1 Samwiri
Essuula 8
Awo olwatuuka, Samwiri ng'akaddiye, n'afuula batabani be abalamuzi ba Isiraeri.
2 N'omubereberye erinnya lye Yoweeri; n'ow'okubiri erinnya lye Abiya: baali balamuzi mu Beeruseba.
3 Batabani be ne batatambulira mu makubo ge, naye ne bakyama okugoberera ebintu, ne balya enguzi, ne balya ensonga.
4 Awo abakadde ba Isiraeri bonna ne balyoka bakuŋŋaana ne bajja eri Samwiri e Laama:
5 ne bamugamba nti Laba, ggwe oli mukadde, ne batabani bo tebatambulira mu makubo go: kale tukolere kabaka atulamulenga ng'amawanga gonna.
6 Naye ekigambo ekyo ne kinyiiza Samwiri, bwe baayogera nti Tuwe kabaka atulamulenga. Samwiri n'asaba Mukama.
7 Mukama n'agamba Samwiri nti Wulira eddoboozi ly'abantu mu byonna bye bakugamba: kubanga tebakugaanyi ggwe, naye bagaanyi nze, nneme okuba kabaka waabwe.
8 Ng'emirimu gyonna bwe giri gye baakakola okuva ku lunaku lwe nnabaggya mu Misiri okutuusa leero, kubanga bandeka ne baweereza bakatonda abalala, naawe bwe baakukola bwe batyo.
9 Kale nno kaakano wulira eddoboozi lyabwe: naye onoobategeereza ddala n'obalaga kabaka bw'alifaanana alibafuga.
10 Awo Samwiri n'abuulira abantu abaamusaba kabaka ebigambo bya Mukama byonna.
11 N'ayogera nti Bw'ati bw'alifaanana kabaka alibafuga: alitwala batabani bammwe n'abeewandiikira olw'amagaali ge era okuba abasajja be abeebagala embalaasi; awo banaddukiranga mu maaso g'amagaali ge:
12 era alibeewandiikira okuba abaami b'enkumi n’abaami b'ataano; era alissaawo abamu okulima ensi ye n'okukungula ebikungulwa bye, n'okuweesa ebintu bye ebyokulwanyisa n'ebintu eby'omu magaali ge.
13 Era alitwala bawala bammwe okufumbanga eby'akaloosa era okuba abafumbiro era okuba abasiisi.
14 Era alitwala ennimiro zammwe n'ensuku zammwe ez'emizabibu n'ez'emizeyituuni, ezisinga obulungi, n'aziwa abaddu be.
15 Era alitwala ekitundu eky'ekkumi eky'ensigo zammwe n'eky'ensuku zammwe ez'emizabibu n'agabira abaami be n'abaddu be.
16 Era alitwala abaddu bammwe n'abazaana bammwe n'abalenzi bammwe abasinga obulungi n'endogoyi zammwe n'abakoza emirimu gye.
17 Alitwala ekitundu eky'ekkumi eky'endiga zammwe: era muliba baddu be.
18 Era mulikaaba ku lunaku olwo olwa kabaka wammwe gwe muliba mwerondedde; so Mukama talibaddiramu ku lunaku olwo.
19 Naye abantu ne bagaana okuwulira eddoboozi lya Samwiri; ne boogera nti Nedda; naye twagala kabaka atufuge;
20 naffe tufaanane ng'amawanga gonna; kabaka waffe atusalirenga emisango, atabaalenga ng'atukulembedde atulwanirirenga entalo zaffe.
21 Samwiri n'awulira ebigambo byonna eby'abantu, n'abyogera mu matu ga Mukama.
22 Awo Mukama n'agamba Samwiri nti Wulira eddoboozi lyabwe obakolere kabaka. Samwiri n'agamba abasajja ba Isiraeri nti Muddeeyo buli muntu mu kibuga ky'ewaabwe.