1 Samwiri

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31

0:00
0:00

Essuula 4

Ekigambo kya Samwiri ne kijjira Israeri yenna. Awo Abaisiraeri ne batabaala okulwana n'Abafirisuuti ne basiisira ku bbali lya Ebenezeri: Abafirisuuti ne basiisira mu Afeki.
2 Abafirisuuti ne basimba ennyiriri okulwana n'Abaisiraeri: awo bwe baatuukaganako, Isiraeri n'akubibwa mu maaso g'Abafirisuuti: ne battira awo ku ggye lyabwe abasajja ng'enkumi nnya.
3 Awo abantu bwe baatuuka mu lusiisira, abakadde ba Isiraeri ne boogera nti Mukama atukubidde ki leero mu maaso g'Abafirisuuti? Tukime essanduuko ey'endagaano ya Mukama nga tugiggya mu Siiro tugireete we tuli, etuuke mu ffe etulokole mu mukono gw'abalabe baffe.
4 Awo abantu ne batuma e Siiro, ne baggyayo essanduuko ey'endagaano ya Mukama ow'eggye, atuula ku bakerubi: ne batabani ba Eri bombi Kofuni ne Finekaasi baali eyo awali essanduuko ey'endagaano ya Katonda.
5 Awo essanduuko ey'endagaano ya Mukama bwe yatuuka mu lusiisira, Abaisiraeri bonna ne boogerera waggulu n'eddoboozi ddene n'okuwuuma ensi n’ewuumira ddala.
6 Awo Abafirisuuti bwe baawulira eddoboozi ery'okwogerera waggulu, ne boogera nti Eddoboozi eryo lye boogerera waggulu ennyo mu lusiisira lw'Abaebbulaniya amakulu gaalyo ki? Ne bategeera ng'essanduuko ya Mukama etuuse mu lusiisira.
7 Awo Abafirisuuti ne batya kubanga baayogera nti Katonda atuuse mu lusiisira. Ne boogera nti Zitusanze! kubanga obw'edda tewabangawo kigambo ekifaanana bwe kityo.
8 Zitusanze! ani alitulokola mu mukono gwa bakatonda abo ab'amaanyi? Be bakatonda abo abaabonyezabonyeza Abamisiri mu ddungu n'ebibonoobono ebitali bimu.
9 Muddeemu amaanyi, mwerage obusajja, mmwe Abafirisuuti, muleme okuba abaddu b'Abaebbulaniya, nga bo bwe baabanga abammwe: mwerage obusajja, mulwane.
10 Awo Abafirisuuti ne balwana, Isiraeri n'akubibwa, ne baddukira buli muntu mu weema ye: ne waba olutta lunene nnyo; kubanga ku Baisiraeri ne kugwa abasajja abatambula n'ebigere obukumi busatu.
11 Ssanduuko ya Mukama n’enyagibwa; batabani ba Eri bombi Kofuni ne Finekaasi ne battibwa.
12 Omusajja wa Benyamini n’ava mu ggye n'adduka n'atuuka e Siiro ku lunaku olwo, engoye ze nga ziyulise n'ettaka nga liri ku mutwe gwe.
13 Awo bwe yajja, laba, Eri ng'atudde ku ntebe ye ku mabbali g'ekkubo ng'atunuulira: kubanga omutima gwe gwali gukankanira sanduuko ya Katonda. Awo omusajja bwe yatuuka mu kibuga n'akibuulira, ekibuga kyonna ne kyogerera waggulu.
14 Awo Eri bwe yawulira eddoboozi ery'okwogerera waggulu, n'ayogera nti Eddoboozi ery'oluyoogaano luno amakulu gaalyo ki? Omusajja n'ayanguwa n'ajja n'abuulira Eri.
15 Era Eri yali nga yaakamaze emyaka kyenda mu munaana; n'amaaso ge gaali gayimbadde n'atayinza kulaba.
16 Omusajja n'agamba Eri nti Nze nzuuyo eyavudde mu ggye, ne nziruka leero okuva mu ggye. N'ayogera nti Byali bitya, mwana wange?
17 Awo oyo eyaleeta ebigambo n'addamu n'ayogera nti Abaisiraeri badduse mu maaso g'Abafirisuuti, era wabaddewo olutta olunene mu bantu, era ne batabani bo bombi Kofuni ne Finekaasi bafudde, ne ssanduuko ya Katonda enyagiddwa.
18 Awo olwatuuka bwe yayogera ku ssanduuko ya Katonda, n'agwa bugazi okuva ku ntebe ye ku mabbali g'omulyango, obulago bwe ne bukutukako n'afa: kubanga yali mukadde n'obuzito muzito. Era yali alamulidde Isiraeri emyaka ana.
19 Awo muka mwana we, mukazi wa Finekaasi, yali lubuto ng'alitera okuzaala: awo bwe yawulira ebigambo nga ssanduuko ya Katonda enyagiddwa, era nga ssezaala we ne bba bafudde, n'akutama n'azaala: kubanga obulumi bwe bwamutuukako.
20 Awo ng'anaatera okufa abakazi abaayimirira wali ne bamugamba nti Totya; kubanga ozadde omwana wa bulenzi. Naye n'ataddamu so teyassaayo mwoyo.
21 N'atuuma omwana Ikabodi ng'ayogera nti Ekitiibwa kivudde ku Isiraeri: kubanga ssanduuko ya Katonda enyagiddwa, ne kulwa ssezaala we ne bba
22 N'ayogera nti Ekitiibwa kivudde ku Isiraeri; kubanga ssanduuko ya Katonda enyagiddwa.