1 Samwiri
Essuula 15
Awo Samwiri n'agamba Sawulo nti Mukama Yantuma okukufukako amafuta okuba kabaka w'abantu be Isiraeri: kale nno kaakano wulira eddoboozi ly'ebigambo bya Mukama.
2 Bw'atyo bw'ayogera Mukama ow'eggye nti Nekkaanya ebyo Amaleki bye yakola Isiraeri, bwe yeesimbawo okumuziyiza mu kkubo, bwe yalinnya okuva mu Misiri.
3 Kaakano genda okube Amaleki, ozikiririze ddala byonna bye balina, so tobasaasira; naye batte abasajja n'abakazi omwana omuwere n’ayonka, ente n’endiga, eŋŋaamira n’endogoyi.
4 Awo Sawulo n'ayita abantu n'ababalira e Terayimu, abasajja abatambula n'ebigere obusiriivu bubiri, n'abasajja ba Yuda kakumi.
5 Sawulo n'atuuka ku kibuga kya Amaleki n'ateegera mu kiwonvu.
6 Sawulo n'agamba Abakeeni nti Mugende muveewo muserengete okuva mu Bamaleki nneme okubazikiriza awamu nabo: kubanga mwakola eby'ekisa abaana ba Isiraeri bonna, bwe baava mu Misiri. Awo Abakeeni ne bava mu Bamaleki.
7 Sawulo n'akuba Abamaleki; okuva e Kavira ng'ogenda e Ssuuli, ekyolekera Misiri.
8 N'awamba Agagi kabaka w'Abamaleki, n'azikiririza ddala abantu bonna n'obwogi bw'ekitala.
9 Naye Sawulo n'abantu ne basonyiwa Agagi n'endiga ezaasinga obulungi n'ente n'ebya ssava n'abaana b'endiga n'ebirungi byonna, ne bagaana okubizikiririza ddala: naye ebibi byonna era ebitali bya muwendo ebyo ne babizikiririza ddala.
10 Awo ekigambo kya Mukama ne kiryoka kijjira Samwiri ng'ayogera nti
11 Nejjusizza kubanga nakuza Sawulo okuba kabaka: kubanga azzeeyo ennyuma obutangoberera so takoze biragiro byange. Awo Samwiri n'asunguwala; n'akaabira Mukama okukeesa obudde.
12 Awo Samwiri n'agolokoka mu makya okusisinkana ne Sawulo enkya; ne bamubuulira Samwiri nti Sawulo yatuuka ku Kalumeeri, era, laba, ne yeesimbira ekijjukizo, n'akyuka n'ayitamu n'aserengeta e Girugaali.
13 Awo Samwiri n'ajja eri Sawulo: Sawulo n'amugamba nti Oweebwe Mukama omukisa: nkoze ekiragiro kya Mukama.
14 Awo Samwiri n'ayogera nti Okubejjagala kuno okw'endiga nno okuli mu matu gange makulu ki, n'okuŋooŋa kw'ente kwe mpulira?
15 Sawulo n'ayogera nti Baaziggye ku Bamaleki ne bazireeta: kubanga abantu baasonyiye endiga n'ente ezaasinga obulungi, okuwaayo ssaddaaka eri Mukama Katonda wo; n'ebirala tubizikiririzza ddala.
16 Awo Samwiri n'agamba Sawulo nti Sooka oleke nange naakubuulira Mukama by'aŋŋambye ekiro kino. N'amugamba nti Yogera.
17 Samwiri n'ayogera nti Newakubadde nga wali mutono mu maaso go ggwe, tewafuuka mutwe gwa bika bya Isiraeri? Mukama n'akufukako amafuta okuba kabaka wa Isiraeri:
18 Mukama n'akutuma olugendo, n'ayogera nti Genda ozikiririze ddala abalina ebibi abo Abamaleki, olwane nabo okutuusa lwe balimalibwawo.
19 Kale kiki nno ekyakulobera okugondera eddoboozi lya Mukama, naye n'ogwa ku munyago, n'okola ebyali ebibi mu maaso ga Mukama?
20 Sawulo n'agamba Samwiri nti Okugondera ŋŋondedde eddoboozi lya Mukama, ne ŋŋenda olugendo Mukama lwe yantuma, ne ndeeta Agagi kabaka wa Amaleki, ne nzikiririza ddala Abamaleki.
21 Naye abantu ne batoola ku munyago endiga n'ente, ebyasinga mu ebyo ebyawongebwa, okuweerayo eri Mukama Katonda wo e Girugaali.
22 Samwiri n'ayogera nti Mukama asanyukira ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka okwenkana nga bw'asanyukira okugondera eddoboozi lya Mukama? Laba okugonda kusinga ssaaddaaka obulungi n’okuwulira kusinga amasavu g’endiga ennume.
23 Kubanga okujeema kuliŋŋanga ekibi eky’obufumu, n’obukakanyavu buliŋŋanga okusinza ebifaananyi ne baterafi. Kubanga ogaanyi ekigambo kya Mukama, naye akugaanyi okuba kabaka.
24 Awo Sawulo n'agamba Samwiri nti Nayonoona: kubanga nasobya ekiragiro kya Mukama n'ebigambo byo: kubanga natya abantu ne ŋŋondera eddoboozi lyabwe.
25 Kale nno kaakano, nkwegayiridde, sonyiwa ekibi kyange, okyukire wamu nange nate nsinze Mukama.
26 Samwiri n'agamba Sawulo nti Siddeyo naawe: kubanga ogaanyi ekigambo kya Mukama, ne Mukama akugaanyi okuba kabaka wa Isiraeri.
27 Awo Samwiri bwe yakyuka okugenda, n'akwata ekirenge ky'ekyambalo kye ne kiyulika.
28 Awo Samwiri n'amugamba nti Mukama akuyuzizzaako obwakabaka bwa Isiraeri leero, n'abuwa muliraanwa wo akusinga obulungi.
29 Era Maanyi ga Isiraeri talirimba so talyejjusa: kubanga si muntu yejjuse.
30 N'alyoka ayogera nti Nayonoona: naye nzisaamu ekitiibwa kaakano, nkwegayiridde, mu maaso g'abakadde b'abantu bange ne mu maaso ga Isiraeri, okyukire wamu nange nate nsinze Mukama Katonda wo.
31 Awo Samwiri n'akyuka nate okugoberera Sawulo; Sawulo n'asinza Mukama.
32 Awo Samwiri n'alyoka ayogera nti Mundeetere wano Agagi kabaka w'Abamaleki. Agagi n'ajja gy'ali ng'akumba. Agagi n'ayogera nti Mazima obubalagaze bw'okufa buyise.
33 Samwiri n'ayogera nti Ng'ekitala kyo bwe kyafuulanga abakazi obutaba na baana, bw'atyo nnyoko bw'aliba talina baana mu bakazi. Awo Samwiri n'atemeratemera Agagi mu maaso ga Mukama e Girugaali.
34 Awo Samwiri n'alyoka agenda e Laama; Sawulo n'ayambuka mu nnyumba ye e Gibea ekya Sawulo.
35 Samwiri n'atajja nate okulaba Sawulo okutuusa ku lunaku kwe yafiira; kubanga Samwiri yanakuwalira Sawulo: Mukama ne yejjusa kubanga yafuula Sawulo kabaka wa Isiraeri.