1 Samwiri
Essuula 30
Awo olwatuuka, Dawudi n'abasajja be bwe baatuuka e Zikulagi ku lunaku olw'okusatu, Abamaleki baali bamaze okukwekweta obukiika obwa ddyo ne Zikulagi, era nga bamaze okutta Zikulagi era nga bakyokezza omuliro;
2 era nga banyaze abakazi ne bonna abaali omwo, abato era n'abakulu: tebatta n'omu, naye baabanyaga ne babatwala ne bagenda.
3 Awo Dawudi n'abasajja be bwe baatuuka ku kibuga, laba, nga bakyokezza omuliro; ne bakazi baabwe ne batabani baabwe ne bawala baabwe nga babanyaze.
4 Awo Dawudi n'abantu abaali naye ne balyoka bayimusa eddoboozi lyabwe ne bakaaba amaziga okutuusa lwe baggwaamu endasi ezikaaba,
5 Ne bakazi ba Dawudi bombi, Akinoamu Omuyezuleeri ne Abbigayiri mukazi wa Nabali Omukalumeeri, baali babanyaze:
6 Dawudi n'anakuwala nnyo; kubanga abantu baayogera ku kumukasuukirira amayinja, kubanga abantu bonna omwoyo gwabaluma, buli muntu ng'alumirwa batabani be ne bawala be: naye Dawudi ne yeenywereza mu Mukama Katonda we.
7 Awo Dawudi n'agamba Abiyasaali kabona, mutabani wa Akimereki, nti Nkwegayiridde, leeta eno ekkanzu. Abiyasaali n'aleetayo ekkanzu eri Dawudi.
8 Dawudi n'abuuza Mukama ng'ayogera nti Bwe nnaagoberera ekibiina kino, ndibatuukako? N'amuddamu nti Goberera: kubanga tolirema kubatuukako, era tolirema kubibasuuza byonna.
9 Awo Dawudi n'agenda, ye n'abasajja olukaaga abaali naye, ne bajja ku kagga Besoli abaasigala gye baatuula.
10 Naye Dawudi n’agoberera, ye n’abasajja ebikumi bina: kubanga ebikumi bibiri baasigala, abaayongobera bwe batyo n'okuyinza ne batayinza kusomoka kagga Besoli:
11 ne basanga Omumisiri mu nsiko ne bamuleetera Dawudi ne bamuwa omugaati n'alya; ne bamunywesa amazzi:
12 ne bamuwa ekitundu ky'ekitole eky'ettiini n'ebirimba bibiri eby'ezabbibu enkalu; awo bwe yalya omwoyo gwe ne gukomawo: kubanga yali ng'amaze ennaku ssatu emisana n'ekiro nga talya mugaati so nga tanywa na mazzi.
13 Awo Dawudi n'amugamba nti Ggwe oli musajja w'ani? era ova wa? N'ayogera nti Nze ndi mulenzi w'e Misiri, omuddu w'Omwamaleki; mukama wange yansuula kubanga ennaku ziri ssatu kasookedde ndwala.
14 Twakwekweta obukiika obwa ddyo obw'Abakeresi n'ensi ya Yuda n'obukiika obwa ddyo obwa Kalebu; ne twokya Zikulagi omuliro.
15 Dawudi n'amugamba nti Ononserengesa eri ekibiina kino? N'ayogera ati Ndayirira Katonda nga tolinzita so tolimpaayo mu mikono gya mukama wange, nange naakuserengesa eri ekibiina kino.
16 Awo bwe yamuserengesa, laba, nga beesuddesudde ku ttaka lyonna, nga balya nga banywa, nga bafumba embaga, olw'omunyago omunene gwe baggya mu nsi ey'Abafirisuuti ne mu nsi ya Yuda.
17 Awo Dawudi n'abatta okutanula ekiro okutuusa olw'enkya lwe lwawungeera: ne watawonako n'omu, wabula abalenzi ebikumi bina abeebagala eŋŋamira ne badduka.
18 Dawudi n'asuuza byonna Abamaleki bye baali banyaze: Dawudi n'awonya bakazi be bombi.
19 Ne batabulwa kintu, oba kitono oba kinene, newakubadde abaana ab'obulenzi newakubadde ab'obuwala newakubadde omunyago newakubadde ekintu kyonna kye baali beenyagidde: Dawudi n’akomyawo byonna.
20 Dawudi n'atwala endiga n'ente zonna, ze baagoba okukulembera ensolo ezo endala, n'ayogera nti Guno gwe munyago gwa Dawudi.
21 Dawudi n'ajja eri abasajja ebikumi ebibiri, abaayongobera bwe batyo n'okuyinza ne batayinza kugoberera Dawudi, era be baatuuza ku kagga Besoli: ne bafuluma okusisinkana ne Dawudi n'okusisinkana n’abantu abaali naye: awo Dawudi bwe yasemberera abantu, n'abalamusa.
22 Awo abantu bonna ababi n'abantu ba Beriali ku abo abaagenda ne Dawudi ne baddamu ne boogera nti Kubanga tebaagenda naffe, tetujja kubawa ku munyago gwe tubasuuzizza, wabula buli muntu mukazi we n’abaana be, babatwale bagende.
23 Awo Dawudi n’ayogera nti Baganda bange, si bwe mugenda kukola ebyo Mukama by'atuwadde, atuwonyezza n'agabula mu mukono gwaffe ekibiina ekyatutabaala.
24 Era ani anaabawulira mu kigamho ekyo? kuba omugabo gw'oyo aserengeta mu lutalo nga bwe guli, bwe gutyo bwe gunaabeera omugabo gw'oyo asigala ku bintu: banaagabana okwenkanankana.
25 Awo olwatuuka okuva ku lunaku olwo n'alifuula etteeka n'empisa eri Isiraeri ne leero.
26 Awo Dawudi bwe yatuuka e Zikulagi, n'aweereza abakadde ba Yuda, mikwano gye, ku munyago ng'ayogera nti Laba ekirabo kyammwe eky'oku munyago gw'abalabe ba Mukama;
27 abo abaali mu Beseri, n'abo abaali mu Lamosi eky'obukiika obwa ddyo, n'abo abaali mu Yattiri;
28 n'abo abaali mu Aloweri, n'abo abaali mu Sifumosi, n'abo abaali mu Esutemoa;
29 n'abo abaali mu Lakali, n'abo abaali mu bibuga eby'Abayerameeri, n'abo abaali mu bibuga eby'Abakeeni;
30 n'abo abaali mu Koluma, n'abo abaali mu Kolasani, n'abo abaali mu Asaki;
31 n'abo abaali mu Kebbulooni, n'ebifo byonna Dawudi yennyini n'abasajja be gye baamanyiiranga okubeera.