1 Samwiri
Essuula 25
Awo Samwiri n'afa; Isiraeri yenna ne bakuŋŋaana ne bamukaabira, ne bamuziika mu nnyumba ye e Laama. Dawudi n'agolokoka n'aserengeta n'agenda mu ddungu Palani.
2 Awo yaliyo omusajja e Mawoni ebintu bye nga biri e Kalumeeri; era omusajja oyo yali mukulu nnyo, era yalina endiga enkumi ssatu n'embuzi lukumi: awo yali ng'asala ebyoya by'endiga ze e Kalumeeri.
3 Era erinnya ly'omusajja Nabali; ne mukazi we erinnya lye Abbigayiri: n'omukazi yali mutegeevu n'amaaso ge nga malungi: naye omusajja yali wa kkabyo era mubi mu bikolwa bye; era yali wa nnyumba ya Kalebu.
4 Awo Dawudi n'awulira mu ddungu Nabali ng'asala ebyoya by'endiga ze.
5 Awo Dawudi n'atuma abalenzi kkumi, Dawudi n'agamba abalenzi nti Mwambuke e Kalumeeri mugende eri Nabali mumunnamusize:
6 era bwe mutyo bwe muba mugamba oyo atuula ng'alaba (omukisa) nti Emirembe gibeere gy'oli, era emirembe gibeere ku nnyumba yo, era emirembe gibeere ku byonna by'olina.
7 Era nno mpulidde ng'olina abasala ebyoya by'endiga: abasumba bo nno baabanga naffe ne tutabakola bubi, so tewaabanga ekyababula, ebiro byonna nga bali e Kalumeeri.
8 Buuza abalenzi bo, banaakubuulira: kale abalenzi baganje mu maaso go; kubanga tujjidde ku lunaku olulungi: waayo, nkwegayiridde, kyonna ekinajja mu mukono gwo eri abaddu bo n'eri mutabani wo Dawudi.
9 Awo abalenzi ba Dawudi bwe bajja, ne boogera ne Nabali mu linnya lya Dawudi ng'ebigambo ebyo byonna bwe biri, ne basirika.
10 Awo Nabali n'addamu abaddu ba Dawudi n'ayogera nti Dawudi ye ani? ne mutabani wa Yese ye ani? mu biro bino wabaawo abaddu bangi abajeemera buli muntu mukama we.
11 Kale nno nnaatoola emigaati gyange n'amazzi gange n'ennyama yange gye nzitidde abasajja bange abasala ebyoya, ne mbiwa abasajja be ssimanyiiko gye bavudde?
12 Awo abalenzi ba Dawudi ne bakyuka ne bakwata ekkubo ne baddayo ne bajja ne bamubuulira ng'ebigambo ebyo byonna bwe biri.
13 Awo Dawudi n'agamba abasajja be nti Mwesibe buli muntu ekitala kye. Ne beesiba buli muntu ekitala kye; ne Dawudi naye ne yeesiba ekitala kye: ne wayambuka okugoberera Dawudi abasajja nga bikumi bina; ebikumi ebibiri ne basigala ku bintu.
14 Naye omu ku balenzi n'abuulira Abbigayiri mukazi wa Nabali ng'ayogera nti Laba, Dawudi yatuma ababaka ng'ayima mu ddungu okulamusa mukama waffe; n'abagwako.
15 Naye abasajja abo baatukolanga bulungi nnyo, so tetukolwanga bubi, so tetubulwanga kintu kyonna ebbanga lyonna lye twamala nga tubeera nabo, bwe twali mu nsiko:
16 baabanga bbugwe gye tuli emisana n'ekiro ekiseera kyonna kye twamala nabo nga tulunda endiga.
17 Kale nno kaakano tegeera olowooze ky'onookola: kubanga bamaliridde obubi ku mukama waffe ne ku nnyumba ye yonna: kubanga omwana wa Beriali eyenkanidde awo n'okuyinza omuntu n'atayinza kwogera naye.
18 Awo Abbigayiri n'alyoka ayanguwa n’addira emigaati ebikumi bibiri n'ebita bibiri eby'omwenge n'endiga ttaano enfumbire ddala, n'ebigero bitaano eby'eŋŋaano ensiike, n'ebirimba kikumi eby'ezabbibu enkalu, n'ebitole ebikumi bibiri eby'ettiini, n'abitikka endogoyi.
19 N'agamba abalenzi be nti Munkulembere mugende; laba mbavaako nnyuma. Naye n'atabuulira bba Nabali.
20 Awo olwatuuka nga yeebagala endogoyi ye n'aserengeta awaali ekifo ekyekwekerwamu eky'oku lusozi, awo, laba, Dawudi n'abasajja be ne baserengeta okumwolekera; n'asisinkana nabo.
21 Era Dawudi yali ayogedde nti Mazima nkuumidde bwereere byonna olusajja luno bye lulina mu ddungu, ekintu kyonna ne kitabula ku byalwo byonna bwe byenkana: kale lunsasudde obubi olw'obulungi.
22 Katonda akole bw'atyo abalabe ba Dawudi n'okukirawo, bwe ndisigazaawo ku babe bonna bwe benkana n'omwana omu ow'obulenzi.
23 Awo Abbigayiri bwe yalaba Dawudi, n'ayanguwa n'ava ku ndogoyi ye n’avuunamira Dawudi amaaso ge, n'akutama ku ttaka.
24 N'agwa ku bigere bye n'ayogera nti Obutali butuukirivu obwo bubeere ku nze mukama wange, ku nze: era muzaana wo ayogere mu matu go, nkwegayiridde, era wulira ebigambo by'omuzaana wo.
25 Nkwegayiridde, mukama wange aleme okussaayo omwoyo eri omuntu oyo owa Beriali, Nabali: kuba erinnya lye nga bwe liri, naye bw'ali bw'atyo; Nabali lye linnya lye n'obusirusiru buli naye; naye nze omuzaana wo saalaba balenzi ba mukama wange be watuma.
26 Kale nno kaakano, mukama wange nga Mukama bw'ali omulamu naawe nga bw'oli omulamu, kubanga Mukama akuziyizza okuzza omusango gw'omusaayi n'okwewalanira eggwanga n'omukono gwo ggwe, kale nno abalabe bo n’abo abanoonyeza mukama wange akabi, babe nga Nabali.
27 Era nno ekirabo kino omuzaana wo ky'aleetedde mukama wange, kiweebwe abalenzi abagoberera mukama wange.
28 Nkwegayidde, sonyiwa ekyonoono ky’omuzaana wo: kubanga Mukama talirema kukolera mukama nnyumba ey'enkalakkalira kubanga Mukama wange alwana entalo za Mukama; so n'akabi tekalirabika ku ggwe ennaku zo zonna.
29 Era newakubadde ng'abantu bagolokose okukuyigganya n'okunoonya obulamu bwo, naye obulamu bwa mukama wange bulisibirwa mu muganda gw'obulanu wamu ne Mukama Katonda wo; n'obulamu bw'abalabe bo alibuvuumuula ng'ebiva mu lubuto lw'envuumuulo.
30 Awo olulituuka Mukama bw'aliba ng'akoze mukama wange ng'obulungi bwonna bwe buli bwe yakwogerako era ng'akutaddewo okuba omukulu wa Isiraeri:
31 kale kino tekirikulumya mwoyo, so omutima gwange tegulyesittaza mukama wange kubanga wayiwa omusaayi ogutaliiko nsonga newakubadde kino nga mukama wange yeewalanira eggwanga yekka: awo Mukama bw'aliba ng'akoze bulungi mukama wange, kale ojjukiranga omuzaana wo.
32 Dawudi n'agamba Abbigayiri nti Atenderezebwe Mukama, Katonda wa Isiraeri, akutumye leero okusisinkana nange:
33 era gatenderezebwe n'amagezi go, naawe otenderezebwe ankuumye leero, obutabaako musango gwa musaayi n'obuteewalanira ggwanga n'omukono gwange nze.
34 Kubanga mazima ddala, nga Mukama Katonda wa Isiraeri bw'ali omulamu, anziyizza okukola obubi, singa toyanguye n'ojja okusisinkana nange, mazima tewandisigalidde Nabali emmambya ng'esaze omwana omu ow'obulenzi.
35 Awo Dawudi n'atoola mu ngalo ze ebyo by'amuleetedde: n'amugamba nti Yambuka mu nnyumba yo mirembe; laba, mpulidde eddoboozi lyo ne nkukkiriza ggwe.
36 Awo Abbigayiri n'ajja eri Nabali; era, laba, yali afumbye embaga mu nnyumba ye, ng'embaga ya kabaka; n'omwoyo gwa Nabali gwali gusanyuse munda mu ye, kubanga yali atamidde nnyo: kyeyava alema okumubuulira ekigambo kyonna, oba kitono oba kikulu, okutuusa enkya.
37 Awo olwatuuka enkya, Nabali omwenge bwe gwali gumuvuddeko, mukazi we n'amubuulira ebigambo ebyo, omutima gwe ne gufiira munda ye n'afuuka ng'ejjinja.
38 Awo olwatuuka ennaku nga kkumi nga ziyiseewo, Mukama n'alwaza Nabali n'afa.
39 Awo Dawudi bwe yawulira Nabali ng'afudde, n'ayogera nti Mukama atenderezebwe, awozezza ensonga ey'okuvumibwa kwange mu mukono gwa Nabali era aziyizza omuddu we okukola ekibi: n'obubi bwa Nabali Mukama abuzzizzaayo ku mutwe gwe ye. Dawudi n'atuma n'ayogereza Abbigayiri okumufumbirwa.
40 Awo abaddu ba Dawudi bwe baatuuka eri Abbigayiri e Kalumeeri, ne bamugamba nti Dawudi yatutumye gy'oli okukufumbirwa.
41 Awo n'agolokoka n'avuunama amaaso ge n'ayogera nti Laba, omuzaana wo abe muweereza okunaazanga ebigere by'abaddu ba mukama wange.
42 Awo Abbigayiri n'ayanguwa n'agolokoka ne yeebagala endogoyi wamu ne bawala be bataano abaamugobereranga; n'agoberera ababaka ba Dawudi, n'aba mukazi we.
43 Dawudi n'awasa ne Akinoamu ow'e Yezuleeri; bombi ne baba bakazi be.
44 Era Sawulo yali awadde Mikali muwala we, mukazi wa Dawudi, Paluti mutabani wa Layisi ow'e Galimu.