1 Samwiri
Essuula 2
Kaana n'asaba n'ayogera nti Omutima gwange gujaguliza Mukama, Ejjembe lyange ligulumizibwa mu Mukama: Akamwa kange kagaziye ku balabe bange; Kubanga nsanyukira obulokozi bwo.
2 Tewali mutukuvu nga Mukama; Kubanga tewali mulala wabula ggwe: So tewali lwazi oluliŋŋanga Katonda waffe.
3 Temwogeranga nate bya kyejo kingi ekyenkanidde awo; Eby'amalala tebivanga mu kamwa kammwe: Kubanga Mukama Katonda wa kumanya, N'oyo ye apima ebikolwa.
4 Emitego egy'abazira gimenyese. N'abo abeesittalanga beesibye amaanyi.
5 Abakkutanga bapakasizza olw'emmere; N'abo abaalumwanga enjala bakomye weewaawo, omugumba azadde musanvu; N'oyo alina abaana abangi ayongobera.
6 Mukama atta n'alamya: Aserengesa mu magombe n'alinnyisa okuvaayo.
7 Mukama ayavuwaza era agaggawaza: Assa wansi, era ye agulumiza.
8 Ayimusa abaavu okubaggya mu nfuufu, Asitula abeetaaga okubaggya mu lubungo, Okubatuuza awamu n'abalangira, Basikire entebe ey'ekitiibwa: Kubanga empagi z'ensi za Mukama, Era yateeka ebintu byonna okwo.
9 Alikuuma ebigere by'abatukuvu be, Naye ababi balisirisibwa mu kizikiza; Kubanga tewaliba muntu alisinga olw'amaanyi.
10 Abawakana ne Mukama balimenyekamenyeka; Alibwatuka ku bo ng'ayima mu ggulu: Mukama alisala omusango gw'enkomerero z'ensi; Era alimuwa kabaka we amaanyi, N'agulumiza ejjembe ly'oyo gwe yafukako amafuta.
11 Awo Erukaana n'agenda e Lama mu nnyumba ye. Omwana n'aweereza Mukama mu maaso ga Eri kabona.
12 Awo batabani ba Eri baali baana ba Beriali; tebaamanya Mukama.
13 N'empisa bakabona gye baayisanga eri abantu yali bw'eti; omuntu yenna bwe yawangayo ssaddaaka, omuddu wa kabona n'ajja, nga bakyafumba ennyama, ng'alina ekkato ery'amannyo asatu mu ngalo ze;
14 n'akisoya mu nsaka oba bbinika oba ntamu oba sufuliya; byonna ekkato bye lyaleetanga kabona n'abitwalanga n'eryo. Bwe batyo bwe baakoleranga mu Siiro Abaisiraeri bonna abajjangayo.
15 Weewaawo, nga tebannaba kwokya masavu, omuddu wa kabona n'ajjanga, n'agamba omusajja eyali awaayo ssaddaaka nti Mpa ennyama okwokera kabona; kubanga tayagala omuwe ennyama enfumbe wabula embisi.
16 N'omusajja bwe yamugambanga nti Tebaaleme kwokya masavu mangu ago, n'olyoka otwala ng'emmeeme yo bw'eyagala; awo n'ayogeranga nti Nedda, naye onoogimpa kaakano: era bw'onoogaana, n'agitwala lwa maanyi.
17 Ekibi eky'abalenzi abo ne kiba kinene nnyo mu maaso ga Mukama: kubanga abantu ne batamwa ekiweebwayo eri Mukama.
18 Naye Samwiri n'aweererezanga mu maaso ga Mukama, nga mwana muto nga yeesibye ekkanzu eya bafuta.
19 Era nnyina n'amutungiranga akanagiro n'akamuleeteranga buli mwaka, bwe yalinnyanga awamu ne bba okuwaayo ssaddaaka eya buli mwaka.
20 Eri n'amusabira omukisa Erukaana ne mukazi we, n'ayogera nti Mukama akuwe ezzadde mu mukazi ono olw'ekyo kye yayazika Mukama. Ne baddayo ewaabwe eka.
21 Awo Mukama n'ajjira Kaana n'aba olubuto n'azaala abaana ab'obulenzi basatu n'ab'obuwala babiri. Omwana Samwiri n'akulira mu maaso ga Mukama.
22 Awo Eri yali akaddiye nnyo; n'awulira byonna batabani be bye baakolanga Abaisiraeri bonna era bwe baasulanga n'abakazi abaaweererezanga ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu.
23 N'abagamba nti Kiki ekibakoza ebifaanana bwe bityo? kubanga abantu bano bonna bambuulira ebikolwa byammwe ebibi.
24 Nedda, baana bange; kubanga bye mpulira si birungi n'akatono: mwonoonyesa eggwanga lya Mukama.
25 Omuntu bw'asobya ku munne, Katonda alimusalira omusango: naye omuntu bw'asobya ku Mukama, alimwegayiririra ani? Naye ne batawulira ddoboozi lya kitaabwe, kubanga Mukama yali ayagala okubatta.
26 Omwana Samwiri ne yeeyongera okukula, n'aba muganzi wa Katonda era n'abantu.
27 Awo ne wajja omusajja wa Katonda eri Eri, n'amugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Neebikkulira ekika kya kitaawo, bwe baali mu Misiri nga basibiddwa mu nnyumba ya Falaawo?
28 Era namuggya mu bika byonna ebya Isiraeri ne mmulonda okuba kabona wange, n'okulinnyanga ku kyoto kyange, okwotezanga obubaane, okwambalanga ekkanzu mu maaso gange? ne mpa ekika kya kitaawo ebiweebwayo byonna eby'abaana ba Isiraeri ebikolebwa n'omuliro?
29 Lwaki mmwe okusambira ssaddaaka yange n'ekiweebwayo gye ndi, bye nnalagira mu nnyumba yange, n'ossaamu ekitiibwa batabani bo okukira nze, mmwe okwesavuwaza n'ebisinga obulungi mu ebyo byonna Isiraeri abantu bange bye bawaayo?
30 Mukama, Katonda wa Isiraeri, kyava ayogera nti Okwogera nayogera ng'ekika kyo n'ekika kya kitaawo kinaatambuliranga mu maaso gange ennaku zonna: naye kaakano Mukama ayogera nti Kiddire eri; kubanga abo abanzisaamu ekitiibwa bennassangamu ekitiibwa, n'abo abannyooma tebaabayitengamu ka buntu.
31 Laba, ennaku zijja, lwe ndisalako omukono gwo n'omukono gw'ennyumba ya kitaawo, waleme okuba omukadde mu nnyumba yo.
32 Era olitunuulira ennyumba yange ng'ebonyaabonyezebwa mu birungi byonna Katonda by'aliwa Isiraeri: so tewaabenga mukadde mu nnyumba yo ennaku zonna.
33 N'omusajja wo gwe ssiizikirizenga okumuggya ku kyoto kyange anaabanga wa kumalawo amaaso go n'okunakuwaza omwoyo gwo: n'ezzadde lyonna ery'ennyumba yo banaafanga nga kyebajje bavubuke.
34 Era kano ke kaliba akabonero gy'oli akalituuka ku batabani bo bombi, Kofuni ne Finekaasi; bombi balifa ku lunaku lumu.
35 Nange ndyeyimusiza kabona omwesigwa anaakolanga ng'ebyo bwe biri ebiri mu mutima gwange ne mu mmeeme yange: era ndimuzimbira ennyumba eyenkalakkalira; era anaatambuliranga ennaku zonna mu maaso g'oyo gwe ndifukako amafuta.
36 Awo olulituuka, buli alisigala mu nnyumba yo alijja n’amuvuunamira olw'ekitundu ky'effeeza n'omugaati gumu, n'ayogera nti Mpa obumu ku bwami bwa bakabona, nkwegayiridde, ndyoke ndye ku kamere.