: n'abakulu abasatu ne bagoberera Sawulo.
15 Era Dawudi n'addiŋŋananga okuva eri Sawulo okulunda endiga za kitaawe e Besirekemu.
16 Omufirisuuti n'asemberanga enkya n'akawungeezi, ne yeeyolekeranga ennaku amakumi ana.
17 Awo Yese n'agamba Dawudi mutabani we nti Twalira nno baganda bo efa ey'eŋŋaano eno ensiike n'emigaati gino ekkumi, oyanguwe obitwale mu lusiisira eri baganda bo;
18 otwalire omukulu w'olukumi lwabwe ebitole bino ekkumi eby'amata amakalu, olabe baganda bo bwe bali, obaggyeko omusingo gwabwe.
19 Era Sawulo nabo abasajja bonna aba Isiraeri baali mu kiwonvu Era nga balwana n'Abafirisuuti.
20 Dawudi n'agolokoka enkya mu makya, n'alekera endiga omusumba n'addira ebintu n'agenda nga Yese bwe yamulagira; n'atuuka mu kifo eky'amagaali, eggye eryali lifuluma okulwana nga balanga emiruka egy'obulwa.
21 Awo Isiraeri n'Abafirisuuti ne basimba ennyiriri, eggye nga lyolekera eggye.
22 Dawudi n'aleka omugugu gwe mu mukono gw'omukuumi w'emigugu, n'adduka mbiro eri eggye n'ajja n'alamusa baganda be.
23 Awo bwe yali anyumya nabo, laba, ne wayambuka oyo omuzira, Omufirisuuti ow'e Gaasi, erinnya lye Goliyaasi, ng'ava mu nnyiriri ez'Abafirisuuti n'ayogera ng'ebigambo ebyo bwe byali: Dawudi n'abiwulira.
24 Awo abasajja bonna aba Isiraeri bwe baalaba omusajja ne bamudduka ne batya nnyo.
25 Abasajja ba Isiraeri ne boogera nti Mulabye omusajja oyo ayambuse? mazima okusoomoza Isiraeri kyavudde ayambuka: awo olunaatuuka omuntu anaamutta kabaka anaamugaggawaza n'obugagga bungi, era anaamuwa ne muwala we, era anaafuula ennyumba ya kitaawe okuba ey'eddembe mu Isiraeri.
26 Awo Dawudi n'ayogera n'abasajja abaali bayimiridde okumuliraana nti Omuntu anaakolwa atya anatta Omufirisuuti ono, n'aggya ekivume ku Isiraeri? kubanga Omufirisuuti ono atali mukomole ye ani asoomoze eggye lya Katonda omulamu?
27 Abantu ne bamuddamu bwe bati nga boogera nti Bw'atyo bw'anaakolwa omuntu anaamutta.
28 Ne Eriyaabu muganda we omukulu n'awulira bwe yayogera n'abasajja; obusungu ne bumukwata Eriyaabu eri Dawudi, n'ayogera nti Oserengetedde ki? n'endiga ezo entono wazirekera ani ku ttale? Mmanyi amalala go n'ekyejo ekiri mu mutima gwo, kubanga oserengese okulaba olutalo.
29 Dawudi n'ayogera nti Nkoze ki kaakano? Tewali nsonga?
30 N'amuvaako n'akyukira omulala n'ayogera ebigambo ebimu n'ebyo: abantu ne bamuddamu nate bwe batyo nga bwe baamuzzeemu olubereberye.
31 Awo ebigambo bwe byawulirwa Dawudi bye yayogera ne babyogerera mu maaso ga Sawulo; n'amutumya.
32 Dawudi n'agamba Sawulo nti Omuntu yenna aleme akuggwaamu omwoyo ku lulwe; omuddu wo anaagenda n'alwana n'Omufirisuuti oyo.
33 Sawulo n'agamba Dawudi nti Toyinza kusisinkana na Mufirisuuti oyo okulwana naye: kubanga ggwe oli mulenzi bulenzi, naye ye musajja mulwanyi okuva mu buto bwe;
34 Dawudi n'agamba Sawulo nti Omuddu wo yakuumanga endiga za kitaawe; awo bwe wajjanga empologoma oba ddubu n'eggya omwana gw'endiga mu kisibo,
35 ne nfulumanga ne ngigoberera ne ngikuba ne ngiwonya nga ngiggya mu kamwa kaayo: awo bwe yangolokokerangako ne ngikwata ku kirevu kyayo ne ngikuba ne ngitta.
36 Omuddu wo yakuba empologoma era n'eddubu: n'Omufirisuuti oyo atali mukomole aliba ng'emu ku zo kubanga asoomozezza eggye lya Katonda omulamu.
37 Dawudi n'ayogera nti Mukama eyamponya mu njala z'empologoma ne mu njala z'eddubu, alimponya ne mu mukono gw'Omufirisuuti oyo. Sawulo n'agamba Dawudi nti Genda, era Mukama anaaba naawe.
38 Awo Sawulo n'ayambaza Dawudi ebyambalo bye, n'amutikkira enkuufiira ey'ekikomo ku mutwe gwe, n'amwambaza ekizibawo eky'ekikomo.
39 Awo Dawudi ne yeesiba ekitala kye ku byambalo bye, n'agezaako okutambula; kubanga yali tannaba kubyegezaamu. Awo Dawudi n'agamba Sawulo nti Siyinza kugenda na bino; kubanga sinnabyegezaamu. Dawudi n'abyeyambulamu.
40 N'addira omuggo gwe mu mukono gwe, ne yeerondera amayinja amaweweevu ataano mu kagga, n'agateeka mu nsawo ey'omusumba gye yalina, mu ndyanga ye; n'envuumuulo ye yali mu mukono gwe: n'asemberera Omufirisuuti.
41 Awo Omufirisuuti n'ajja n'amusemberera Dawudi; n'omusajja eyatwalanga engabo n'amukulembera.
42 Awo Omufirisuuti bwe yamagamaga n'alaba Dawudi, n'amunyooma: kubanga nga yali mulenzirenzi, era mumyufu, n'amaaso ge nga malungi.
43 Omufirisuuti n'agamba Dawudi nti Nze ndi mbwa n'okujja n'ojja gye ndi n'emiggo? Omufirisuuti n'akolimira Dawudi eri bakatonda be.
44 Omufirisuuti n'agamba Dawudi nti Jjangu gye ndi ngabire omubiri gwo ennyonyi ez'omu bbanga n'ensolo ez'omu nsiko.
45 Awo Dawudi n'agamba Omufirisuuti nti Ojja gye ndi n'ekitala n'olunyago n'effumu: naye nze njija gy'oli mu linnya lya Mukama ow'eggye, Katonda w'eggye lya Isiraeri, ly'osoomozezza:
46 Leero Mukama anaakugabula mu mukono gwange; era naakukuba ne nkuggyako omutwe gwo; era naagabira ennyonyi ez'omu bbanga n'ensolo ez'omu nsiko emirambo egy'eggye ery'Abafirisuuti; ensi zonna zitegeere nga mulimu Katonda mu Isiraeri:
47 era ekibiina kino kyonna kitegeere nga Mukama talokola na kitala na ffumu: kubanga olutalo lwa Mukama, naye anaabagabula mu mukono gwaffe.
48 Awo olwatuuka Omufirisuuti bwe yagolokoka n'asembera okusisinkana ne Dawudi, awo Dawudi n'ayanguwa n'adduka mbiro eri eggye okusisinkana n'Omufirisuuti.
49 Awo Dawudi n'ayingiza engalo ze mu nsawo ye n'aggyamu ejjinja n'alivuumuula n'akuba Omufirisuuti ekyenyi; ejjinja ne liiyingira mu kyenyi kye, n'agwa nga yevuunise.
50 Awo Dawudi n'awangula bw'atyo Omufirisuuti n'envuumuulo n'ejjinja, n'akuba Omufirisuuti n'amutta; naye nga temuli kitala mu mukono gwa Dawudi.
51 Awo Dawudi n'adduka mbiro n'ayimirira ku Mufirisuuti, n'addira ekitala kye n'akisowola mu kiraato kyakyo, n'amutta n'amutemako omutwe nakyo. Awo Abafirisuuti bwe baalaba omuzira waabwe ng'afudde ne badduka.
52 Awo abasajja ba Isiraeri n'aba Yuda ne bagolokoka ne boogerera waggulu ne bagoberera Abafirisuuti okutuusa lw'otuuka e Gaayi ne ku miryango gya Ekuloni. N'Abafirisuuti abaafumitibwa ebiwundu ne bagwa ku kkubo eridda e Saalayimu, okutuusa e Gaasi ne Ekuloni.
53 Abaana ba Isiraeri ne baleka okugoberera Abafirisuuti ne bakomawo ne banyaga olusiisira lwabwe.
54 Awo Dawudi n'addira omutwe gw'Omufirisuuti n'agutwala e Yerusaalemi; naye n'ateeka ebyokulwanyisa bye mu weema ye.
55 Era Sawulo bwe yalaba Dawudi ng'afuluma okulwana n'Omufirisuuti, n'agamba Abuneeri, omukulu w'eggye, nti Abuneeri, omulenzi ono ye mwana w'ani? Abuneeri n'ayogera nti Nga ggwe bw'oli omulamu, ai kabaka, simanyi.
56 Kabaka n'ayogera nti Buuza kitaawe w'omuvubuka oyo bw'ali.
57 Awo Dawudi bwe yali akomawo ng'asse Omufirisuuti, Abuneeri n'amutwala n'amuleeta eri Sawulo ng'alina omutwe gw'Omufirisuuti mu mukono gwe.
58 Sawulo n'amugamba nti Ggwe oli mwana w'ani, mulenzi ggwe? Dawudi n'addamu nti Nze ndi mwana wa muddu wo Yese Omubesirekemu.